< 2-я Паралипоменон 23 >
1 Но в седьмой год ободрился Иодай и принял в союз с собою начальников сотен: Азарию, сына Иерохамова, и Исмаила, сына Иегохананова, и Азарию, сына Оведова, и Маасею, сына Адаии, и Елишафата, сына Зихри.
Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
2 И они прошли по Иудее и собрали левитов из всех городов Иудеи и глав поколений Израилевых, и пришли в Иерусалим.
Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi.
3 И заключило все собрание союз в доме Божием с царем. И сказал им Иодай: вот сын царя должен быть царем, как изрек Господь о сыновьях Давидовых.
Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda. Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
4 Вот что вы сделайте: треть вас, приходящих в субботу, из священников и левитов, будет привратниками у порогов,
Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki,
5 и треть при доме царском, и треть у ворот Иесод, а весь народ на дворах дома Господня.
ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama.
6 И никто пусть не входит в дом Господень, кроме священников и служащих из левитов. Они могут войти, потому что освящены; весь же народ пусть стоит на страже Господней.
Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira.
7 И пусть левиты окружат царя со всех сторон, всякий с оружием своим в руке своей, и кто будет входить в храм, да будет умерщвлен. И будьте вы при царе, когда он будет входить и выходить.
Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”
8 И сделали левиты и все Иудеи, что приказал Иодай священник; и взяли каждый людей своих, приходящих в субботу с отходящими в субботу, потому что не отпустил священник Иодай сменившихся черед.
Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo.
9 И раздал Иодай священник начальникам сотен копья и малые и большие щиты царя Давида, которые были в доме Божием;
N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda.
10 и поставил весь народ, каждого с оружием его в руке его, от правой стороны храма до левой стороны храма, у жертвенника и у дома, вокруг царя.
Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.
11 И вывели сына царя, и возложили на него венец и украшения, и поставили его царем; и помазали его Иодай и сыновья его и сказали: да живет царь!
Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
12 И услышала Гофолия голос народа, бегущего и провозглашающего о царе, и вышла к народу в дом Господень,
Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama.
13 и увидела: и вот царь стоит на возвышении своем при входе, и князья и трубы подле царя, и весь народ земли веселится, и трубят трубами, и певцы с орудиями музыкальными и искусные в славословии. И разодрала Гофолия одежды свои и закричала: заговор! заговор!
N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
14 И вызвал Иодай священник начальников сотен, начальствующих над войском, и сказал им: выведите ее вон из храма, и кто последует за нею, да будет умерщвлен мечом. Потому что священник сказал: не умертвите ее в доме Господнем.
Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”
15 И дали ей место, и когда она пришла ко входу конских ворот царского дома, там умертвили ее.
Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.
16 И заключил Иодай завет между собою и между всем народом и царем, чтобы быть им народом Господним.
Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama.
17 И пошел весь народ в капище Ваала, и разрушили его, и жертвенники его и истуканов его сокрушили; и Матфана, жреца Ваалова, умертвили пред жертвенниками.
Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.
18 И поручил Иодай дела дома Господня священникам и левитам, и восстановил дневные череды священников и левитов, как распределил Давид в доме Господнем, для возношения всесожжений Господу, как написано в законе Моисеевом, с радостью и пением, по уставу Давидову.
Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
19 И поставил он привратников у ворот дома Господня, чтобы не мог входить нечистый почему-нибудь.
N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.
20 И взял начальников сотен, и вельмож, и начальствующих в народе, и весь народ земли, и проводил царя из дома Господня, и прошли чрез верхние ворота в дом царский, и посадили царя на царский престол.
N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka.
21 И веселился весь народ земли, и город успокоился. А Гофолию умертвили мечом.
Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.