< Apocalipsis 18 >

1 Después de esto vi a otro ángel descendiendo desde el cielo. Tenía gran poder y la tierra fue iluminada con su gloria.
Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina.
2 Y gritó con voz poderosa: “¡Babilonia la grande ha colapsado y ha quedado en ruinas! Se ha convertido en el lugar donde habitan los demonios, en el refugio de todo espíritu inmundo, y cueva de toda ave impura y espantosa.
N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
3 Pues todas las naciones han bebido el vino de su descabellada inmoralidad sexual. Los reyes de la tierra han cometido adulterio con ella, y los comerciantes de la tierra se han enriquecido de su sensualidad y excesos”.
Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe. Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
4 Luego escuché otra voz que venía desde el cielo, y clamaba: “Mi pueblo, salgan de en medio de ella, para que no participen de sus caminos pecaminosos, y para que no participen de sus plagas.
Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’ muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.
5 Sus pecados se han acumulado hasta llegar al cielo, y Dios no olvida su maldad.
Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu, era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
6 Devuélvanle lo que ella les dio; páguenle el doble de lo que hizo. Y en su propia copa mezclen el doble de las aflicciones que ella mezcló para otros.
Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala; mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi. Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
7 Devuélvanle la misma medida de su jactancia y su lujuria en angustia y dolor. Ella decía para sí: ‘Yo reino como una reina. No soy viuda; nunca tendré de qué lamentarme’.
Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya, bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze, kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka omukazi, siri nnamwandu, era sirina nnaku.’
8 Ahora por esto sus plagas caerán sobre ella en un solo día: muerte, lamento y hambre. El fuego la destruirá por completo, pues el Dios que la condena tiene gran poder”.
Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu, era alizikirizibwa n’omuliro; kubanga Mukama Katonda amusalidde omusango.
9 Los reyes de la tierra que habían cometido adulterio con ella y consintieron sus lujos, llorarán y se lamentarán por ella cuando vean el humo del fuego que la destruye.
“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa.
10 Permaneciendo a la distancia, con temor de sufrir la misma agonía que ella, dirán, “¡Desastre, desastre ha herido a Babilonia, la gran ciudad! ¡En solo una hora se ejecutó tu sentencia de muerte!”
Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga eky’amaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
11 Los comerciantes de la tierra lloran y se lamentan por ella, porque ya nadie compra sus bienes,
“Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe.
12 sus productos de oro, plata, joyas y perlas; lino fino, paños de púrpura, seda, y material de escarlata; todo tipo de objetos hechos de madera perfumada, de marfil, de madera costosa, de bronce, de hierro, o de mármol;
Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo;
13 así como cargamentos de canela, especias, incienso, mirra, resina de incienso, aceite de oliva, harina y trigo refinado, ganado y ovejas, caballos y carros, y esclavos y prisioneros.
n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.
14 Has perdido los dulces placeres que tanto amabas; se han ido todas tus posesiones lujosas y relucientes, y no las recuperarás nunca más.
“Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”
15 Los comerciantes que vendieron estas cosas y se enriquecieron al negociar con ella, se mantendrán a la distancia porque temerán sufrir su misma agonía. Llorarán y se lamentarán, diciendo:
Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe,
16 “¡Desastre, desastre ha herido a la gran ciudad! Ella vestía fino lino y ropas de púrpura, usaba prendas hechas de oro, joyas y perlas.
nga bagamba nti, “‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu, era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
17 ¡En solo una hora toda esta riqueza ha quedado destruida!” Cada capitán de barco y todos los que viajan en el mar, así como todos los marineros y todos los que se ganan la vida trabajando en el mar, se quedaron en pie a la distancia.
Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’ “Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala.
18 Y mientras veían el humo del fuego que la destruye, gritaban: “¿Qué ciudad podría compararse con esta gran ciudad?”
Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’
19 Y se echaban tierra sobre sus cabezas, gritando, lamentándose y llorando: “¡Desastre, desastre ha herido a la gran ciudad que enriqueció a los dueños de barcos con su extravagancia! ¡En apenas una hora fue destruida!”
Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti, “‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu! Kyabagaggawaza bonna abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu, naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
20 Cielos, creyentes, apóstoles y profetas, celebren lo que le ha ocurrido, porque Dios la ha condenado a ella así como ella los condenó a ustedes.
“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe, nammwe abatukuvu ne bannabbi n’abatume musanyuke. Kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.”
21 Y un poderoso ángel tomó una piedra del tamaño de una piedra de molino, y la lanzó al mar, diciendo: “Con esta misma fuerza la gran ciudad de Babilonia será derribada, y no existirá más”.
Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
22 “Y nunca más alguien volverá a escuchar música en ti: el sonido de arpas, cantantes, flautas y trompetas. Y nunca más volverá a trabajar en ti algún mercader o artesano. Nunca más se escuchará en ti el sonido de un molino.
Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi, n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe. Mu ggwe temulisangibwamu muweesi wadde okuweesa okw’engeri yonna, newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa tekuliwulirwa mu ggwe.
23 Nunca más brillará una lámpara en ti. Nunca más se escucharán las voces del novio y la novia en ti. Tus comerciantes dirigían el mundo. Por tu brujería fueron engañadas todas las naciones.
Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
24 En ella se encontró la sangre de los profetas y creyentes que habían muerto en la tierra”.
Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi, n’abo bonna abattibwa ku nsi.”

< Apocalipsis 18 >