< Esdras 10 >
1 Agora enquanto Esdras rezava e se confessava, chorando e se jogando diante da casa de Deus, estava reunido a ele fora de Israel uma grande assembléia de homens, mulheres e crianças; pois o povo chorava muito amargamente.
Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini.
2 Shecaniah, filho de Jeiel, um dos filhos de Elam, respondeu a Esdras: “Nós invadimos nosso Deus e casamos com mulheres estrangeiras dos povos da terra. No entanto, agora há esperança para Israel a respeito disso.
Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri.
3 Agora, portanto, façamos um pacto com nosso Deus para prender todas as esposas e os nascidos delas, segundo o conselho de meu senhor e daqueles que tremem ao mandamento de nosso Deus”. Que isso seja feito de acordo com a lei.
Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira.
4 Levante-se, pois o assunto lhe pertence e nós estamos com você. Sede corajosos, e fazei-o”.
Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”
5 Então Esdras se levantou e fez com que os chefes dos sacerdotes, os levitas e todo Israel jurassem que fariam de acordo com esta palavra. Então eles juraram.
Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira.
6 Então Esdras se levantou de diante da casa de Deus, e entrou no quarto de Jehohananan, filho de Eliasibe. Quando lá chegou, não comeu pão nem bebeu água, pois chorou por causa da transgressão dos exilados.
Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa.
7 Eles fizeram uma proclamação em todo Judá e Jerusalém a todos os filhos do cativeiro, para que se reunissem em Jerusalém;
Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi.
8 e que quem não viesse dentro de três dias, segundo o conselho dos príncipes e dos anciãos, todos os seus bens deveriam ser confiscados, e ele mesmo se separou da assembléia do cativeiro.
Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.
9 Então todos os homens de Judá e Benjamim se reuniram em Jerusalém nos três dias seguintes. Era o nono mês, no vigésimo dia do mês; e todo o povo se sentou no amplo lugar em frente à casa de Deus, tremendo por causa deste assunto, e por causa da grande chuva.
Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya.
10 Ezra, o padre, levantou-se e disse-lhes: “Vocês invadiram e casaram com mulheres estrangeiras, aumentando a culpa de Israel.
Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri.
11 Agora, portanto, façam confissão a Javé, o Deus de seus pais, e façam o seu prazer. Separai-vos dos povos da terra e das mulheres estrangeiras”.
Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.”
12 Então toda a assembléia respondeu com voz alta: “Devemos fazer o que você disse a nosso respeito”.
Awo ekibiina kyonna ne kiddamu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bw’ogambye.
13 Mas as pessoas são muitas, e é uma época de muita chuva, e nós não podemos ficar do lado de fora. Isto não é um trabalho de um ou dois dias, pois já transgredimos muito neste assunto.
Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo.
14 Agora que nossos príncipes sejam nomeados para toda a assembléia, e que todos aqueles que estão em nossas cidades que se casaram com mulheres estrangeiras venham em horários determinados, e com eles os anciãos de cada cidade e seus juízes, até que a ira feroz de nosso Deus seja desviada de nós, até que este assunto seja resolvido”.
Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.”
15 Somente Jonathan, filho de Asahel, e Jahzeiah, filho de Tikvah, se levantaram contra isso; e Meshullam e Shabbethai, o levita, os ajudaram.
Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.
16 As crianças do cativeiro o fizeram. Ezra, o padre, com alguns chefes de família de seus pais, depois das casas de seus pais, e todos eles pelo nome, foram separados; e eles se sentaram no primeiro dia do décimo mês para examinar o assunto.
Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo;
17 Eles terminaram com todos os homens que tinham casado com mulheres estrangeiras no primeiro dia do primeiro mês.
ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza ensonga eyo ey’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga.
18 Entre os filhos dos sacerdotes foram encontrados que haviam se casado com mulheres estrangeiras: dos filhos de Jeshua, o filho de Jozadak, e de seus irmãos: Maaseiah, Eliezer, Jarib, e Gedaliah.
Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali: Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be.
19 Eles deram a mão para que prendessem suas esposas; e sendo culpados, ofereceram um carneiro do rebanho por sua culpa.
Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume.
20 Dos filhos de Immer: Hanani e Zebadiah.
Ku bazzukulu ba Immeri: Kanani ne Zebadiya.
21 Dos filhos de Harim: Maaseiah, Elias, Shemaiah, Jehiel, e Uzziah.
Ku bazzukulu ba Kalimu: Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri ne Uzziya.
