< Левит 21 >
1 И сказал Господь Моисею: объяви священникам, сынам Аароновым, и скажи им: да не оскверняют себя прикосновением к умершему из народа своего;
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be,
2 только к ближнему родственнику своему, к матери своей и к отцу своему, к сыну своему и дочери своей, к брату своему
wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we,
3 и к сестре своей, девице, живущей при нем и не бывшей замужем, можно ему прикасаться, не оскверняя себя;
oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu.
4 и прикосновением к кому бы то ни было в народе своем не должен он осквернять себя, чтобы не сделаться нечистым.
Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be.
5 Они не должны брить головы своей и подстригать края бороды своей и делать нарезы на теле своем.
Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe.
6 Они должны быть святы Богу своему и не должны бесчестить имени Бога своего, ибо они приносят жертвы Господу, хлеб Богу своему, и потому должны быть святы.
Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu.
7 Они не должны брать за себя блудницу и опороченную, не должны брать и жену, отверженную мужем своим, ибо они святы Господу Богу своему.
Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.
8 Святи его, ибо он приносит хлеб Господу Богу твоему: да будет он у тебя свят, ибо свят Я Господь, освящающий вас.
Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu.
9 Если дочь священника осквернит себя блудодеянием, то она бесчестит отца своего; огнем должно сжечь ее.
Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.
10 Великий же священник из братьев своих, на голову которого возлит елей помазания, и который освящен, чтобы облачаться в священные одежды, не должен обнажать головы своей и раздирать одежд своих;
“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye.
11 и ни к какому умершему не должен он приступать: даже прикосновением к умершему отцу своему и матери своей он не должен осквернять себя.
Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina.
12 И от святилища он не должен отходить и бесчестить святилище Бога своего, ибо освящение елеем помазания Бога его на нем. Я Господь.
Era n’ekifo kya Katonda we ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda.
13 В жену он должен брать девицу из народа своего:
Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja.
14 вдову, или отверженную, или опороченную, или блудницу, не должен он брать, но девицу из народа своего должен он брать в жену;
Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be;
15 он не должен порочить семени своего в народе своем, ибо Я Господь Бог, освящающий его.
aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”
16 И сказал Господь Моисею, говоря:
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
17 скажи Аарону: никто из семени твоего во все роды их, у которого на теле будет недостаток, не должен приступать, чтобы приносить хлеб Богу своему;
“Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we.
18 никто, у кого на теле есть недостаток, не должен приступать, ни слепой, ни хромой, ни уродливый,
Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu;
19 ни такой, у которого переломлена нога или переломлена рука,
oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala,
20 ни горбатый, ни с сухим членом, ни с бельмом на глазу, ни коростовый, ни паршивый, ни с поврежденными ятрами;
oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi.
21 ни один человек из семени Аарона священника, у которого на теле есть недостаток, не должен приступать, чтобы приносить жертвы Господу; недостаток на нем, поэтому не должен он приступать, чтобы приносить хлеб Богу своему;
Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we.
22 хлеб Бога своего из великих святынь и из святынь он может есть;
Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we;
23 но к завесе не должен он приходить и к жертвеннику не должен приступать, потому что недостаток на нем: не должен он бесчестить святилища Моего, ибо Я Господь, освящающий их.
naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”
24 И объявил это Моисей Аарону и сынам его и всем сынам Израилевым.
Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.