< 4 Мојсијева 9 >
1 Још рече Господ Мојсију у пустињи Синајској друге године по изласку њиховом из земље Мисирске првог месеца, говорећи:
Awo Mukama n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti,
2 Нека славе синови Израиљеви пасху у одређено време.
“Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa.
3 Четрнаестог дана овог месеца увече славите је у одређено време, по свим законима и по свим уредбама њеним славите је.
Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.”
4 И рече Мојсије синовима Израиљевим да славе пасху.
Bw’atyo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako;
5 И славите пасху првог месеца четрнаестог дана увече у пустињи Синајској; како беше Господ заповедио Мојсију, све онако учинише синови Израиљеви.
era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 А беху неки који се оскврнише о мртваца те не могаху славити пасхе онај дан; и дођоше исти дан пред Мојсија и пред Арона;
Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini,
7 И рекоше му људи они: Ми смо нечисти од мртваца; зашто да нам није слободно принети жртву Господу у време заједно са синовима Израиљевим?
ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”
8 А Мојсије им рече: Станите да чујем шта ће заповедити Господ за вас.
Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.”
9 А Господ рече Мојсију говорећи:
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
10 Кажи синовима Израиљевим и реци: Ко би био нечист од мртваца или би био на далеком путу између вас или између вашег натражја, нека слави пасху Господу,
“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda.
11 Другог месеца четрнаестог дана увече нека је славе с пресним хлебом и с горким зељем нека је једу.
Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa.
12 Нека не остављају од ње ништа до јутра и кости да јој не преломе, по свему закону за пасху нека је славе.
Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira.
13 А ко је чист и није на путу, па би пропустио славити пасху, да се истреби душа она из народа свог, јер не принесе Господу жртве на време, грех свој нека носи онај човек.
Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe.
14 И ако би међу вама живео странац и славио би пасху Господу, по закону и уредби за пасху нека је слави; а закон да вам је једнак и странцу и ономе ко се родио у земљи.
“‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’”
15 А у који дан би подигнут шатор, покри облак шатор над наслоном од сведочанства; а увече беше над шатором као огањ до јутра.
Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro.
16 Тако беше једнако: облак га заклањаше, али ноћу беше као огањ.
Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro.
17 И кад би се облак подигао изнад шатора, тада полажаху синови Израиљеви, а где би стао облак, онде се заустављаху синови Израиљеви.
Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira.
18 По заповести Господњој полажаху синови Израиљеви, и по заповести Господњој устављаху се; докле год стајаше облак над шатором, они стајаху у логору,
Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe.
19 И кад облак дуго стајаше над шатором, тада свршиваху синови Израиљеви шта треба свршивати Господу и не полажаху.
Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula.
20 И кад облак беше над шатором мало дана, по заповести Господњој стајаху у логору и по заповести Господњој полажаху.
Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga.
21 Кад би, пак, облак стајао од вечера до јутра, а ујутро би се подигао облак, тада полажаху; било дању или ноћу, кад би се облак подигао, они полажаху.
Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula.
22 Ако ли би два дана или месец дана или годину облак стајао над шатором, стајаху у логору синови Израиљеви и не полажаху, а како би се подигао, они полажаху.
Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula.
23 По заповести Господњој стајаху у логор, и по заповести Господњој полажаху; и свршиваху шта треба свршивати Господу, као што беше заповедио Господ преко Мојсија.
Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa.