< Cantar de los Cantares 2 >
1 Soy la rosa de Sarón Y el lirio de los valles.
Ndi kimuli kya looza ekya Saloni, eddanga ery’omu biwonvu.
2 Como el lirio entre los espinos, Así es mi amada entre las doncellas.
Ng’eddanga mu maggwa, gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.
3 Como el manzano entre los árboles del bosque, Así es mi amado entre los jóvenes. A su sombra deseo sentarme y comer sus dulces frutos.
Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, n’ekibala kye kimpomera.
4 Él me lleva a la sala del banquete, Y su estandarte sobre mí es amor.
Yantwala ku kijjulo, n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
5 ¡Susténtenme con pasas, Confórtenme con manzanas, Porque estoy enferma de amor!
Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu, mumbuddeebudde n’emicungwa kubanga okwagala kunzirisizza.
6 ¡Su izquierda esté bajo mi cabeza, Y su derecha me abrace!
Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7 ¡Oh hijas de Jerusalén, Las conjuro por las gacelas y por los venados del campo, Que no despierten ni hagan velar al amor hasta que quiera!
Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira, ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde.
8 ¡La voz de mi amado! ¡Allí salta sobre las montañas, Brinca sobre las colinas!
Wuliriza omwagalwa wange, Laba, ajja ng’abuukirabuukira ku nsozi, ng’azinira ku busozi.
9 Mi amado es como un venado o un cervatillo. ¡Miren! Está tras nuestro muro y mira por las ventanas. Observa por las celosías.
Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Mi amado habló: ¡Oh amada mía, hermosa mía, levántate y sal conmigo!
Omwagalwa wange yaŋŋamba nti, “Golokoka, Owoomukwano, omulungi wange, ojje tugende,
11 Porque pasó el invierno. La lluvia cesó y se fue.
kubanga laba ttoggo aweddeko, n’enkuba eweddeyo.
12 Las flores aparecen en la tierra, El tiempo de la poda llegó Y la voz de la tórtola se oye en nuestra tierra.
Ebimuli bimulisizza, n’ebiro eby’okuyimba bituuse, era n’okukaaba kw’amayiba kuwulirwa mu nsi.
13 La higuera ya madura sus brevas, Y las vides en flor exhalan su aroma. ¡Levántate, oh amada mía, Hermosa mía, y ven!
Omutiini gubala ettiini zaagwo, n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo. Golokoka Owoomukwano, omulungi wange ojje tugende.”
14 ¡Oh paloma mía! Tú, que anidas en las grietas de la peña, En los escarpados parajes: ¡Muéstrate! ¡Hazme oír tu voz! Porque dulce es tu voz y hermoso tu rostro.
Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi, mu bwekwekero obw’amayinja, ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, n’amaaso go gasanyusa.
15 Cácennos las zorras, Las zorras pequeñas que echan a perder las viñas, ¡Nuestras viñas en flor!
Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ez’emizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.
16 ¡Mi amado es mío y yo suya! Él pastorea entre los lirios
Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe; aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 Hasta que refresque el día y huyan las sombras. ¡Vuelve, oh amado mío! Sé como el venado o el cervatillo sobre las montañas de Béter.
okutuusa obudde nga bukedde n’ebisiikirize nga biddukidde ddala; okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.