< От Луки святое благовествование 24 >
1 Во едину же от суббот зело рано приидоша на гроб, носящя яже уготоваша ароматы: и другия с ними:
Awo ku lunaku Lwassande, lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana.
2 обретоша же камень отвален от гроба,
Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali.
3 и вшедшя не обретоша телесе Господа Иисуса.
Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu.
4 И бысть не домышляющымся им о сем, и се, мужа два стаста пред ними в ризах блещащихся.
Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu.
5 Пристрашным же бывшым им и поклоньшым лица на землю, рекоста к ним: что ищете живаго с мертвыми?
Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana?
6 Несть зде, но воста: помяните, якоже глагола вам, еще сый в Галилеи,
Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
7 глаголя, яко подобает Сыну Человеческому предану быти в руце человек грешник, и пропяту быти, и в третий день воскреснути.
‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’”
8 И помянуша глаголголы Его,
Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.
9 и возвращшяся от гроба, возвестиша вся сия единомунадесяте и всем прочым.
Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo:
10 Бяше же Магдалина Мариа и Иоанна и Мариа Иаковля, и прочыя с ними, яже глаголаху ко Апостолом сия.
Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo.
11 И явишася пред ними яко лжа глаголы их, и не вероваху им.
Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza.
12 Петр же востав тече ко гробу и приник виде ризы едины лежащя: и отиде, в себе дивяся бывшему.
Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
13 И се, два от них беста идуща в тойже день в весь отстоящу стадий шестьдесят от Иерусалима, ейже имя Еммаус:
Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi.
14 и та беседоваста к себе о всех сих приключшихся.
Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu.
15 И бысть беседующема има и совопрошающемася, и Сам Иисус приближився идяше с нима:
Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo.
16 очи же ею держастеся, да Его не познаета.
Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.
17 Рече же к нима: что суть словеса сия, о нихже стязаетася к себе идуща, и еста дряхла?
Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?” Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku.
18 Отвещав же един, емуже имя Клеопа, рече к Нему: Ты ли един пришлец еси во Иерусалим, и не уведел еси бывших в нем во дни сия?
Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
19 И рече има: киих? Она же реста Ему: яже о Иисусе Назарянине, Иже бысть муж пророк, силен делом и словом пред Богом и всеми людьми:
Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna.
20 како предаша Его архиерее и князи наши на осуждение смерти и распяша Его:
Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21 мы же надеяхомся, яко Сей есть хотя избавити Израиля: но и над всеми сими, третий сей день есть днесь, отнелиже сия быша:
Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri.
22 но и жены некия от нас ужасиша ны, бывшыя рано у гроба:
Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana,
23 и не обретшя телесе Его, приидоша, глаголющя, яко и явление Ангел видеша, иже глаголют Его жива:
naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu!
24 и идоша нецыи от нас ко гробу и обретоша тако, якоже и жены реша: Самаго же не видеша.
Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”
25 И Той рече к нима: о несмысленная и косная сердцем, еже веровати о всех, яже глаголаша пророцы:
Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza!
26 не сия ли подобаше пострадати Христу и внити в славу Свою?
Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27 И начен от Моисеа и от всех пророк, сказаше има от всех Писаний яже о Нем.
N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
28 И приближишася в весь, в нюже идяста: и Той творяшеся далечайше ити:
Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo,
29 и нуждаста Его, глаголюща: облязи с нама, яко к вечеру есть, и приклонился есть день. И вниде с нима облещи.
naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.
30 И бысть яко возлеже с нима, (и) приим хлеб благослови, и преломив даяше има:
Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa.
31 онема же отверзостеся очи, и познаста Его: и Той невидимь бысть има.
Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako!
32 И рекоста к себе: не сердце ли наю горя бе в наю, егда глаголаше нама на пути и егда сказоваше нама Писания?
Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
33 И воставша в той час, возвратистася во Иерусалим и обретоста совокупленых единонадесяте и иже бяху с ними,
Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye,
34 глаголющих, яко воистинну воста Господь и явися Симону.
nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!”
35 И та поведаста, яже быша на пути, и яко познася има в преломлении хлеба.
Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.
36 Сия же им глаголющым, (и) Сам Иисус ста посреде их и глагола им: мир вам.
Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!”
37 Убоявшеся же и пристрашни бывше, мняху дух видети:
Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu!
38 и рече им: что смущени есте? И почто помышления входят в сердца ваша?
Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe?
39 Видите руце Мои и нозе Мои, яко сам Аз есмь: осяжите Мя и видите: яко дух плоти и кости не имать, якоже Мене видите имуща.
Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”
40 И сие рек, показа им руце и нозе.
Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye.
41 Еще же неверующым им от радости и чудящымся, рече им: имате ли что снедно зде?
Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?”
42 Они же даша Ему рыбы печены часть и от пчел сот.
Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye,
n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!
44 рече же им: сия суть словеса, яже глаголах к вам еще сый с вами, яко подобает скончатися всем написанным в законе Моисеове и пророцех и псалмех о Мне.
N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”
45 Тогда отверзе им ум разумети Писания
N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa.
46 и рече им, яко тако писано есть, и тако подобаше пострадати Христу и воскреснути от мертвых в третий день,
N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu.
47 и проповедатися во имя Его покаянию и отпущению грехов во всех языцех, наченше от Иерусалима:
Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.
48 вы же есте свидетелие сим:
Muli bajulirwa b’ebyo,
49 и се, Аз послю обетование Отца Моего на вы: вы же седите во граде Иерусалимсте, дондеже облечетеся силою свыше.
Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”
50 Извед же их вон до Вифании и воздвиг руце Свои, (и) благослови их.
Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa.
51 И бысть егда благословляше их, отступи от них и возношашеся на небо.
Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu.
52 И тии поклонишася Ему, и возвратишася во Иерусалим с радостию великою:
Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi.
53 и бяху выну в церкви, хваляще и благословяще Бога. Аминь.
Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.