< Второзаконие 10 >

1 В то время сказал мне Господь: вытеши себе две скрижали каменные, подобные первым, и взойди ко Мне на гору, и сделай себе деревянный ковчег;
Mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi.
2 и Я напишу на скрижалях те слова, которые были на прежних скрижалях, которые ты разбил; и положи их в ковчег.
Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”
3 И сделал я ковчег из дерева ситтим, и вытесал две каменные скрижали, как прежние, и пошел на гору; и две сии скрижали были в руках моих.
Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange.
4 И написал Он на скрижалях, как написано было прежде, те десять слов, которые изрек вам Господь на горе из среды огня в день собрания, и отдал их Господь мне.
Mukama Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda n’abinkwasa.
5 И обратился я, и сошел с горы, и положил скрижали в ковчег, который я сделал, чтоб они там были, как повелел мне Господь.
Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.
6 И сыны Израилевы отправились из Беероф-Бене-Яакана в Мозер; там умер Аарон и погребен там, и стал священником вместо него сын его Елеазар.
Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona.
7 Оттуда отправились в Гудгод, из Гудгода в Иотвафу, в землю, где потоки вод.
Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi.
8 В то время отделил Господь колено Левиино, чтобы носить ковчег завета Господня, предстоять пред Господом, служить Ему и молиться и благословлять именем Его, как это продолжается до сего дня;
Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero.
9 потому нет левиту части и удела с братьями его: Сам Господь есть удел его, как говорил ему Господь, Бог твой.
Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.
10 И пробыл я на горе, как и в прежнее время, сорок дней и сорок ночей; и послушал меня Господь и на сей раз, и не восхотел Господь погубить тебя;
Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza.
11 и сказал мне Господь: встань, пойди в путь пред народом сим; пусть они пойдут и овладеют землею, которую Я клялся отцам их дать им.
Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”
12 Итак, Израиль, чего требует от тебя Господь, Бог твой? Того только, чтобы ты боялся Господа, Бога твоего, ходил всеми путями Его, и любил Его, и служил Господу, Богу твоему, от всего сердца твоего и от всей души твоей,
Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,
13 чтобы соблюдал заповеди Господа Бога твоего и постановления Его, которые сегодня заповедую тебе, дабы тебе было хорошо.
n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?
14 Вот у Господа, Бога твоего, небо и небеса небес, земля и все, что на ней;
Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu.
15 но только отцов твоих принял Господь и возлюбил их, и избрал вас, семя их после них, из всех народов, как ныне видишь.
Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero.
16 Итак обрежьте крайнюю плоть сердца вашего и не будьте впредь жестоковыйны;
Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali.
17 ибо Господь, Бог ваш, есть Бог богов и Владыка владык, Бог великий, сильный и страшный, Который не смотрит на лица и не берет даров,
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
18 Который дает суд сироте и вдове, и любит пришельца, и дает ему хлеб и одежду.
Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala.
19 Любите и вы пришельца, ибо сами были пришельцами в земле Египетской.
Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri.
20 Господа, Бога твоего, бойся и Ему одному служи, и к Нему прилепись и Его именем клянись:
Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga.
21 Он хвала твоя и Он Бог твой, Который сделал с тобою те великие и страшные дела, какие видели глаза твои;
Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go.
22 в семидесяти пяти душах пришли отцы твои в Египет, а ныне Господь, Бог твой, сделал тебя многочисленным, как звезды небесные.
Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.

< Второзаконие 10 >