< Числа 16 >
1 И глагола Корей, сын Иссаара сына Каафа сына Левиина, и Дафан и Авирон, сынове Елиавли, и Авнан сын Фалефа сына Рувимля:
Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula
2 и восташа на Моисеа, и мужи сынов Израилевых двести и пятьдесят началницы сонма, сигклитики совета и мужи именити.
ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu.
3 Совосташа на Моисеа и Аарона и реша к ним: довлеет вам, яко весь сонм вси святи, и в них Господь: и чесо ради востаете на сонм Господнь?
Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”
4 И слышав Моисей, паде ниц.
Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi.
5 И глагола к Корею и ко всему сонму его, глаголя: согляда и позна Господь сущих Его и святых, и приведе к Себе: и ихже не избра Себе, не приведе к себе:
N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali.
6 сие сотворите: возмите себе сами кадилники, Корей и весь сонм его,
Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo,
7 и вложите огнь в ня, и вложите в ня фимиам пред Господем утре: и будет муж, егоже аще изберет Господь, сей свят: да довлеют вам сынове Левиины.
enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”
8 И рече Моисей Корею: послушайте мене, сынове Левиини:
Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi!
9 еда мало есть сие вам, яко отлучи вас Бог от сонма Израилева и приведе вас к Себе служити службы в скинии Господни и стояти пред сонмом Господним, еже служити им?
Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza?
10 И приведе тя и всю братию твою, сыны Левиины с тобою, и просите священствовати?
Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye?
11 Тако ты и весь сонм твой собравшийся на Бога: и Аарон кто есть, яко ропщете нань?
Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”
12 И посла Моисей призвати Дафана и Авирона, сыны Елиавли. И реша: не идем:
Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja!
13 еда мало се, яко извел еси ны из земли кипящия млеком и медом, еже погубити нас в пустыни, яко владееши нами? Князь еси:
Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge?
14 и ты ли в землю кипящую медом и млеком ввел еси нас и дал еси нам часть села и винограда? Очи человек тех изткнул еси: не идем.
Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”
15 И отягча Моисей гневом зело и рече к Господу: не внемли на жертву их: ни единаго похотения от них приях, ниже озлобих кого от них.
Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”
16 И рече Моисей к Корею: освяти сонм твой, и будите готови пред Господа ты и Аарон и они заутра:
Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni.
17 и возмите кийждо кадилник свой, и возложите на ня фимиам, и принесите пред Господа кийждо кадилник свой, двести и пятьдесят кадилников, и ты и Аарон кийждо кадилник свой.
Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.”
18 И взяша кийждо свой кадилник, и возложиша на ня огнь, и вложиша в ня фимиам, и сташа пред дверми скинии свидения Моисей и Аарон.
Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
19 И собра на ня Корей весь сонм свой пред дверми скинии свидения: и явися слава Господня всему сонму.
Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye.
20 И рече Господь к Моисею и Аарону, глаголя:
Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
21 отступите кийждо от среды сонма сего, и потреблю Я абие.
“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”
22 И падоста на лица своя и рекоста: Боже, Боже духов и всякия плоти: аще человек един согреши, на весь ли сонм гнев Господнь?
Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
23 И рече Господь к Моисею, глаголя:
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
24 рцы сонму, глаголя: отступите окрест от сонма Кореева и Дафаня и Авироня.
“Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”
25 И воста Моисей, и иде к Дафану и Авирону: и идоша с ним вси старцы Израилтестии.
Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera.
26 И рече к сонму, глаголя: отступите от кущ человек жестокосердых сих, и не прикоснитеся ко всем, елика суть им, да не погибнете купно во всем гресе их.
N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.”
27 И отступиша от кущ Кореа и Дафана и Авирона окрест: Дафан же и Авирон изыдоста и стаста пред дверми кущ своих, и жены их, и дети их и имение их.
Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto.
28 И рече Моисей: в сем познаете, яко Господь посла мя сотворити вся дела сия, яко не от себе (аз творю сия):
Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange.
29 аще смертию всех людий умрут сии, и аще по присещению всех человек посещение будет их, то не Господь посла мене:
Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye.
30 но явно покажет Господь, и отверзши земля уста своя пожрет я и домы их, и кущы их и вся, елика суть их, и снидут живи во ад, и уведите, яко разгневаша человецы сии Господа. (Sheol )
Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.” (Sheol )
31 Егда же преста глаголя вся словеса сия, разседеся земля под ногами их:
Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri,
32 и разверзеся земля, и пожре я и домы их, и вся люди сущыя с Кореом, и скоты их:
ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna.
33 и снидоша тии, и вся, елика суть их, живи во ад, и покры их земля, и погибоша от среды сонма: (Sheol )
Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. (Sheol )
34 и весь Израиль, и иже окрест их, отбегоша от вопля их, зане рекоша, глаголюще: да не пожрет нас земля.
Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
35 И огнь изыде от Господа и пояде двести и пятьдесят мужей принесших фимиам.
Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.
36 И рече Господь к Моисею.
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
37 И ко Елеазару сыну Ааронову жерцу: соберите кадилники медяныя от среды изгоревших, и огнь чуждий сей разсыплите тамо, яко освятишася кадилницы грешных сих в душах их:
“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala.
38 и сотворите я дщицы кованы, обложение у олтаря, яко принесошася пред Господа и освятишася, и быша в знамение сыном Израилевым.
Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”
39 И взя Елеазар сын Аарона жерца кадилники медяныя, елики принесоша изгоревшии, и обложиша я во обложение олтаря,
Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto,
40 в память сыном Израилевым яко да никтоже приидет иноплеменник, иже несть от семене Аароня, еже возложити фимиам пред Господем, и да не будет, якоже Корей и советницы его, якоже глагола ему Господь рукою Моисеовою.
kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.
41 И возропташа сынове Израилтестии на утрие на Моисеа и Аарона, глаголюще: вы избисте люди Господни.
Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.”
42 И бысть егда нападе сонм на Моисеа и Аарона, и устремишася к скинии свидения:
Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka.
43 и покры оную облак, и явися слава Господня: и вниде Моисей и Аарон пред скинию свидения.
Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
44 И рече Господь к Моисею и Аарону, глаголя:
Mukama n’agamba Musa nti,
45 уступите от среды сонма сего и потреблю я единицею. И падоста на лица своя.
“Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.
46 И рече Моисей ко Аарону: возми кадилник, и вложи в него огнь от олтаря, и возложи нань фимиам, и понеси скоро в полк, и помолися о них: изыде бо гнев от лица Господня, и нача губити люди.
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.”
47 И взя Аарон, якоже глагола ему Моисей, и тече в сонм, уже бо начася пагуба в людех: и возложи фимиам, и помолися о людех:
Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra;
48 и ста между мертвыми и живыми, и преста пагуба.
n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa.
49 И бысть умерших в пагубе четыренадесять тысящ и седмь сот кроме умерших Кореа ради.
Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko.
50 И возвратися Аарон к Моисею, к дверем скинии свидения, и преста пагуба.
Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.