< ལཱུཀཿ 19 >
1 ཡདཱ ཡཱིཤུ ཪྻིརཱིཧོཔུརཾ པྲཝིཤྱ ཏནྨདྷྱེན གཙྪཾསྟདཱ
Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu.
2 སཀྐེཡནཱམཱ ཀརསཉྩཱཡིནཱཾ པྲདྷཱནོ དྷནཝཱནེཀོ
Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo.
3 ཡཱིཤུཿ ཀཱིདྲྀགིཏི དྲཥྚུཾ ཙེཥྚིཏཝཱན྄ ཀིནྟུ ཁཪྻྭཏྭཱལློཀསཾགྷམདྷྱེ ཏདྡརྴནམཔྲཱཔྱ
N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi.
4 ཡེན པཐཱ ས ཡཱསྱཏི ཏཏྤཐེ྅གྲེ དྷཱཝིཏྭཱ ཏཾ དྲཥྚུམ྄ ཨུཌུམྦརཏརུམཱརུརོཧ།
Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.
5 པཤྩཱད྄ ཡཱིཤུསྟཏྶྠཱནམ྄ ཨིཏྭཱ ཨཱུརྡྡྷྭཾ ཝིལོཀྱ ཏཾ དྲྀཥྚྭཱཝཱདཱིཏ྄, ཧེ སཀྐེཡ ཏྭཾ ཤཱིགྷྲམཝརོཧ མཡཱདྱ ཏྭདྒེཧེ ཝསྟཝྱཾ།
Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.”
6 ཏཏཿ ས ཤཱིགྷྲམཝརུཧྱ སཱཧླཱདཾ ཏཾ ཛགྲཱཧ།
Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.
7 ཏད྄ དྲྀཥྚྭཱ སཪྻྭེ ཝིཝདམཱནཱ ཝཀྟུམཱརེབྷིརེ, སོཏིཐིཏྭེན དུཥྚལོཀགྲྀཧཾ གཙྪཏི།
Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”
8 ཀིནྟུ སཀྐེཡོ དཎྜཱཡམཱནོ ཝཀྟུམཱརེབྷེ, ཧེ པྲབྷོ པཤྱ མམ ཡཱ སམྤཏྟིརསྟི ཏདརྡྡྷཾ དརིདྲེབྷྱོ དདེ, ཨཔརམ྄ ཨནྱཱཡཾ ཀྲྀཏྭཱ ཀསྨཱདཔི ཡདི ཀདཱཔི ཀིཉྩིཏ྄ མཡཱ གྲྀཧཱིཏཾ ཏརྷི ཏཙྩཏུརྒུཎཾ དདཱམི།
Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
9 ཏདཱ ཡཱིཤུསྟམུཀྟཝཱན྄ ཨཡམཔི ཨིབྲཱཧཱིམཿ སནྟཱནོ྅ཏཿ ཀཱརཎཱད྄ ཨདྱཱསྱ གྲྀཧེ ཏྲཱཎམུཔསྠིཏཾ།
Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.
10 ཡད྄ ཧཱརིཏཾ ཏཏ྄ མྲྀགཡིཏུཾ རཀྵིཏུཉྩ མནུཥྱཔུཏྲ ཨཱགཏཝཱན྄།
Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
11 ཨཐ ས ཡིརཱུཤཱལམཿ སམཱིཔ ཨུཔཱཏིཥྛད྄ ཨཱིཤྭརརཱཛཏྭསྱཱནུཥྛཱནཾ ཏདཻཝ བྷཝིཥྱཏཱིཏི ལོཀཻརནྭབྷཱུཡཏ, ཏསྨཱཏ྄ ས ཤྲོཏྲྀབྷྱཿ པུནརྡྲྀཥྚཱནྟཀཐཱམ྄ ཨུཏྠཱཔྱ ཀཐཡཱམཱས།
Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo.
12 ཀོཔི མཧཱལློཀོ ནིཛཱརྠཾ རཱཛཏྭཔདཾ གྲྀཧཱིཏྭཱ པུནརཱགནྟུཾ དཱུརདེཤཾ ཛགཱམ།
N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo.
