< Књига Немијина 4 >
1 А кад чу Санавалат да зидамо зид, разгневи се и расрди се врло, и ругаше се Јеврејима,
Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, n’anyiiga nnyo era n’ajjula obuswandi. N’aduulira Abayudaaya
2 И говораше пред браћом својом и војницима самаријским: Шта раде ти немоћни Јудејци? Хоћемо ли их оставити? Хоће ли приносити жртве? Хоће ли сада свршити? Еда ли ће у живот повратити из праха камење спаљено?
mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”
3 А Товија Амонац који беше уза њ рече: Нека зидају; да лисица дође провалиће камени зид њихов.
Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”
4 Чуј, Боже наш, како нас презиру; обрати руг њихов на њихову главу, и дај да буду грабеж у земљи где би робовали.
Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe.
5 И не покривај безакоња њихова, и грех њихов да се не избрише пред Тобом, јер Те дражише за оне који зидају.
Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”
6 И тако зидасмо зид, и сав се зид састави до половине, и народ имаше вољу да ради.
Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.
7 А кад чу Санавалат и Товија и Арапи и Амонци и Азоћани да се поправља зид јерусалимски и да се почело затварати шта је проваљено, разгневише се врло;
Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo.
8 И сложише се сви заједно да дођу и да ударе на Јерусалим и да смету.
Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula.
9 А ми се молисмо Богу свом и постављасмо стражу према њима дан и ноћ од страха њиховог.
Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.
10 А Јудејци рекоше: Клонула је снага носиоцима, а праха има много, не можемо зидати зида.
Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”
11 А наши непријатељи рекоше: Да не дознаду и не опазе докле не дођемо усред њих, па ћемо их побити и прекинути посао.
N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”
12 Али дођоше Јудејци који код њих живљаху и казаше нам десет пута: Чувајте сва места куда се иде к нама.
Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”
13 Тада наместих народ у низинама иза зида и на стрменима, поставих народ по породицама са мачевима и копљима и луковима.
Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale.
14 И разгледавши устах и рекох старешинама и главарима и осталом народу: Не бојте их се. Помените Господа великог и страшног, и бијте се за браћу своју, за синове своје и кћери своје, за жене своје и куће своје.
Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”
15 А кад чуше непријатељи наши да смо дознали, разби Господ њихову намеру, и ми се вратисмо сви к зиду, сваки на свој посао.
Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16 И од тада половина мојих момака пословаше, а друга половина држаше копља и штитове и лукове и оклопе, и кнезови стајаху иза свега дома Јудиног.
Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe.
17 И који зидаху и који ношаху терет и који товараху сваки једном руком рађаше, а у другој држаше копље.
Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa,
18 А који зидаху, сваки имаху мач приписан уз бедрицу и тако зидаху. А трубач стајаше код мене.
na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ng’akola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.
19 Јер рекох старешинама и главарима и осталом народу: Посао је велик и дуг и ми смо се расули по зиду далеко један од другог.
Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne.
20 Где чујете трубу да труби, онамо трчите к нама; Бог наш војеваће за нас.
Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly’ekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”
21 Тако рађасмо посао, и половина их држаше копља од зора па докле звезде не изиђу.
Ne tweyongerayo n’omulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga.
22 У то време још рекох народу: Сваки са момком својим нека ноћује у Јерусалиму да би нам ноћу стражили, а дању радили.
Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.”
23 А ја и моја браћа и момци моји и стражари што иду за мном нећемо свлачити са себе хаљина; у сваког да је мач и вода.
Tewaali n’omu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.