< Иезекииль 34 >

1 И было ко мне слово Господне:
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 сын человеческий! изреки пророчество на пастырей Израилевых, изреки пророчество и скажи им, пастырям: так говорит Господь Бог: горе пастырям Израилевым, которые пасли себя самих! не стадо ли должны пасти пастыри?
“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?
3 Вы ели тук и волною одевались, откормленных овец заколали, а стада не пасли.
Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo.
4 Слабых не укрепляли, и больной овцы не врачевали, и пораненной не перевязывали, и угнанной не возвращали, и потерянной не искали, а правили ими с насилием и жестокостью.
Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi.
5 И рассеялись они без пастыря и, рассеявшись, сделались пищею всякому зверю полевому.
Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko.
6 Блуждают овцы Мои по всем горам и по всякому высокому холму, и по всему лицу земли рассеялись овцы Мои, и никто не разведывает о них, и никто не ищет их.
Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
7 Посему, пастыри, выслушайте слово Господне.
“‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama:
8 Живу Я! говорит Господь Бог; за то, что овцы Мои оставлены были на расхищение и без пастыря сделались овцы Мои пищею всякого зверя полевого, и пастыри Мои не искали овец Моих, и пасли пастыри самих себя, а овец Моих не пасли, -
Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange,
9 за то, пастыри, выслушайте слово Господне.
kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama.
10 Так говорит Господь Бог: вот, Я - на пастырей, и взыщу овец Моих от руки их, и не дам им более пасти овец, и не будут более пастыри пасти самих себя, и исторгну овец Моих из челюстей их, и не будут они пищею их.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.
11 Ибо так говорит Господь Бог: вот, Я Сам отыщу овец Моих и осмотрю их.
“‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira.
12 Как пастух поверяет стадо свое в тот день, когда находится среди стада своего рассеянного, так Я пересмотрю овец Моих и высвобожу их из всех мест, в которые они были рассеяны в день облачный и мрачный.
Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza.
13 И выведу их из народов, и соберу их из стран, и приведу их в землю их, и буду пасти их на горах Израилевых, при потоках и на всех обитаемых местах земли сей.
Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi.
14 Буду пасти их на хорошей пажити, и загон их будет на высоких горах Израилевых; там они будут отдыхать в хорошем загоне и будут пастись на тучной пажити, на горах Израилевых.
Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri.
15 Я буду пасти овец Моих и Я буду покоить их, говорит Господь Бог.
Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.
16 Потерявшуюся отыщу и угнанную возвращу, и пораненную перевяжу, и больную укреплю, а разжиревшую и буйную истреблю; буду пасти их по правде.
Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.
17 Вас же, овцы Мои, - так говорит Господь Бог, - вот, Я буду судить между овцою и овцою, между бараном и козлом.
“‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi.
18 Разве мало вам того, что пасетесь на хорошей пажити, а между тем остальное на пажити вашей топчете ногами вашими, пьете чистую воду, а оставшуюся мутите ногами вашими,
Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe!
19 так что овцы Мои должны питаться тем, что потоптано ногами вашими, и пить то, что возмущено ногами вашими?
Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe?
20 Посему так говорит им Господь Бог: вот, Я Сам буду судить между овцою тучною и овцою тощею.
“‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu.
21 Так как вы толкаете боком и плечом, и рогами своими бодаете всех слабых, доколе не вытолкаете их вон, -
Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru,
22 то Я спасу овец Моих, и они не будут уже расхищаемы, и рассужу между овцою и овцою.
ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga.
23 И поставлю над ними одного пастыря, который будет пасти их, раба Моего Давида; он будет пасти их и он будет у них пастырем.
Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.
24 И Я, Господь, буду их Богом, и раб Мой Давид будет князем среди них. Я, Господь, сказал это.
Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.
25 И заключу с ними завет мира и удалю с земли лютых зверей, так что безопасно будут жить в степи и спать в лесах.
“‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa.
26 Дарую им и окрестностям холма Моего благословение, и дождь буду ниспосылать в свое время; это будут дожди благословения.
Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa.
27 И полевое дерево будет давать плод свой, и земля будет давать произведения свои; и будут они безопасны на земле своей, и узнают, что Я Господь, когда сокрушу связи ярма их и освобожу их из руки поработителей их.
Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu.
28 Они не будут уже добычею для народов, и полевые звери не будут пожирать их; они будут жить безопасно, и никто не будет устрашать их.
Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa.
29 И произведу у них насаждение славное, и не будут уже погибать от голода на земле и терпеть посрамления от народов.
Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga.
30 И узнают, что Я, Господь Бог их, с ними, и они, дом Израилев, Мой народ, говорит Господь Бог,
Era zirimanya nga nze Mukama Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera Mukama Katonda.
31 и что вы - овцы Мои, овцы паствы Моей; вы человеки, а Я Бог ваш, говорит Господь Бог.
Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’”

< Иезекииль 34 >