13 ཡཱཏྲཱཀཱལེ ནིཛཱན྄ དཤདཱསཱན྄ ཨཱཧཱུཡ དཤསྭརྞམུདྲཱ དཏྟྭཱ མམཱགམནཔཪྻྱནྟཾ ཝཱཎིཛྱཾ ཀུརུཏེཏྱཱདིདེཤ།
Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera minakkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’
14 ཀིནྟུ ཏསྱ པྲཛཱསྟམཝཛྙཱཡ མནུཥྱམེནམ྄ ཨསྨཱཀམུཔརི རཱཛཏྭཾ ན ཀཱརཡིཝྱཱམ ཨིམཱཾ ཝཱརྟྟཱཾ ཏནྣིཀཊེ པྲེརཡཱམཱསུཿ།
“Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’
15 ཨཐ ས རཱཛཏྭཔདཾ པྲཱཔྱཱགཏཝཱན྄ ཨེཀཻཀོ ཛནོ བཱཎིཛྱེན ཀིཾ ལབྡྷཝཱན྄ ཨིཏི ཛྙཱཏུཾ ཡེཥུ དཱསེཥུ མུདྲཱ ཨརྤཡཏ྄ ཏཱན྄ ཨཱཧཱུཡཱནེཏུམ྄ ཨཱདིདེཤ།
“Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.
16 ཏདཱ པྲཐམ ཨཱགཏྱ ཀཐིཏཝཱན྄, ཧེ པྲབྷོ ཏཝ ཏཡཻཀཡཱ མུདྲཡཱ དཤམུདྲཱ ལབྡྷཱཿ།
“Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’
17 ཏཏཿ ས ཨུཝཱཙ ཏྭམུཏྟམོ དཱསཿ སྭལྤེན ཝིཤྭཱསྱོ ཛཱཏ ཨིཏཿ ཀཱརཎཱཏ྄ ཏྭཾ དཤནགརཱཎཱམ྄ ཨདྷིཔོ བྷཝ།
“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’
18 དྭིཏཱིཡ ཨཱགཏྱ ཀཐིཏཝཱན྄, ཧེ པྲབྷོ ཏཝཻཀཡཱ མུདྲཡཱ པཉྩམུདྲཱ ལབྡྷཱཿ།
“Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’
19 ཏཏཿ ས ཨུཝཱཙ, ཏྭཾ པཉྩཱནཱཾ ནགརཱཎཱམདྷིཔཏི རྦྷཝ།
“Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’
20 ཏཏོནྱ ཨཱགཏྱ ཀཐཡཱམཱས, ཧེ པྲབྷོ པཤྱ ཏཝ ཡཱ མུདྲཱ ཨཧཾ ཝསྟྲེ བདྡྷྭཱསྠཱཔཡཾ སེཡཾ།
“Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi.
21 ཏྭཾ ཀྲྀཔཎོ ཡནྣཱསྠཱཔཡསྟདཔི གྲྀཧླཱསི, ཡནྣཱཝཔསྟདེཝ ཙ ཚིནཏྶི ཏཏོཧཾ ཏྭཏྟོ བྷཱིཏཿ།
Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’
22 ཏདཱ ས ཛགཱད, རེ དུཥྚདཱས ཏཝ ཝཱཀྱེན ཏྭཱཾ དོཥིཎཾ ཀརིཥྱཱམི, ཡདཧཾ ནཱསྠཱཔཡཾ ཏདེཝ གྲྀཧླཱམི, ཡདཧཾ ནཱཝཔཉྩ ཏདེཝ ཚིནདྨི, ཨེཏཱདྲྀཤཿ ཀྲྀཔཎོཧམིཏི ཡདི ཏྭཾ ཛཱནཱསི,
“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga,
23 ཏརྷི མམ མུདྲཱ བཎིཛཱཾ ནིཀཊེ ཀུཏོ ནཱསྠཱཔཡཿ? ཏཡཱ ཀྲྀཏེ྅ཧམ྄ ཨཱགཏྱ ཀུསཱིདེན སཱརྡྡྷཾ ནིཛམུདྲཱ ཨཔྲཱཔྶྱམ྄།
kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’
24 པཤྩཱཏ྄ ས སམཱིཔསྠཱན྄ ཛནཱན྄ ཨཱཛྙཱཔཡཏ྄ ཨསྨཱཏ྄ མུདྲཱ ཨཱནཱིཡ ཡསྱ དཤམུདྲཱཿ སནྟི ཏསྨཻ དཏྟ།
“N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’
25 ཏེ པྲོཙུཿ པྲབྷོ྅སྱ དཤམུདྲཱཿ སནྟི།
“Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’
26 ཡུཥྨཱནཧཾ ཝདཱམི ཡསྱཱཤྲཡེ ཝདྡྷཏེ ྅དྷིཀཾ ཏསྨཻ དཱཡིཥྱཏེ, ཀིནྟུ ཡསྱཱཤྲཡེ ན ཝརྡྡྷཏེ ཏསྱ ཡདྱདསྟི ཏདཔི ཏསྨཱན྄ ནཱཡིཥྱཏེ།
“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako.
