< От Луки святое благовествование 11 >
1 И бысть внегда быти Ему на месте некоем молящуся, (и) яко преста, рече некий от ученик Его к Нему: Господи, научи ны молитися, якоже и Иоанн научи ученики своя.
Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2 Рече же им: егда молитеся, глаголите: Отче наш, иже на небесех, да святится имя Твое: да приидет Царствие Твое: да будет воля Твоя, яко на небеси, и на земли:
N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, “‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje.
3 хлеб наш насущный подавай нам на всяк день:
Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
4 и остави нам грехи нашя, ибо и сами оставляем всякому должнику нашему: и не введи нас во искушение, но избави нас от лукаваго.
Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’”
5 И рече к ним: кто от вас имать друга, и идет к нему в полунощи, и речет ему: друже, даждь ми взаим три хлебы:
Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu,
6 понеже друг прииде с пути ко мне, и не имам чесо предложити ему.
kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’”
7 И той извнутрь отвещав речет: не твори ми труды: уже двери затворены суть, и дети моя со мною на ложи суть: (и) не могу востав дати тебе.
“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’
8 Глаголю же вам: аще и не даст ему востав, зане друг ему есть: но за безочьство его, востав даст ему, елика требует.
Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.
9 И Аз вам глаголю: просите, и дастся вам: ищите, и обрящете: толцыте, и отверзется вам:
“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo.
10 всяк бо просяй приемлет, и ищяй обретает, и толкущему отверзется.
Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.
11 Котораго же вас отца воспросит сын хлеба, еда камень подаст ему? Или рыбы, еда в рыбы место змию подаст ему?
“Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota?
12 Или аще попросит яица, еда подаст ему скорпию?
Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba?
13 Аще убо вы зли суще, умеете даяния блага даяти чадом вашым, кольми паче Отец, иже с небесе, даст Духа Святаго просящым у Него?
Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
14 И бе изгоня беса, и той бе нем: бысть же бесу изшедшу, проглагола немый: и дивишася народи.
Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya.
15 Нецыи же от них реша: о веельзевуле князи бесовстем изгонит бесы.
Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!”
16 Друзии же искушающе, знамения от Него искаху с небесе.
Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
17 Он же ведый помышления их, рече им: всяко царство само в себе разделяяся, запустеет: и дом на дом, падает.
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika.
18 Аще же и сатана сам в себе разделися, како станет царство его, якоже глаголете, о веельзевуле изгонящя Мя бесы.
Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli.
19 Аще же Аз о веельзевуле изгоню бесы, сынове ваши о ком изгонят? Сего ради тии будут вам судии.
Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango.
20 Аще ли же о персте Божии изгоню бесы, убо постиже на вас Царствие Божие.
Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
21 Егда крепкий вооружився хранит свой двор, во смирении суть имения его:
“Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye.
22 егда же креплей его нашед победит его, все оружие его возмет, на неже уповаше, и корысть его раздает.
Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.
23 Иже несть со Мною, на Мя есть: и иже не собирает со Мною, расточает.
“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
24 Егда (же) нечистый дух изыдет от человека, преходит сквозе безводная места, ищя покоя: и не обретая, глаголет: возвращуся в дом мой, отнюдуже изыдох.
“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’
25 И пришед обрящет и пометен и украшен:
Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke.
26 тогда идет и поймет седмь других духов горших себе, и вшедше живут ту: и бывают последняя человеку тому горша первых.
Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
27 Бысть же егда глаголаше сия, воздвигши некая жена глас от народа, рече Ему: блажено чрево носившее Тя, и сосца, яже еси ссал.
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
28 Он же рече: темже убо блажени слышащии слово Божие и хранящии е.
Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
29 Народом же собирающымся начат глаголати: род сей лукав есть: знамения ищет, и знамение не дастся ему, токмо знамение Ионы пророка:
Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona.
30 якоже бо бысть Иона знамение Ниневитом, тако будет и Сын Человеческий роду сему.
Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno.
31 Царица южская востанет на суд с мужи рода сего, и осудит их: яко прииде от конец земли слышати премудрость Соломонову: и се множае Соломона зде.
Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano.
32 Мужие Ниневитстии востанут на суд с родом сим и осудят и: яко покаяшася проповедию Иониною: и се, множае Ионы зде.
Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
33 Никтоже (убо) светилника вжег, в скрове полагает, ни под спудом, но на свещнице, да входящии свет видят.
“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba.
34 Светилник телу есть око: егда убо око твое просто будет, все тело твое светло будет: егда же лукаво будет, и тело твое темно:
Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza.
35 блюди убо, еда свет, иже в тебе, тма есть.
Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe.
36 Аще бо тело твое все светло, не имый некия части темны, будет светло все, якоже егда светилник блистанием прсвещает тя.
Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
37 Егда же глаголаше, моляше Его фарисей некий, да обедует у него: вшед же возлеже.
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya.
38 Фарисей же видев дивися, яко не прежде крестися прежде обеда.
Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
39 Рече же Господь к нему: ныне вы, фарисее, внешняя сткляницы и блюда очищаете, внутреннее же ваше полно грабления есть и лукавства.
Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu.
40 Безумнии, не Иже ли сотвори внешнее, и внутреннее сотворил есть?
Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda?
41 Обаче от сущих дадите милостыню: и се, вся чиста вам будут.
Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
42 Но горе вам фарисеом, яко одесятствуете от мятвы и пигана и всякаго зелия, и мимоходите суд и любовь Божию: сия подобаше сотворити, и онех не оставляти.
“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
43 Горе вам фарисеом, яко любите председания на сонмищих и целования на торжищих.
“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
44 Горе вам, книжницы и фарисее, лицемери, яко есте яко гроби неведоми, и человецы ходящии верху не ведят.
“Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”
45 Отвещав же некий от законник рече Ему: Учителю, сия глаголя и нам досаждаеши.
Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”
46 Он же рече: и вам законником горе, яко накладаете на человеки бремена не удобь носима, и сами единем перстом вашим не прикасаетеся бременем.
Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
47 Горе вам, яко зиждете гробы пророк, отцы же ваши избиша их:
“Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta.
48 убо свидетелствуете и соблаговолите делом отец ваших: яко тии убо избиша их, вы же зиждете их гробы.
Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo.
49 Сего ради и премудрость Божия рече: послю в них пророки и Апостолы, и от них убиют и изженут:
Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’
50 да взыщется кровь всех пророк, проливаемая от сложения мира, от рода сего,
Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi,
51 от крове Авеля даже до крове Захарии, погибшаго между олтарем и храмом: ей, глаголю вам, взыщется от рода сего.
okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
52 Горе вам законником, яко взясте ключь разумения: сами не внидосте, и входящым возбранисте.
“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
53 Глаголющу же Ему сия к ним, начаша книжницы и фарисее бедне гневатися Нань и престати Его о мнозе,
Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako,
54 лающе Его, ищуще уловити нечто от уст Его, да Нань возглаголют.
nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.