< Книга пророка Амоса 4 >

1 Слышите слово сие, юницы Васанитидския, яже в горе Самарийстей, преобидящыя убогих и попирающыя нищих, глаголющыя господем своим: подадите нам, да пием.
Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya, mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku, era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
2 Клятся Господь святыми Своими, яко се, дние грядут на вы, и возмут вы во оружии, и сущих с вами ввергут в конобы подгнещаемыя огненнии губителие:
Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika n’amalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
3 и извержены будете наги прямо друг друга и отвержетеся в гору Ремман, глаголет Господь.
Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe, musuulibwe ku Kalumooni, bw’ayogera Mukama.
4 Внидосте в Вефиль и беззаконновасте, и в Галгалех умножисте еже нечествовати, и принесосте заутра требы вашя, в треденство десятины вашя:
Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana; era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi. Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya, n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
5 и прочтоша извне закон и призваша исповедание: возвестите, яко сия возлюбиша сынове Израилевы, глаголет Господь Бог.
Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa, mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire; mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri kubanga ekyo kye mwagala,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
6 Аз же дам вам оскомину зубом во всех градех ваших и недостаток хлеба во всех местех ваших: и не обратистеся ко Мне, глаголет Господь.
“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
7 И аз удержах дождь от вас прежде триех месяцев жатвы, и надождю на един град, а на другий (един) не надождю: часть едина надождится, и часть, на нюже не надождю, изсохнет:
“Ne mbamma enkuba ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke. Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ne ngiziyiza mu kirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 и соберутся два и три града во град един пити воду и не насытятся: и не обратистеся ко Мне, глаголет Господь.
Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko, naye ne gababula; naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
9 Побих вы раждежением и златеницею: умножисте вертограды вашя, винограды вашя и смоквы вашя и масличия ваша: сия поядоша гусеницы: и ниже тако обратистеся ко Мне, глаголет Господь.
“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza. Nabileetako obulwadde. Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe, naye era temwadda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
10 Послах на вы смерть на пути Египетстем, и избих оружием юношы вашя, с пленом коней твоих, и изведох во огни Полки вашя во гневе Моем: и ниже тако обратистеся ко Мне, глаголет Господь.
“Nabasindikira kawumpuli nga gwe nasindika mu Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba. Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo naye era ne mugaana okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
11 Разорих вы, якоже разори Бог Содому и Гоморру, и бысте яко главня исторжена из огня: и ниже тако обратистеся ко Мне, глаголет Господь.
“Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola, ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka naye era ne mulema okudda gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
12 Сего ради сице сотворю ти, Израилю: обаче, яко сице сотворю ти, уготовися призывати Бога твоего, Израилю.
“Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri, era ndikwongerako ebibonoobono. Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 Се, Аз утвержаяй гром и созидаяй ветр и возвещаяй в человецех Христа Своего, творяй утро и мглу и восходяй на высокая земли: Господь Бог Вседержитель имя Ему.
Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi. Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

< Книга пророка Амоса 4 >