< Proverbios 27 >
1 No te jactes del mañana, Pues no sabes lo que traerá el día.
Teweenyumirizanga mu bya nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2 Alábete el otro y no tu propia boca, El extraño, y no tus propios labios.
Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe, omuntu omulala so si mimwa gyo.
3 Pesada es la piedra, y la arena pesa, Pero la incitación de un necio es más pesada que ambas.
Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito, naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
4 Cruel es la ira e impetuoso el furor, Pero ¿quién puede mantenerse en pie ante la envidia?
Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo, naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
5 Mejor es reprensión manifiesta, Que amor oculto.
Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.
6 Leales son las heridas de un amigo, Pero engañosos los besos del que odia.
Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi, naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
7 La persona saciada pisotea el panal, Pero para la hambrienta, hasta lo amargo [le] es dulce.
Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
8 Cual ave que se va de su nido, Así es el hombre que se va de su lugar.
Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako, bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
9 Los ungüentos y los vinos alegran el corazón, Así el consejo de un hombre es dulce para su amigo.
Ebyakaloosa bisanyusa omutima, n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
10 No abandones a tu amigo, ni al amigo de tu padre, Ni vayas a casa de tu hermano en el día de tu aflicción. Mejor es el vecino cerca que el hermano lejos.
Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga, olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana. Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
11 Sé sabio, hijo mío, y alegra mi corazón, Así tendré que responder al que me ultraje.
Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange, ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
12 El prudente ve el mal y se aparta, Pero los ingenuos siguen, y reciben el daño.
Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka, naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
13 Quítale la ropa al que sale fiador de un extraño, Y tómale prenda al que confía en la mujer extraña.
Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi, era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
14 Al que bendice a su prójimo de madrugada a gritos Por maldición se le contará.
Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.
15 Una gotera continua en tiempo de lluvia Y una esposa pendenciera son iguales.
Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata, ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Pretender refrenarla es como refrenar el viento, O sujetar aceite en la mano derecha.
Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
17 El hierro con el hierro se afila. Así estimula el hombre el semblante de su amigo.
Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.
18 El que cuida su higuera comerá higos, Y el que atiende los intereses de su ʼadón recibirá honores.
Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo, n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
19 Como el rostro se refleja en el agua, Así el corazón del hombre refleja al hombre.
Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso, bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
20 El Seol y el Abadón no se sacian jamás. Así los ojos del hombre nunca se sacian. (Sheol )
Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta. (Sheol )
21 El crisol prueba la plata y la hornaza el oro, Y al hombre, la boca del que lo alaba.
Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu, naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
22 Aunque machaques al necio con el pisón del mortero entre el grano partido, Su necedad no se apartará de él.
Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu, nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu, obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
23 Observa bien la condición de tus ovejas, Atiende tus rebaños.
Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 Porque las riquezas no duran para siempre, Ni se transmite una corona de generación en generación.
Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Salen las verduras, aparece el retoño Y los vegetales de las montañas son cosechados.
Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo, nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 Las ovejas proveen tu ropa, Y las cabras el precio del campo,
abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala, n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Las cabras proveen leche para tu alimento, Para el alimento de tu casa y el sustento de tus esclavas.
Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo, n’okuliisa abaweereza bo abawala.