< 2 Reis 14 >
1 No segundo ano de Jehoás, filho de Joachaz, rei de Israel, começou a reinar Amasias, filho de Joás, rei de Judá.
Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka.
2 Tinha vinte e cinco anos quando começou a reinar, e vinte e nove anos reinou em Jerusalém. E era o nome de sua mãe Joaddan, de Jerusalém.
Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi.
3 E fez o que era reto aos olhos do Senhor, ainda que não como seu pai David: fez porém conforme tudo o que fizera Joás seu pai.
N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe.
4 Tão somente os altos se não tiraram; porque ainda o povo sacrificava e queimava incenso nos altos.
Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo.
5 Sucedeu pois que, sendo já o reino confirmado na sua mão, matou os seus servos que tinham morto o rei seu pai.
Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe.
6 Porém os filhos dos matadores não matou, como está escrito no livro da lei de Moisés, no qual o Senhor deu ordem, dizendo: Não matarão os pais por causa dos filhos, e os filhos não matarão por causa dos pais; mas cada um será morto pelo seu pecado.
Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.”
7 Este feriu a dez mil edomitas no vale do Sal, e tomou a Sela na guerra: e chamou o seu nome Jocteel, até ao dia de hoje.
Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.
8 Então Amasias, enviou mensageiros a Jehoás, filho de Joachaz, filho de Jehu, rei de Israel, dizendo: Vem, vejamo-nos cara a cara.
Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.”
9 Porém Jehoás, rei de Israel, enviou a Amasias, rei de Judá, dizendo: O cardo que está no líbano enviou ao cedro que está no líbano, dizendo: Dá tua filha por mulher a meu filho: mas os animais do campo, que eram no líbano, passaram e pizaram o cardo.
Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango.
10 Na verdade feriste os moabitas, e o teu coração se ensoberbeceu: glória-te disso, e fica em tua casa; e porque te entremeterias no mal, para caires tu, e Judá contigo?
Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”
11 Mas Amasias não o ouviu: e subiu Jehoás, rei de Israel, e Amasias, rei de Judá, e viram-se cara a cara, em Beth-semes, que está em Judá.
Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.
12 E Judá foi ferido diante de Israel, e fugiu cada um para as suas tendas.
Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe.
13 E Jehoás, rei de Israel, tomou a Amasias, rei de Judá, filho de Joás, filho de Achazias, em Beth-semes: e veio a Jerusalém, e rompeu o muro de Jerusalém, desde a porta de Ephraim até à porta da esquina, quatrocentos côvados.
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda.
14 E tomou todo o ouro e a prata, e todos os vasos que se acharam na casa do Senhor e nos tesouros da casa do rei, como também os reféns: e voltou para Samaria.
N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya.
15 Ora o mais dos sucessos de Jehoás, o que fez, e o seu poder, e como pelejou contra Amasias, rei de Judá, porventura não está escrito no livro das crônicas dos reis de Israel?
Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
16 E dormiu Jehoás com seus pais, e foi sepultado em Samaria, junto aos reis de Israel: e Jeroboão, seu filho, reinou em seu lugar.
Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.
17 E viveu Amasias, filho de Jehoás, rei de Judá, depois da morte de Jehoás, filho de Joachaz, rei de Israel, quinze anos.
Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri.
18 Ora o mais dos sucessos de Amasias, porventura não está escrito no livro das crônicas dos reis de Judá?
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
19 E conspiraram contra ele em Jerusalém, e fugiu para Lachis; porém enviaram após ele até Lachis, e o mataram ali.
Ne bamusalira olukwe olw’okumuttira mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi.
20 E o trouxeram em cima de cavalos: e o sepultaram em Jerusalém, junto a seus pais, na cidade de David.
Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi.
21 E todo o povo de Judá tomou a Azarias, que já era de dezeseis anos, e o fizeram rei em lugar de Amasias, seu pai.
Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya.
22 Este edificou a Elath, e a restituiu a Judá, depois que o rei dormiu com seus pais.
Ye yaddaabiriza Erasi era n’azza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa.
23 No décimo quinto ano de Amasias, filho de Joás, rei de Judá, começou a reinar em Samaria, Jeroboão, filho de Jehoás rei de Israel e reinou quarenta e um anos.
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu.
24 E fez o que parecia mal aos olhos do Senhor: nunca se apartou de nenhum dos pecados de Jeroboão, filho de Nebat, que fez pecar a Israel.
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
25 Também este restituiu os termos de Israel, desde a entrada de Hamath até ao mar da planície: conforme a palavra do Senhor, Deus de Israel, a qual falara pelo ministério de seu servo Jonas, filho do profeta Amithai, o qual era de Gath-hepher.
Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.
26 Porque viu o Senhor que a miséria de Israel era mui amarga, e que nem havia encerrado, nem desamparado, nem quem ajudasse a Israel.
Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera.
27 E ainda não falara o Senhor em apagar o nome de Israel de debaixo do céu; porém os livrou por mão de Jeroboão, filho de Joás
Olw’okubanga Mukama yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi w’eggulu, n’atuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola.
28 Ora o mais dos sucessos de Jeroboão, tudo quanto fez, e seu poder, como pelejou, e como restituiu a Damasco e a Hamath, pertencentes a Judá, sendo rei em Israel, porventura não está escrito no livro das crônicas de Israel?
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
29 E Jeroboão dormiu com seus pais, com os reis de Israel: e Zacarias, seu filho, reinou em seu lugar.
Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.