< Marcos 14 >
1 Faltaban dos días para la Pascua y la Fiesta de los Panes sin Levadura, y los jefes de los sacerdotes y los escribas buscaban la manera de apoderarse de él con engaños y matarlo.
Embaga ey’Okuyitako, kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.
2 Pues decían: “No durante la fiesta, porque podría haber un disturbio entre el pueblo”.
Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”
3 Estando en Betania, en casa de Simón el leproso, mientras estaba sentado a la mesa, llegó una mujer con un frasco de alabastro con ungüento de nardo puro, muy costoso. Rompió el frasco y lo derramó sobre su cabeza.
Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.
4 Pero algunos se indignaron entre sí, diciendo: “¿Por qué se ha desperdiciado este ungüento?
Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki?
5 Porque podría haberse vendido por más de trescientos denarios y haberse dado a los pobres”. Así que refunfuñaron contra ella.
Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.
6 Pero Jesús le dijo: “Déjala en paz. ¿Por qué la molestas? Ella ha hecho una buena obra para mí.
Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi.
7 Porque tú siempre tienes a los pobres contigo, y cuando quieres les haces un bien; pero a mí no siempre me tienes.
Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo.
8 Ella ha hecho lo que ha podido. Ha ungido mi cuerpo de antemano para el entierro.
Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa.
9 Os aseguro que dondequiera que se predique esta Buena Noticia en todo el mundo, se hablará también de lo que ha hecho esta mujer para que quede constancia de ella.”
Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”
10 Judas Iscariote, que era uno de los doce, se fue a los sumos sacerdotes para entregárselo.
Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe.
11 Ellos, al oírlo, se alegraron y prometieron darle dinero. Él buscó la manera de entregarlo convenientemente.
Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.
12 El primer día de los panes sin levadura, cuando sacrificaban la Pascua, sus discípulos le preguntaron: “¿Dónde quieres que vayamos a preparar para que comáis la Pascua?”
Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”
13 Envió a dos de sus discípulos y les dijo: “Id a la ciudad, y allí os saldrá al encuentro un hombre con un cántaro de agua. Seguidle,
N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere.
14 y dondequiera que entre, decid al dueño de la casa: “El Maestro dice: “¿Dónde está la sala de invitados, donde pueda comer la Pascua con mis discípulos?””.
Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’
15 Él mismo te mostrará una gran habitación superior amueblada y preparada. Prepáranos allí”.
Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”
16 Sus discípulos salieron y entraron en la ciudad, y encontraron las cosas como él les había dicho, y prepararon la Pascua.
Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.
17 Al anochecer llegó con los doce.
Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
18 Mientras estaban sentados y comiendo, Jesús dijo: “Os aseguro que uno de vosotros me va a traicionar: el que come conmigo.”
Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
19 Comenzaron a entristecerse y a preguntarle uno por uno: “¿Seguro que no soy yo?”. Y otro decía: “¿Seguro que no soy yo?”
Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”
20 Él les respondió: “Es uno de los doce, el que moja conmigo en el plato.
N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya.
21 Porque el Hijo del Hombre va como está escrito de él, pero ¡ay de aquel hombre por quien el Hijo del Hombre es entregado! Más le valdría a ese hombre no haber nacido”.
Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
22 Mientras comían, Jesús tomó el pan y, después de bendecirlo, lo partió y les dijo: “Tomad, comed. Esto es mi cuerpo”.
Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
23 Tomó el cáliz y, después de dar gracias, se lo dio a ellos. Todos bebieron de ella.
Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
24 Les dijo: “Esta es mi sangre del nuevo pacto, que se derrama por muchos.
N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi.
25 De cierto os digo que no beberé más del fruto de la vid hasta el día en que lo beba de nuevo en el Reino de Dios.”
Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 Después de cantar un himno, salieron al Monte de los Olivos.
Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27 Jesús les dijo: “Esta noche todos vosotros tropezaréis por mi culpa, porque está escrito: “Heriré al pastor y las ovejas se dispersarán”.
Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti, “‘Ndikuba omusumba, endiga ne zisaasaana.’
28 Sin embargo, cuando haya resucitado, iré delante de vosotros a Galilea”.
Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
29 Pero Pedro le dijo: “Aunque todos se ofendan, yo no”.
Peetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”
30 Jesús le dijo: “Muy ciertamente te digo que hoy, incluso esta noche, antes de que el gallo cante dos veces, me negarás tres veces.”
Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”
31 Pero él habló aún más: “Si tengo que morir con vosotros, no os negaré”. Todos dijeron lo mismo.
Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.
32 Llegaron a un lugar que se llama Getsemaní. Dijo a sus discípulos: “Sentaos aquí mientras oro”.
Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.”
33 Tomó consigo a Pedro, a Santiago y a Juan, y comenzó a estar muy preocupado y angustiado.
N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima.
34 Les dijo: “Mi alma está muy triste, hasta la muerte. Quedaos aquí y velad”.
N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”
35 Se adelantó un poco, se postró en el suelo y oró para que, si era posible, la hora pasara de largo.
Ne yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka.
36 Dijo: “Abba, Padre, todo es posible para ti. Por favor, aparta de mí esta copa. Pero no lo que yo deseo, sino lo que tú deseas”.
