< Job 39 >
1 “¿Sabes tú el tiempo en que paren las cabras monteses? ¿Observas el parto de las ciervas?
“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira? Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
2 ¿Sabes tú los meses de su preñez, y conoces el tiempo de su parto?
Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale? Omanyi obudde mwe zizaalira?
3 Se encorvan y echan su cría librándose de sus dolores.
Zikutama ne zizaala abaana baazo, ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
4 Sus crías son robustas, crecen en el campo; se van, y no vuelven a ellas.
Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale, batambula ne bagenda obutadda.
5 ¿Quién dio libertad al asno montés, y quién soltó las ataduras del onagro,
“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo? Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
6 al que di por domicilio el desierto y por morada la tierra salitrosa?
gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo, n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
7 Se ríe del tumulto de la ciudad, y no oye los gritos del arriero.
Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga, tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
8 Los montes son su lugar de pasto, anda buscando toda yerba verde.
Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo, ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.
9 ¿Querrá servirte acaso el búfalo, pasará la noche junto a tu pesebre?
“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo, n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10 ¿Podrás atarlo con coyundas para que abra surcos? ¿Querrá acaso rastrillar los valles detrás de ti?
Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi? Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11 ¿Confiarás en él por su gran fuerza, y dejarás a su cuidado tus labores?
Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi? Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12 ¿Le fiarás traer a casa tu grano para llenar tu era?
Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke, oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?
13 El avestruz agita alegre las alas; no son alas pías, ni voladoras;
“Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja, naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14 pues abandona en tierra sus huevos para calentarlos en el suelo.
Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka, n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15 Olvida que puede pisarlos el pie, y aplastarlos la fiera del campo.
ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa, era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 Es cruel con sus hijos, como si fuesen ajenos; no le preocupa la inutilidad de sus fatigas.
Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 Porque Dios le privó de sabiduría, y no le dio parte en la inteligencia.
Kubanga Katonda teyagiwa magezi wadde okutegeera.
18 Pero cuando se alza y bate las alas, se burla del caballo y del jinete.
Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.
19 ¿Das tú al caballo la valentía, y revistes su cuello con la airosa melena?
“Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 ¿Le enseñas tú a saltar como la langosta, a esparcir terror con su potente relincho?
Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 Hiere la tierra, orgulloso de su fuerza, y se lanza al combate,
Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo, n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22 riéndose del miedo; no se acobarda, ni retrocede ante la espada.
Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa. Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23 Si oye sobre sí el ruido de la aljaba, el vibrar de la lanza y del dardo,
Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo, awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 con ímpetu fogoso sorbe la tierra, no deja contenerse al sonido de la trompeta.
Mu busungu obungi emira ettaka, tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 Cuando suena la trompeta, dice: «¡Adelante!»; huele de lejos la batalla, la voz del mando de los capitanes, y el tumulto del combate.
Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’ N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala, n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.
26 ¿Es acaso por obra tuya que emprende vuelo el gavilán, tendiendo sus alas hacia el sur?
“Amagezi go ge gabuusa kamunye, n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 ¿Es por orden tuya que remonta el águila, y pone su nido en las alturas?
Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga, era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28 Habita en la peña, y tiene su morada en la cima de las rocas más inaccesibles.
Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo, ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 Allí acecha la presa, desde lejos atisban sus ojos.
Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya, eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 Sus polluelos chupan la sangre; y doquiera que haya cadáveres se la encuentra.”
Obwana bwayo bunywa omusaayi, era awali emirambo w’ebeera.”