< 1 Timoteo 1 >

1 Pablo, un apóstol de Cristo Jesús por mandato de Dios nuestro Salvador, y de Cristo Jesús nuestra esperanza,
Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira,
2 a Timoteo, legítimo hijo en [la ]fe. Gracia, misericordia, paz de Dios Padre y de Cristo Jesús nuestro Señor.
nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
3 Cuando pasé a Macedonia te rogué permanecer en Éfeso para que mandaras a algunos que no ofrecieran instrucción diferente,
Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.
4 ni pusieran atención a fábulas y genealogías interminables, las cuales más bien promueven especulaciones inútiles y no la administración de Dios que es por fe.
Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza.
5 Pues el propósito de esta instrucción es [el] amor de corazón puro, buena conciencia y fe sincera,
Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa.
6 de las cuales, algunos perdieron el camino y fueron desviados hacia vacía palabrería.
Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.
7 Deseaban ser maestros de la Ley sin entender lo que dicen, ni las cosas que hablan de manera absoluta.
Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.
8 Pero sabemos que [la] Ley es buena cuando alguno habla legítimamente.
Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu.
9 Reconocemos que [la] Ley no se instituyó para [el] justo, sino para inicuos y desobedientes, ateos y pecadores, perversos y profanos, patricidas y matricidas, homicidas,
Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala,
10 inmorales sexuales, homosexuales, secuestradores, mentirosos, perjuros y si hay algún otro que se opone a [la ]sana doctrina,
n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,
11 según las Buenas Noticias de la gloria del bendito Dios, las cuales se me encomendaron.
ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
12 Estoy agradecido al que me fortaleció, a Cristo Jesús nuestro Señor, porque al ponerme en el ministerio, me consideró fiel.
Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe.
13 Había sido un blasfemo, perseguidor e insolente. Pero me fue otorgada misericordia porque procedí por ignorancia en incredulidad.
Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza.
14 Pero la gracia de nuestro Señor estuvo presente en gran abundancia con fe y amor en Cristo Jesús.
Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.
15 La Palabra es fiel y digna de toda aceptación: Cristo Jesús vino al mundo a salvar pecadores, de los cuales yo soy [el ]primero.
Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.
16 Pero por esto [me ]fue otorgada misericordia, a fin de que Cristo Jesús demuestre toda longanimidad primero en mí como ejemplo de los que creerían en Él para vida eterna. (aiōnios g166)
Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
17 Por tanto, al Rey de los siglos, inmortal, invisible, al único Dios, sean [el ]honor y [la ]gloria por los siglos de los siglos. Amén. (aiōn g165)
Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
18 Este mandato te encargo, hijo Timoteo, para que conforme a las profecías que preceden sobre ti, te sirvas de ellas en el noble combate,
Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira,
19 y mantengas [la ]fe y la buena conciencia. Algunos naufragaron respecto a la fe al rechazarlas,
ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe.
20 de los cuales son Himeneo y Alejandro, a quienes entregué a Satanás para que aprendieran a no blasfemar.
Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.

< 1 Timoteo 1 >