27 ཀིནྟུ མམཱདྷིཔཏིཏྭསྱ ཝཤཏྭེ སྠཱཏུམ྄ ཨསམྨནྱམཱནཱ ཡེ མམ རིཔཝསྟཱནཱནཱིཡ མམ སམཀྵཾ སཾཧརཏ།
Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’”
28 ཨིཏྱུཔདེཤཀཐཱཾ ཀཐཡིཏྭཱ སོགྲགཿ སན྄ ཡིརཱུཤཱལམཔུརཾ ཡཡཽ།
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi.
29 ཏཏོ བཻཏྥགཱིབཻཐནཱིཡཱགྲཱམཡོཿ སམཱིཔེ ཛཻཏུནཱདྲེརནྟིཀམ྄ ཨིཏྭཱ ཤིཥྱདྭཡམ྄ ཨིཏྱུཀྟྭཱ པྲེཥཡཱམཱས,
Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti,
30 ཡུཝཱམམུཾ སམྨུཁསྠགྲཱམཾ པྲཝིཤྱཻཝ ཡཾ ཀོཔི མཱནུཥཿ ཀདཱཔི ནཱརོཧཏ྄ ཏཾ གརྡྡབྷཤཱཝཀཾ བདྡྷཾ དྲཀྵྱཐསྟཾ མོཙཡིཏྭཱནཡཏཾ།
“Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano.
31 ཏཏྲ ཀུཏོ མོཙཡཐཿ? ཨིཏི ཙེཏ྄ ཀོཔི ཝཀྵྱཏི ཏརྷི ཝཀྵྱཐཿ པྲབྷེརཏྲ པྲཡོཛནམ྄ ཨཱསྟེ།
Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’”
32 ཏདཱ ཏཽ པྲརིཏཽ གཏྭཱ ཏཏྐཐཱནུསཱརེཎ སཪྻྭཾ པྲཱཔྟཽ།
Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba.
33 གརྡབྷཤཱཝཀམོཙནཀཱལེ ཏཏྭཱམིན ཨཱུཙུཿ, གརྡབྷཤཱཝཀཾ ཀུཏོ མོཙཡཐཿ?
Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”
34 ཏཱཝཱུཙཏུཿ པྲབྷོརཏྲ པྲཡོཛནམ྄ ཨཱསྟེ།
Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”
35 པཤྩཱཏ྄ ཏཽ ཏཾ གརྡབྷཤཱཝཀཾ ཡཱིཤོརནྟིཀམཱནཱིཡ ཏཏྤྲྀཥྛེ ནིཛཝསནཱནི པཱཏཡིཏྭཱ ཏདུཔརི ཡཱིཤུམཱརོཧཡཱམཱསཏུཿ།
Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala.
36 ཨཐ ཡཱཏྲཱཀཱལེ ལོཀཱཿ པཐི སྭཝསྟྲཱཎི པཱཏཡིཏུམ྄ ཨཱརེབྷིརེ།
Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.
