< Иезекииль 38 >
1 И было ко мне слово Господне:
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 сын человеческий! обрати лице твое к Гогу в земле Магог, князю Роша, Мешеха и Фувала, и изреки на него пророчество
“Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali,
3 и скажи: так говорит Господь Бог: вот, Я - на тебя, Гог, князь Роша, Мешеха и Фувала!
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali.
4 И поверну тебя, и вложу удила в челюсти твои, и выведу тебя и все войско твое, коней и всадников, всех в полном вооружении, большое полчище, в бронях и со щитами, всех вооруженных мечами,
Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala.
5 Персов, Ефиоплян и Ливийцев с ними, всех со щитами и в шлемах,
Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira;
6 Гомера со всеми отрядами его, дом Фогарма, от пределов севера, со всеми отрядами его, многие народы с тобою.
era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
7 Готовься и снаряжайся, ты и все полчища твои, собравшиеся к тебе, и будь им вождем.
“‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire.
8 После многих дней ты понадобишься; в последние годы ты придешь в землю, избавленную от меча, собранную из многих народов, на горы Израилевы, которые были в постоянном запустении, но теперь жители ее будут возвращены из народов, и все они будут жить безопасно.
Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe.
9 И поднимешься, как буря, пойдешь, как туча, чтобы покрыть землю, ты и все полчища твои и многие народы с тобою.
Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.
10 Так говорит Господь Бог: в тот день придут тебе на сердце мысли, и ты задумаешь злое предприятие
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi.
11 и скажешь: “поднимусь я на землю неогражденную, пойду на беззаботных, живущих беспечно, - все они живут без стен, и нет у них ни запоров, ни дверей, -
Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi.
12 чтобы произвести грабеж и набрать добычи, наложить руку на вновь заселенные развалины и на народ, собранный из народов, занимающийся хозяйством и торговлею, живущий на вершине земли”.
Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.”
13 Сава и Дедан и купцы Фарсисские со всеми молодыми львами их скажут тебе: “ты пришел, чтобы произвести грабеж, собрал полчище твое, чтобы набрать добычи, взять серебро и золото, отнять скот и имущество, захватить большую добычу?”
Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?”’
14 Посему изреки пророчество, сын человеческий, и скажи Гогу: так говорит Господь Бог: не так ли? в тот день, когда народ Мой Израиль будет жить безопасно, ты узнаешь это;
“Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba?
15 и пойдешь с места твоего, от пределов севера, ты и многие народы с тобою, все сидящие на конях, сборище великое и войско многочисленное.
Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene.
16 И поднимешься на народ Мой, на Израиля, как туча, чтобы покрыть землю: это будет в последние дни, и Я приведу тебя на землю Мою, чтобы народы узнали Меня, когда Я над тобою, Гог, явлю святость Мою пред глазами их.
Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
17 Так говорит Господь Бог: не ты ли тот самый, о котором Я говорил в древние дни чрез рабов Моих, пророков Израилевых, которые пророчествовали в те времена, что Я приведу тебя на них?
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe?
18 И будет в тот день, когда Гог придет на землю Израилеву, говорит Господь Бог, гнев Мой воспылает в ярости Моей.
Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda.
19 И в ревности Моей, в огне негодования Моего Я сказал: истинно в тот день произойдет великое потрясение на земле Израилевой.
Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri;
20 И вострепещут от лица Моего рыбы морские и птицы небесные, и звери полевые и все пресмыкающееся, ползающее по земле, и все люди, которые на лице земли, и обрушатся горы, и упадут утесы, и все стены падут на землю.
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.
21 И по всем горам Моим призову меч против него, говорит Господь Бог; меч каждого человека будет против брата его.
Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we.
22 И буду судиться с ним моровою язвою и кровопролитием, и пролью на него и на полки его и на многие народы, которые с ним, всепотопляющий дождь и каменный град, огонь и серу;
Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.
23 и покажу Мое величие и святость Мою, и явлю Себя пред глазами многих народов, и узнают, что Я Господь.
Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’”