22 Dos filhos de Pashhur: Elioenai, Maaseiah, Ishmael, Nethanel, Jozabad e Elasah.
Ku bazzukulu ba Pasukuli: Eriwenayi, ne Maaseya, ne Isimayiri, ne Nesaneri, ne Yozabadi ne Erasa.
23 Dos Levites: Jozabad, Shimei, Kelaiah (também chamado Kelita), Pethahiah, Judah, e Eliezer.
Ku Baleevi: Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (era ye Kerita), ne Pesakiya, ne Yuda ne Eryeza.
24 Dos cantores: Eliashib. Dos porteiros: Shallum, Telem, e Uri.
Ku bayimbi: Eriyasibu, ne ku baakuumanga wankaaki: Sallumu, ne Teremu ne Uli.
25 De Israel: Dos filhos de Parosh: Ramias, Izziah, Malchijah, Mijamin, Eleazar, Malchijah, e Benaiah.
Mu Bayisirayiri abalala: Ku bazzukulu ba Palosi: Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya, ne Miyamini, ne Eriyazaali, ne Malukiya ne Benaya.
26 Dos filhos de Elam: Mattaniah, Zechariah, Jehiel, Abdi, Jeremoth, e Elijah.
Ku bazzukulu ba Eramu: Mattaniya, ne Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi ne Eriya.
27 Dos filhos de Zattu: Elioenai, Eliashib, Mattaniah, Jeremoth, Zabad, e Aziza.
Ku bazzukulu ba Zattu: Eriwenayi, ne Eriyasibu, ne Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza.
28 Dos filhos de Bebai: Jehohananan, Hananiah, Zabbai, e Athlai.
Ku bazzukulu ba Bebayi: Yekokanani, ne Kananiya, ne Zabbayi ne Asulaayi.
29 Dos filhos de Bani: Meshullam, Malluch, Adaiah, Jashub, Sheal, e Jeremoth.
Ku bazzukulu ba Bani: Mesullamu, ne Malluki, ne Adaya, ne Yasubu, ne Seyaali ne Yeremoosi.
30 Dos filhos de Pahathmoab: Adna, Chelal, Benaiah, Maaseiah, Mattaniah, Bezalel, Binnui, e Manasseh.
Ku bazzukulu ba Pakasumowaabu: Aduna, ne Kerali, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattaniya, ne Bezaleeri, ne Binnuyi ne Manase.
31 Dos filhos de Harim: Eliezer, Isshijah, Malchijah, Shemaiah, Shimeon,
Ku bazzukulu ba Kalimu: Eryeza, ne Isusiya, ne Malukiya, ne Semaaya, ne Simyoni,
32 Benjamin, Malluch, e Shemariah.
ne Benyamini, ne Malluki, ne Semaliya.
33 Dos filhos de Hashum: Mattenai, Mattattah, Zabad, Eliphelet, Jeremai, Manasseh, e Shimei.
Ku bazzukulu ba Kasumu: Mattenayi, ne Mattata, ne Zabadi, ne Erifereti, ne Yeremayi, ne Manase, ne Simeeyi.
34 Dos filhos de Bani: Maadai, Amram, Uel,
Ku bazzukulu ba Baani: Maadayi, ne Amulaamu, ne Uweri,
35 Benaiah, Bedeiah, Cheluhi,
ne Benaya, ne Bedeya, ne Keruki,
36 Vaniah, Meremoth, Eliashib,
ne Vaniya, ne Meremoosi, ne Eriyasibu,
37 Mattaniah, Mattenai, Jaasu,
ne Mattaniya, ne Mattenayi, ne Yaasu,
ne Bani, ne Binnuyi, ne Simeeyi,
39 Shelemiah, Nathan, Adaiah,
ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya,
40 Machnadebai, Shashai, Sharai,
ne Makunadebayi, ne Sasayi, ne Salaayi,
41 Azarel, Shelemiah, Shemariah,
ne Azaleri, ne Seremiya, ne Semaliya,
42 Shallum, Amariah, e Joseph.
ne Sallumu, ne Amaliya ne Yusufu.
43 Dos filhos de Nebo: Jeiel, Mattithiah, Zabad, Zebina, Iddo, Joel, e Benaiah.
Ku bazzukulu ba Nebo: Yeyeri, ne Mattisiya, ne Zabadi, ne Zebina, ne Iddo, ne Yoweeri ne Benaya.
44 Todas estas tinham levado esposas estrangeiras. Algumas delas tiveram esposas por quem tiveram filhos.
Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, n’abamu ku bo nga babazaddemu abaana.