< Ezequiel 21 >
1 La Palabra de Yavé vino a mí:
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
2 Hijo de hombre, pon tu rostro hacia Jerusalén y predica contra las cosas sagradas. Profetiza contra la tierra de Israel:
“Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri,
3 Yavé dice: Ciertamente Yo estoy contra ti. Sacaré mi espada de su vaina. Cortaré de ti a inocentes y a culpables.
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe.
4 Mi espada saldrá de su vaina contra toda persona de sur a norte. Cortaré de ti al justo y al perverso.
Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono.
5 Toda persona sabrá que Yo, Yavé, saqué mi espada de su vaina, y que no volverá a ella.
Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’
6 Y tú, hijo de hombre, gime a vista de ellos con corazón quebrantado y amargo dolor.
“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike.
7 Cuando te pregunten: ¿Por qué gimes? dirás: Por causa de una noticia que cuando llegue desfallecerá todo corazón. Todas las manos se debilitarán. Todo espíritu se angustiará y toda rodilla se aflojará como el agua. Ciertamente viene y se cumplirá, dice ʼAdonay Yavé.
Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”
8 La Palabra de Yavé vino a mí:
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
9 Hijo de hombre, profetiza: Yavé dice: ¡Espada, espada afilada y pulida!
“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa era kiziguddwa,
10 Afilada, para una matanza, pulida para que resplandezca como un relámpago. ¿Nos regocijaremos? Al cetro de mi hijo lo desprecia como a cualquier vara.
kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu! Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda? “‘Ekitala kinyooma buli muggo.
11 Él la entregó para que sea pulida y manejada. ¡La espada está afilada y pulida para ponerla en mano del matador!
“‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa kiryoke kinywezebwe mu mukono; kiwagaddwa era kiziguddwa, kiryoke kiweebwe omussi.
12 Clama y lamenta, hijo de hombre, porque esto es contra mi pueblo y todos los magistrados de Israel. Ellos son entregados a la espada juntamente con mi pueblo. Por tanto golpea tu muslo.
Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu, kubanga ekyo nkikola bantu bange, era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri. Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange, noolwekyo weekube mu kifuba.
13 Porque se hizo la prueba. ¡Que se duplique y se triplique el furor de la espada homicida! ¿Qué si la espada desprecia aun el cetro? Él no será más, dice ʼAdonay Yavé.
“‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera Mukama Katonda.’
14 Hijo de hombre, profetiza y bate las manos. Que se duplique y se triplique el furor de la espada homicida, la espada de la gran matanza que los traspasará.
“Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu, n’okuba ne mu ngalo. Leka ekitala kisale emirundi ebiri oba emirundi esatu. Kitala kya kutta, okutta okunene, nga kibataayiza enjuuyi zonna,
15 Entregué la espada brillante para que desmaye el corazón y se multipliquen los muertos en todas sus puertas. ¡Ay! Dispuesta está para que relumbre, preparada para degollar.
era n’emitima gyabwe girisaanuuka, n’abattiddwa baliba bangi. Ntadde ekitala ekitta ku miryango gyabwe gyonna. Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu era kinywezebbwa olw’okutta.
16 Corta a la derecha, golpea a la izquierda, a dondequiera que te muevas.
Ggwe ekitala genda osale ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono, ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.
17 Yo también batiré mis manos y calmaré mi furor. Yo, Yavé, hablé.
Nange ndikuba mu ngalo, n’ekiruyi kyange kirikkakkana. Nze Mukama njogedde.”
18 La Palabra de Yavé vino a mí:
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti,
19 Y tú, hijo de hombre, traza dos caminos para la espada del rey de Babilonia. Los dos saldrán de una misma tierra. Pon una señal al comienzo de cada camino que indique a la espada la ciudad adonde va.
“Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga.
20 Señala el camino para que la espada vaya a Rabá de los hijos de Amón, a Judá y contra Jerusalén, la ciudad fortificada.
Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera.
21 Porque el rey de Babilonia se detuvo en una encrucijada al comienzo de dos caminos. Allí usó la brujería: sacudió las flechas, consultó a sus ídolos y observó el hígado.
Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba.
22 La brujería señaló a su mano derecha, a Jerusalén, para ordenar el ataque, comenzar la matanza, levantar el grito de guerra, emplazar vigas largas y pesadas a fin de lanzarlas contra las puertas, levantar terraplenes y hacer torres de asalto.
Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza.
23 Pero a ellos les pareció falsa la brujería, porque les habían hecho solemnes juramentos. Pero él recuerda la iniquidad de ellos para que sean atrapados.
Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.
24 Por tanto ʼAdonay Yavé dice: Porque su iniquidad fue recordada. Sus transgresiones fueron descubiertas de tal modo que en todas sus obras aparecen sus pecados, pues llegaron al recuerdo. Serán entregados en su mano.
“Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
25 Tú, ¡oh profano y perverso rey de Israel, tu día llegó, la hora del castigo final!
“‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala,
26 ʼAdonay Yavé dice: ¡Quítate el turbante y despójate de la corona! ¡Ya no serás lo mismo! ¡Exáltese lo bajo y humíllese lo alto!
bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa.
27 ¡A ruina, a ruina, a ruina la convertiré! Y no existirá más hasta que venga Aquél a Quien corresponde el juicio, a Quien lo entregaré.
Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’
28 Y tú, hijo de hombre, profetiza: ʼAdonay Yavé dice contra los hijos de Amón y sus afrentas: Una espada pulida está desenvainada para matar y resplandecer en la matanza.
“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe: “‘Ekitala, ekitala, kisowoddwa okutta, Kiziguddwa okusaanyaawo era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 Te profetizan vanidad. Te adivinan mentira para que la apliques al cuello de los perversos sentenciados a muerte, cuyo día llega en el tiempo del castigo final.
Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba, ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa, olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.
30 Te devolveré a tu vaina en el lugar donde fuiste forjada. Te juzgaré en la tierra de tu origen.
“‘Ekitala kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja, eyo gye ndikusalirira omusango.
31 Derramaré mi furor sobre ti, soplaré contra ti con el fuego de mi ira y te entregaré en mano de hombres temerarios, artesanos de destrucción.
Ndikufukako ekiruyi kyange, ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange, ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo, abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 Serás combustible para el fuego. Tu sangre será la humedad de la tierra. No habrá recuerdo de ti, porque Yo, Yavé, hablé.
Oliba nku za muliro, n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo, era tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama njogedde.’”