< 4 Мојсијева 6 >
1 Још рече Господ Мојсију говорећи:
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 Реци синовима Израиљевим, и кажи им: Кад човек или жена учини завет назирејски, да буде назиреј Господу,
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti,
3 Нека се уздржава од вина и силовитог пића, и нека не пије оцта винског ни оцта од силовитог пића нити каквог пића од грожђа и нека не једе грожђа ни новог ни сувог.
anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo.
4 Докле год траје његово назирејство нека не једе ништа од винове лозе, ни зрна ни љуске.
Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
5 Докле траје његово назирејство, нека му бритва не пређе преко главе; докле се не наврше дани за које се учинио назиреј Господу, нека буде свет и нека оставља косу на глави својој.
“Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa.
6 Докле трају дани за које се учинио назиреј Господу, нека не приступа к мртвацу.
Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde.
7 Ни за оцем својим ни за матером својом ни за братом својим ни за сестром својом, нека се за њима не скврни кад умру; јер је назирејство Бога његовог на глави његовој.
Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Katonda kanaabanga kali ku mutwe gwe.
8 Докле год траје назирејство његово, свет је Господу.
Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.
9 Ако ли би ко умро до њега на пречац, те би оскврнио назирејство главе његове, нека обрије главу своју у дан чишћења свог, седми дан нека је обрије.
“Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu.
10 А осми дан нека донесе две грлице или два голубића свештенику на врата шатора од састанка.
Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
11 И свештеник нека зготови од једног жртву за грех а од другог жртву паљеницу, и нека га очисти од оног што је згрешио код мртваца; тако ће посветити главу његову у тај дан.
Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe.
12 И нека одели Господу дане назирејства свог, и донесе јагње од године за кривицу; а пређашњи дани пропадају, јер му се оскврнило назирејство.
Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula.
13 А ово је закон за назиреје: кад се наврше дани назирејства његовог, нека дође на врата шатора од састанка.
“Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
14 И нека донесе за жртву Господу јагње мушко од године здраво за жртву паљеницу, и јагње женско од године здраво за грех, и овна здравог за жртву захвалну.
Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe;
15 И котарицу хлебова пресних, колача од белог брашна замешаних с уљем, и погача пресних намазаних уљем, с даром њиховим и с наливом њиховим.
n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa.
16 А то ће свештеник принети пред Господом и учинити жртву за грех његов и жртву његову паљеницу.
“Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa.
17 А овна ће принети на жртву захвалну Господу с котарицом пресних хлебова; принеће свештеник и дар његов и налив његов.
Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.
18 Тада назиреј нека обрије главу свог назирејства на вратима шатора од састанка; и узевши косу назирејства свог нека је метне у огањ који је под жртвом захвалном.
“Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.
19 И свештеник нека узме плеће кувано од овна и један колач пресан из котарице и једну погачу пресну, и нека метне на руке назиреју, пошто обрије назирејство своје.
“Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze.
20 И свештеник нека обрће те ствари на жртву обртану пред Господом; то је светиња, која припада свештенику осим груди обртаних и плећа подигнутог; а после тога назиреј може пити вино.
Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.
21 То је закон за назиреја који се заветује, и то је принос његов Господу за назирејство његово, осим оног што би више могао учинити; какав му буде завет којим се заветује, тако нека учини осим закона свог назирејства.
“Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.”
22 Још рече Господ Мојсију говорећи:
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
23 Реци Арону и синовима његовим и кажи: Овако благосиљајте синове Израиљеве говорећи им:
“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:
24 Да те благослови Господ и да те чува!
“‘Mukama Katonda akuwe omukisa, akukuume;
25 Да те обасја Господ лицем својим и буде ти милостив!
Mukama Katonda akwakize amaaso ge akukwatirwe ekisa;
26 Да Господ обрати лице своје к теби и даде ти мир!
Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge akuwe emirembe.’
27 И нека призивају име моје на синове Израиљеве, и ја ћу их благословити.
“Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”