N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
37 Llegó y los encontró durmiendo, y dijo a Pedro: “Simón, ¿duermes? ¿No podías velar una hora?
N’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu?
38 Velad y orad, para que no entréis en tentación. El espíritu, en efecto, está dispuesto, pero la carne es débil”.
Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
39 De nuevo se fue y oró diciendo las mismas palabras.
Ate n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye.
40 Volvió y los encontró durmiendo, pues sus ojos estaban muy cargados; y no sabían qué responderle.
N’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.
41 Llegó por tercera vez y les dijo: “Dormid ya y descansad. Ya es suficiente. La hora ha llegado. He aquí que el Hijo del Hombre ha sido entregado en manos de los pecadores.
Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
42 ¡Levántate! Pongámonos en marcha. He aquí, el que me traiciona está cerca”.
Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
43 En seguida, mientras aún hablaba, vino Judas, uno de los doce, y con él una multitud con espadas y palos, de parte de los sumos sacerdotes, de los escribas y de los ancianos.
Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
44 Y el que le entregaba les había dado una señal, diciendo: “Al que yo bese, ése es. Agarradle y llevadle con seguridad”.
Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.”
45 Cuando llegó, enseguida se acercó a él y le dijo: “¡Rabí! Rabí!” y le besó.
Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba.
46 Le pusieron las manos encima y le agarraron.
Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza.
47 Pero uno de los que estaban allí sacó su espada e hirió al siervo del sumo sacerdote y le cortó la oreja.
Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.
48 Jesús les respondió: “¿Habéis salido, como contra un ladrón, con espadas y palos para prenderme?
Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata?
49 Cada día estaba con vosotros en el templo enseñando, y no me habéis arrestado. Pero esto es para que se cumplan las Escrituras”.
Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.”
50 Todos le dejaron y huyeron.
Bonna ne bamwabulira ne badduka.
51 Cierto joven lo siguió, teniendo una tela de lino echada alrededor de su cuerpo desnudo. Los jóvenes lo agarraron,
Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata,
52 pero él dejó el lienzo y huyó de ellos desnudo.
n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.
53 Llevaron a Jesús ante el sumo sacerdote. Todos los jefes de los sacerdotes, los ancianos y los escribas se reunieron con él.
Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka.
54 Pedro le había seguido de lejos, hasta que llegó al patio del sumo sacerdote. Estaba sentado con los oficiales, y se calentaba a la luz del fuego.
Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.
55 Los jefes de los sacerdotes y todo el consejo buscaban testigos contra Jesús para condenarlo a muerte, pero no los encontraron.
Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna, baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.
56 Porque muchos daban falso testimonio contra él, y sus testimonios no concordaban entre sí.
Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.
57 Algunos se levantaron y dieron falso testimonio contra él, diciendo:
Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti,
58 “Le oímos decir: ‘Destruiré este templo hecho a mano, y en tres días construiré otro hecho sin manos’.”
“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’”
59 Aun así, su testimonio no concordaba.
Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.
60 El sumo sacerdote se levantó en medio y preguntó a Jesús: “¿No tienes respuesta? ¿Qué es lo que éstos testifican contra ti?”
Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?”
61 Pero él se quedó callado y no respondió nada. De nuevo el sumo sacerdote le preguntó: “¿Eres tú el Cristo, el Hijo del Bendito?”
Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”
62 Jesús dijo: “Yo soy. Veréis al Hijo del Hombre sentado a la derecha del Poder, y viniendo con las nubes del cielo”.
Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”
63 El sumo sacerdote se rasgó las vestiduras y dijo: “¿Qué más necesidad tenemos de testigos?
Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi?
64 ¡Habéis oído la blasfemia! ¿Qué os parece?” Todos le condenaron a ser digno de muerte.
Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?” Bonna ne bamusalira gwa kufa.
65 Algunos empezaron a escupirle, a cubrirle la cara, a golpearle con los puños y a decirle: “¡Profeta!”. Los oficiales le golpearon con las palmas de las manos.
Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.
66 Mientras Pedro estaba en el patio de abajo, se acercó una de las criadas del sumo sacerdote,
Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja.
67 y al ver que Pedro se calentaba, lo miró y le dijo: “¡Tú también estabas con el nazareno, Jesús!”
Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”
68 Pero él lo negó, diciendo: “No sé ni entiendo lo que dices”. Salió a la entrada; y cantó el gallo.
Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.
69 La criada lo vio y comenzó a decir de nuevo a los que estaban allí: “Este es uno de ellos”.
Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.”
70 Pero él volvió a negarlo. Al cabo de un rato, los que estaban allí volvieron a decir a Pedro: “Verdaderamente eres uno de ellos, pues eres galileo, y tu forma de hablar lo demuestra.”
Peetero n’ayongera okwegaana. Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”
71 Pero él comenzó a maldecir y a jurar: “¡No conozco a ese hombre del que habláis!”
Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”
72 El gallo cantó por segunda vez. Pedro recordó las palabras que le dijo Jesús: “Antes de que cante el gallo dos veces, me negarás tres”. Cuando pensó en eso, lloró.
Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.