< Левит 20 >

1 И рече Господь к Моисею, глаголя:
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 рцы сыном Израилевым, глаголя: аще кто от сынов Израилевых, или от прибывших пришелцев во Израили, иже аще даст от семене своего Молоху, смертию да умрет: людие земли да побиют его камением:
“Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja.
3 и Аз утвержу лице Мое на человека того и погублю его от людий его, яко от семене своего даде Молоху, да осквернит святыню Мою и осквернит имя освященных Мне.
Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.
4 Аще же презрением презрят туземцы земли очима своима от человека того, внегда дати ему от семене своего Молоху, еже не убити его:
Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta,
5 и утвержу лице Мое на человека того и на сродники его, и погублю его и всех единомыслящих с ним, еже соблуждати ему со идолы от людий своих.
omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
6 И душа яже аще последует утробным баснем или волхвом, яко соблудити вслед их, утвержу лице Мое на душу ту и погублю ю от людий ея.
“‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
7 И будете святи, яко Аз свят Господь Бог ваш.
“‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
8 И сохраните повеления Моя и сотворите я: Аз Господь освящаяй вас.
Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.
9 Человек человек, иже аше зло речет отцу своему или матери своей, смертию да умрет: отцу своему или матери своей зле рече, повинен будет.
“‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
10 Человек человек, иже аще прелюбы содеет с мужнею женою, или кто прелюбы содеет с женою ближняго своего, смертию да умрут прелюбодей и прелюбодейца.
“‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.
11 И иже аще пребудет с женою отца своего, срамоту отца своего открыл есть, смертию да умрут оба, повинни суть.
“‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
12 И аще кто будет с невесткою своею, смертию да умрут оба, нечествоваша бо, повинни суть.
“‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
13 И аще кто будет с мужеским полом ложем женским, гнусность сотвориша оба, смертию да умрут, повинни суть:
“‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
14 иже аще поймет жену и матерь ея, беззаконие есть, огнем да сожгут его и оныя, и не будет беззаконие в вас.
“‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
15 И иже аще даст ложе свое четвероножному, смертию да умрет, четвероножное же убиете.
“‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga.
16 И жена яже аше приступит ко всякому скоту, еже быти с ним, да убиете жену и скот, смертию да умрут, повинни суть.
“‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.
17 Иже аще поймет сестру свою от отца своего или от матере своея, и увидит срамоту ея, и она увидит срамоту его, укоризна есть, да потребятся пред сыны рода их: срамоту сестры своея откры, грех приимут.
“‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
18 И муж иже будет с женою сквернавою и открыет срамоту ея, течение ея откры, и она откры течение крове своея, да потребятся оба от рода их.
“‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
19 И срамоту сестры отца твоего и сестры матере твоея да не открыеши: ужичество бо откры, грех понесут.
“‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
20 Иже аще будет со сродницею своею, срамоту сродства своего откры, безчадни измрут.
“‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
21 И человек иже аще поймет жену брата своего, нечистота есть: срамоту брата своего открыл есть, безчадни измрут.
“‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
22 И сохраните вся повеления Моя и вся судбы Моя и сотворите я, и не вознегодует на вас земля, в нюже Аз введу вы тамо вселитися на ней.
“‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.
23 И не ходите в законы языческия, ихже Аз изгоню от вас: яко сия вся сотвориша, и возгнушахся ими.
Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.
24 И рех к вам: вы наследите землю их, и Аз дам вам ю в притяжание, землю текущую медом и млеком, Аз Господь Бог ваш, отлучивый вас от всех язык.
Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
25 И отлучите себе между скоты чистыми и между скоты нечистыми, и между птицами чистыми и нечистыми: и не оскверните душ ваших в скотех и в птицах и во всех гадех земных, яже Аз отлучих вам в нечистоте,
“‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu.
26 и будете Ми святи, яко Аз свят есмь Господь Бог ваш, отлучивый вас от всех язык быти Моими.
Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
27 И муж или жена иже аще будет от них чревобасник или волшебник, смертию да умрут оба: камением да побиете их, повинни суть.
“‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’”

< Левит 20 >