37 ཨཔརཾ ཛཻཏུནཱདྲེརུཔཏྱཀཱམ྄ ཨིཏྭཱ ཤིཥྱསཾགྷཿ པཱུཪྻྭདྲྀཥྚཱནི མཧཱཀརྨྨཱཎི སྨྲྀཏྭཱ,
Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
38 ཡོ རཱཛཱ པྲབྷོ རྣཱམྣཱཡཱཏི ས དྷནྱཿ སྭརྒེ ཀུཤལཾ སཪྻྭོཙྩེ ཛཡདྷྭནི རྦྷཝཏུ, ཀཐཱམེཏཱཾ ཀཐཡིཏྭཱ སཱནནྡམ྄ ཨུཙཻརཱིཤྭརཾ དྷནྱཾ ཝཀྟུམཱརེབྷེ།
“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”
39 ཏདཱ ལོཀཱརཎྱམདྷྱསྠཱཿ ཀིཡནྟཿ ཕིརཱུཤིནསྟཏ྄ ཤྲུཏྭཱ ཡཱིཤུཾ པྲོཙུཿ, ཧེ ཨུཔདེཤཀ སྭཤིཥྱཱན྄ ཏརྫཡ།
Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”
40 ས ཨུཝཱཙ, ཡུཥྨཱནཧཾ ཝདཱམི ཡདྱམཱི ནཱིརཝཱསྟིཥྛནྟི ཏརྷི པཱཥཱཎཱ ཨུཙཻཿ ཀཐཱཿ ཀཐཡིཥྱནྟི།
Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”
41 པཤྩཱཏ྄ ཏཏྤུརཱནྟིཀམེཏྱ ཏདཝལོཀྱ སཱཤྲུཔཱཏཾ ཛགཱད,
Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira.
42 ཧཱ ཧཱ ཙེཏ྄ ཏྭམགྲེ྅ཛྙཱསྱཐཱཿ, ཏཝཱསྨིནྣེཝ དིནེ ཝཱ ཡདི སྭམངྒལམ྄ ཨུཔཱལཔྶྱཐཱཿ, ཏརྷྱུཏྟམམ྄ ཨབྷཝིཥྱཏ྄, ཀིནྟུ ཀྵཎེསྨིན྄ ཏཏྟཝ དྲྀཥྚེརགོཙརམ྄ བྷཝཏི།
N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba.
43 ཏྭཾ སྭཏྲཱཎཀཱལེ ན མནོ ནྱདྷཏྠཱ ཨིཏི ཧེཏོ ཪྻཏྐཱལེ ཏཝ རིཔཝསྟྭཱཾ ཙཏུརྡིཀྵུ པྲཱཙཱིརེཎ ཝེཥྚཡིཏྭཱ རོཏྶྱནྟི
Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda,
44 བཱལཀཻཿ སཱརྡྡྷཾ བྷཱུམིསཱཏ྄ ཀརིཥྱནྟི ཙ ཏྭནྨདྷྱེ པཱཥཱཎཻཀོཔི པཱཥཱཎོཔརི ན སྠཱསྱཏི ཙ, ཀཱལ ཨཱིདྲྀཤ ཨུཔསྠཱསྱཏི།
ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
45 ཨཐ མདྷྱེམནྡིརཾ པྲཝིཤྱ ཏཏྲཏྱཱན྄ ཀྲཡིཝིཀྲཡིཎོ བཧིཥྐུཪྻྭན྄
Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu.
46 ཨཝདཏ྄ མདྒྲྀཧཾ པྲཱརྠནཱགྲྀཧམིཏི ལིཔིརཱསྟེ ཀིནྟུ ཡཱུཡཾ ཏདེཝ ཙཻརཱཎཱཾ གཧྭརཾ ཀུརུཐ།
N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’”
47 པཤྩཱཏ྄ ས པྲཏྱཧཾ མདྷྱེམནྡིརམ྄ ཨུཔདིདེཤ; ཏཏཿ པྲདྷཱནཡཱཛཀཱ ཨདྷྱཱཔཀཱཿ པྲཱཙཱིནཱཤྩ ཏཾ ནཱཤཡིཏུཾ ཙིཙེཥྚིརེ;
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira.
48 ཀིནྟུ ཏདུཔདེཤེ སཪྻྭེ ལོཀཱ ནིཝིཥྚཙིཏྟཱཿ སྠིཏཱསྟསྨཱཏ྄ ཏེ ཏཏྐརྟྟུཾ ནཱཝཀཱཤཾ པྲཱཔུཿ།
Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.