< San Lucas 17 >
1 Dijo a los discípulos: “Es imposible que no vengan ocasiones de tropiezo, pero ¡ay de aquel por quien vienen!
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta.
2 Más le valdría que le colgaran al cuello una piedra de molino y lo arrojaran al mar, que hacer tropezar a uno de estos pequeños.
Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato.
3 Tened cuidado. Si tu hermano peca contra ti, repréndelo. Si se arrepiente, perdónalo.
Mwekuume. “Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga.
4 Si peca contra ti siete veces en el día, y siete veces vuelve diciendo: “Me arrepiento”, le perdonarás.”
Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”
5 Los apóstoles dijeron al Señor: “Aumenta nuestra fe”.
Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6 El Señor dijo: “Si tuvieras fe como un grano de mostaza, le dirías a este sicómoro: ‘Arráncate y plántate en el mar’, y te obedecería.
Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7 Pero, ¿quién hay entre vosotros que tenga un siervo arando o guardando ovejas, que le diga al llegar del campo: “Ven enseguida y siéntate a la mesa”?
“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’
8 ¿No le dirá más bien: ‘Prepara mi cena, vístete bien y sírveme mientras como y bebo. Después comerás y beberás’?
Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’
9 ¿Acaso le da las gracias a ese siervo porque hizo lo que se le ordenó? Creo que no.
Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola?
10 Así también vosotros, cuando hayáis hecho todo lo que se os ha mandado, decid: ‘Somos siervos indignos. Hemos cumplido con nuestro deber’”.
Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’”
11 Cuando se dirigía a Jerusalén, pasaba por los límites de Samaria y Galilea.
Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya.
12 Al entrar en una aldea, le salieron al encuentro diez hombres que eran leprosos y que estaban a distancia.
Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako
13 Levantaron la voz diciendo: “Jesús, Maestro, ten piedad de nosotros”.
ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”
14 Al verlos, les dijo: “Vayan y muéstrense a los sacerdotes”. Mientras iban, quedaron limpios.
Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
15 Uno de ellos, al ver que estaba sanado, se volvió glorificando a Dios a gran voz.
Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda.
16 Se postró a los pies de Jesús dándole gracias; era un samaritano.
N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
17 Jesús respondió: “¿No quedaron limpios los diez? Pero, ¿dónde están los nueve?
Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa?
18 ¿No se encontró a ninguno que volviera a dar gloria a Dios, sino a este extranjero?”
Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?”
19 Entonces le dijo: “Levántate y vete. Tu fe te ha sanado”.
Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
20 Cuando los fariseos le preguntaron cuándo vendría el Reino de Dios, les contestó: “El Reino de Dios no viene con la observación;
Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja,
21 tampoco dirán: “¡Mira, aquí!” o “¡Mira, allí!”, porque he aquí que el Reino de Dios está dentro de vosotros.”
era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22 Dijo a los discípulos: “Vendrán días en que desearéis ver uno de los días del Hijo del Hombre, y no lo veréis.
Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba.
23 Os dirán: “¡Mira, aquí!” o “¡Mira, allí!”. No os vayáis ni les sigáis,
Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga.
24 porque como el rayo, cuando sale de una parte bajo el cielo, brilla hacia otra parte bajo el cielo, así será el Hijo del Hombre en su día.
Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe,
25 Pero primero tiene que sufrir muchas cosas y ser rechazado por esta generación.
Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.
26 Como fue en los días de Noé, así será también en los días del Hijo del Hombre.
“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu.
27 Comían, bebían, se casaban y se daban en matrimonio hasta el día en que Noé entró en la nave, y vino el diluvio y los destruyó a todos.
Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28 Asimismo, como en los días de Lot: comían, bebían, compraban, vendían, plantaban y construían;
“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba,
29 pero el día en que Lot salió de Sodoma, llovió fuego y azufre del cielo y los destruyó a todos.
okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
30 Lo mismo sucederá el día en que se manifieste el Hijo del Hombre.
“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako.
31 En aquel día, el que esté en la azotea y sus bienes en la casa, que no baje a llevárselos. Que el que esté en el campo tampoco se vuelva atrás.
Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo.
32 ¡Acuérdate de la mujer de Lot!
Mujjukire mukazi wa Lutti!
33 El que busca salvar su vida la pierde, pero el que la pierde la conserva.
Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.
34 Os digo que en aquella noche habrá dos personas en una cama. Uno será tomado y el otro será dejado.
Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa.
35 Habrá dos que molerán juntos el grano. Uno será tomado y el otro será dejado”.
Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.
Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”
37 Ellos, respondiendo, le preguntaron: “¿Dónde, Señor?”. Les dijo: “Donde esté el cuerpo, allí se reunirán también los buitres”.
Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensegawe zirikuŋŋaanira!”