< 4 Мојсијева 20 >

1 И синови Израиљеви, сав збор њихов, дођоше у пустињу синску првог месеца, и стаде народ у Кадису; и онде умре Марија, и би погребена онде.
Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
2 А онде немаше збор воде, те се скупише на Мојсија и на Арона.
Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni.
3 И свађаше се народ с Мојсијем, и говораху: Камо да смо помрли кад помреше браћа наша пред Господом!
Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda!
4 Зашто доведосте збор Господњи у ову пустињу да изгинемо овде и ми и стока наша?
Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe?
5 И зашто нас изведосте из Мисира да нас доведете на ово зло место, где не роди ни жито ни смоква ни грожђе ни шипак, а ни воде нема за пиће?
Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
6 И дође Мојсије и Арон испред збора на врата шатора од састанка, и падоше ничице; и показа им се слава Господња.
Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.
7 И рече Господ Мојсију говорећи:
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
8 Узми штап, и сазовите збор ти и Арон брат твој, и проговорите стени пред њима; те ће дати воду своју; тако ћеш им извести воду из стене, и напојићеш збор и стоку њихову.
“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
9 И Мојсије узе штап испред Господа, како му заповеди Господ.
Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
10 И сазваше Мојсије и Арон збор пред стену, и он им рече: Слушајте одметници! Хоћемо ли вам из ове стене извести воду?
Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
11 И диже Мојсије руку своју и удари у стену штапом својим два пута, и изиђе вода многа, те се напоји народ и стока њихова.
Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
12 А Господ рече Мојсију и Арону: Што ми не веровасте и не прослависте ме пред синовима Израиљевим, зато нећете одвести збора тог у земљу коју сам им дао.
Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
13 То је вода од свађе, где се свађаше синови Израиљеви с Господом, и Он се прослави међу њима.
Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
14 Иза тога посла Мојсије посланике из Кадиса к цару едомском да му кажу: Овако каже брат твој Израиљ: Ти знаш све невоље које нас снађоше:
Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti, “Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi.
15 Како наши оци сиђоше у Мисир, и бејасмо у Мисиру дуго времена, и како Мисирци зло чинише нама и оцима нашим;
Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe;
16 И викасмо ка Господу, и Господ чу глас наш, и посла анђела, који нас изведе из Мисира; и ево смо у Кадису, граду на твојој међи.
naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
17 Пусти нас да прођемо кроз твоју земљу; нећемо ићи преко поља ни преко винограда, нити ћемо пити воде из ког студенца; ићи ћемо царским путем, нећемо свртати ни надесно ни налево док не пређемо међу твоју.
“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
18 А Едом му одговори: Не иди преко моје земље, да не изиђем с мачем преда те.
Naye Edomu n’addamu nti, “Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”
19 А синови Израиљеви рекоше му: Ићи ћемо утреником, и ако се напијемо воде твоје, ми или стока наша, платићемо је; ништа више, само да пешице прођемо.
Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti, “Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
20 А он им одговори: Нећете проћи. И изиђе Едом пред њих с много народа и с великом силом.
Naye Edomu n’addamu nti, “Temuyitawo.” Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi.
21 И кад не хте Едом допустити Израиљу да приђе преко међе његове, Израиљ отиде од њега.
Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.
22 И кренувши се од Кадиса дођоше синови Израиљеви, сав збор њихов, ка гори Ору.
Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola.
23 И Господ рече Мојсију и Арону на гори Ору код међе едомске говорећи:
Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti,
24 Арон ваља да се прибере к роду свом, јер неће ући у земљу коју сам дао синовима Израиљевим, јер не послушасте заповести моје на води од свађе.
“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba.
25 Узми Арона и Елеазара сина његовог, и изведи их на гору Ор.
Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola;
26 И свуци Арону хаљине његове и обуци их Елеазару сину његовом, па ће се Арон прибрати и умрети онде.
Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27 И учини Мојсије како заповеди Господ; и изиђоше на гору Ор пред свим збором.
Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba.
28 И свуче Мојсије с Арона хаљине његове и обуче их Елеазару, сину његовом, и умре онде Арон наврх горе, а Мојсије и Елеазар сиђоше с горе.
Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi.
29 А кад виде сав збор да умре Арон, плака сав дом Израиљев за Ароном тридесет дана.
Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.

< 4 Мојсијева 20 >