< 2 Samuel 8 >
1 Depois disso, David bateu nos filisteus e os subjugou; e David tirou o freio da cidade mãe da mão dos filisteus.
Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.
2 Ele derrotou Moab e os mediu com a linha, fazendo-os deitar no chão; e mediu duas linhas até a morte, e uma linha completa para se manterem vivos. Os moabitas se tornaram servos de David, e trouxeram tributo.
Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu.
3 David também atingiu Hadadezer, filho de Rehob, rei de Zobah, quando ele foi recuperar seu domínio no rio.
Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati.
4 David tirou dele mil setecentos cavaleiros e vinte mil homens de pé. Davi empurrou os cavalos das carruagens, mas reservou o suficiente deles para cem carruagens.
Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.
5 Quando os sírios de Damasco vieram para ajudar Hadadezer, rei de Zobah, David atingiu vinte e dois mil homens dos sírios.
Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo.
6 Então Davi colocou guarnições na Síria de Damasco; e os sírios se tornaram servos de Davi, e trouxeram tributo. Yahweh deu vitória a Davi onde quer que ele fosse.
Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
7 David pegou os escudos de ouro que estavam sobre os servos de Hadadezer, e os trouxe para Jerusalém.
Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi.
8 De Betah e de Berothai, cidades de Hadadezer, o rei Davi tomou uma grande quantidade de bronze.
Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.
9 Quando Toi, rei de Hamath, soube que David havia atingido todo o exército de Hadadezer,
Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri,
10 então Toi enviou seu filho Jorão ao rei David para saudá-lo e abençoá-lo, pois ele havia lutado contra Hadadezer e batido nele; pois Hadadezer tinha guerras com Toi. Jorão trouxe com ele vasos de prata, vasos de ouro e vasos de bronze.
n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.
11 O rei David também os dedicou a Iavé, com a prata e o ouro que ele dedicou a todas as nações que ele subjugou -
Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula.
12 da Síria, dos Moab, dos filhos de Amon, dos filisteus, de Amalek, e do saque de Hadadezer, filho de Rehob, rei de Zobah.
Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.
13 David ganhou uma reputação quando retornou do ataque a dezoito mil homens dos sírios no Vale do Sal.
Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.
14 Ele colocou guarnições em Edom. Em todos os Edom, ele colocou guarnições, e todos os Edomitas se tornaram servos de Davi. Yahweh deu vitória a David para onde quer que ele fosse.
N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
15 David reinou sobre todo Israel; e David executou justiça e retidão para todo o seu povo.
Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.
16 Joabe, filho de Zeruia, estava sobre o exército, Jeosafá, filho de Ailude, era registrador,
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza,
17 Zadoque, filho de Aitube, e Aimeleque, filho de Abiatar, eram sacerdotes, Seraías, escriba,
Zadooki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,
18 Benaías, filho de Jeoiada, estava sobre os queretitas e os peletitas; e os filhos de Davi eram ministros chefes.
Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.