< 2 Crónicas 32 >
1 Después de estas cosas, y de esta fidelidad, vino Sennaquerib rey de los Asirios, y entró en Judá, y asentó campo contra las ciudades fuertes, y determinó de entrarlas.
Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.
2 Viendo pues Ezequías la venida de Sennaquerib, y que tenía el rostro puesto para hacer la guerra a Jerusalem,
Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi,
3 Tuvo su consejo con sus príncipes, y con sus valerosos, que tapasen las fuentes de las aguas, que estaban fuera de la ciudad: y ellos le ayudaron.
n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola.
4 Y juntóse mucho pueblo, y taparon todas las fuentes: y también el arroyo que va por medio de la tierra, diciendo: ¿Por qué han de hallar los reyes de Asiria muchas aguas cuando vinieren?
Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?”
5 Confortóse pues Ezequías, y edificó todos los muros caídos, e hizo alzar las torres, y otro muro por de fuera: y fortificó a Mello en la ciudad de David, e hizo muchas espadas y paveses.
N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi.
6 Y puso capitanes de guerra sobre el pueblo, e hízolos congregar a sí en la plaza de la puerta de la ciudad, y hablóles al corazón de ellos, diciendo:
N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti,
7 Esforzáos y confortáos; no temáis, ni hayáis miedo del rey de Asiria, ni de toda su multitud que con él viene: porque más son con nosotros que con él.
“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe.
8 Con él es el brazo de carne, mas con nosotros Jehová nuestro Dios para ayudarnos, y pelear nuestras peleas. Entonces el pueblo reposó sobre las palabras de Ezequías rey de Judá.
Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.
9 Después de esto envió Sennaquerib rey de los Asirios sus siervos a Jerusalem, estando él sobre Laquis, y con él toda su potencia, a Ezequías rey de Judá, y a todo Judá, que estaba en Jerusalem, diciendo:
Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,
10 Sennaquerib rey de los Asirios ha dicho así: ¿En qué confiáis vosotros para estar cercados en Jerusalem?
“Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa?
11 ¿No os engaña Ezequías para entregaros a muerte, a hambre, y a sed, diciendo: Jehová nuestro Dios nos librará de la mano del rey de Asiria?
Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta?
12 ¿No es Ezequías el que ha quitado sus altos y sus altares, y dijo a Judá, y a Jerusalem: Delante de este solo altar adoraréis, y sobre él quemaréis perfume?
Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”?
13 ¿No habéis sabido lo que yo y mis padres habemos hecho a todos los pueblos de las tierras? ¿Pudieron los dioses de las gentes de las tierras librar su tierra de mi mano?
“‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange?
14 ¿Qué dios hubo de todos los dioses de aquellas gentes que destruyeron mis padres, que puediese librar su pueblo de mis manos? ¿Por qué podrá vuestro Dios escaparos de mi mano?
Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange?
15 Ahora pues no os engañe Ezequías, ni os persuada tal cosa, ni le creáis; que si ningún dios de todas aquellas naciones y reinos pudo librar su pueblo de mis manos, y de las manos de mis padres, ¿cuánto menos vuestros dioses os podrán librar de mi mano?
Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’”
16 Y otras cosas hablaron sus siervos contra el Dios Jehová, y contra Ezequías su siervo.
Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya.
17 Y además de esto escribió cartas en las cuales blasfemaba a Jehová el Dios de Israel, y hablaba contra él, diciendo: Como los dioses de las gentes de las provincias no pudieron librar su pueblo de mis manos, tampoco el Dios de Ezequías librará al suyo de mis manos.
Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.”
18 Y clamaron a gran voz en Judaico contra el pueblo de Jerusalem que estaba en los muros, para espantarlos y ponerles temor, para tomar la ciudad.
Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga.
19 Y hablaron contra el Dios de Jerusalem, como contra los dioses de los pueblos de la tierra, obra de manos de hombres.
Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.
20 Mas el rey Ezequías, y el profeta Isaías, hijo de Amós, oraron por esto, y clamaron al cielo:
Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo.
21 Y Jehová envió un ángel, el cual hirió todo valiente en fuerzas, y los capitanes, y los príncipes, en el campo del rey de Asiria: y volvióse con vergüenza de rostro a su tierra: y entrando en el templo de su dios, allí le pasaron a cuchillo los que habían salido de sus entrañas.
Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.
22 Así salvó Jehová a Ezequías y a los moradores de Jerusalem de las manos de Sennaquerib rey de Asiria, y de las manos de todos: y les dio reposo de todas partes.
Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna.
23 Y muchos trajeron presente a Jehová a Jerusalem, y a Ezequías rey de Judá ricos dones: y fue muy grande delante de todas las gentes después de esto.
Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
24 En aquel tiempo Ezequías enfermó de muerte: y oró a Jehová: el cual le respondió, y le dio señal.
Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero.
25 Mas Ezequías no pagó conforme al bien, que le había sido hecho: antes su corazón se enalteció, y fue la ira contra él, y contra Judá, y Jerusalem.
Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26 Empero Ezequías, después de haberse enaltecido su corazón, se humilló, él y los moradores de Jerusalem: y no vino sobre ellos la ira de Jehová en los días de Ezequías.
Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
27 Y tuvo Ezequías riquezas y gloria mucha en gran manera: e hízose tesoros de plata y oro, de piedras preciosas, de especierías, de escudos, y de todos vasos de desear;
Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo.
28 Asimismo depósitos para las rentas del grano, del vino, y aceite: establos para toda suerte de bestias, y majadas para los ganados.
N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga.
29 Hízose también ciudades, y hatos de ovejas y de vacas en gran copia: porque Dios le había dado muy mucha hacienda.
Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.
30 Este Ezequías cerró los manaderos de las aguas de Gijón, la de arriba, y encaminólas abajo al occidente de la ciudad de David: y fue prosperado Ezequías en todo lo que hizo.
Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga.
31 Empero a causa de los embajadores de los príncipes de Babilonia, que enviaron a él para saber del prodigio que había sido en aquella tierra, Dios le dejó, para tentarle, para saber todo lo que estaba en su corazón.
Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32 Lo demás de los hechos de Ezequías, y de sus misericordias, he aquí, todo está escrito en la profecía de Isaías, hijo de Amós profeta, y en el libro de los reyes de Judá y de Israel.
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
33 Y durmió Ezequías con sus padres, y sepultáronle en los más insignes sepulcros de los hijos de David, honrándole en su muerte todo Judá y los de Jerusalem: y reinó en su lugar Manasés su hijo.
Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.