< Neemias 12 >

1 Estes são sacerdotes e levitas que subiram com Zorobabel, filho de Sealthiel, e com Jesué: Seraias, Jeremias, Esdras,
Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa: Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,
2 Amarias, Malluch, Hattus,
ne Amaliya, ne Malluki, ne Kattusi,
3 Sechanias, Rehun, Meremoth,
ne Sekaniya, ne Lekumu, ne Meremoosi,
4 Iddo, Ginnethoi, Abias,
ne Iddo, ne Ginnesoyi, ne Abiya,
5 Miamin, Maadias, Bilga,
ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biruga,
6 Semaias, e Joiarib, Jedaias,
ne Semaaya, ne Yoyalibu, ne Yedaya,
7 Sallu, Amok, Hilkias, Jedaias: estes foram os chefes dos sacerdotes e de seus irmãos, nos dias de Jesué.
ne Sallu, ne Amoki, ne Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulembeze ba bakabona ne baganda baabwe mu biro bya Yesuwa.
8 E foram os levitas: Jesué, Binnui, Kadmiel, Serebias, Judah, Matthanias: este e seus irmãos presidiam sobre os louvores.
Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza.
9 E Bakbukias e Uni, seus irmãos, defronte d'elle, nas guardas.
Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.
10 E Jesué gerou a Joaquim, e Joaquim gerou a Eliasib, e Eliasib gerou a Joiada,
Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu, ate Yoyakimu nga ye kitaawe wa Eriyasibu, ne Eriyasibu nga ye kitaawe wa Yoyaada,
11 E Joiada gerou a Jonathan, e Jonathan gerou a Jaddua.
Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani, ate Yonasaani nga ye kitaawe wa Yadduwa.
12 E nos dias de Joaquim foram sacerdotes, cabeças dos paes: de Seraias, Meraias; de Jeremias, Hananias;
Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu b’ennyumba za bakabona: eya Seraya, yali Meraya; eya Yeremiya, yali Kananiya;
13 D'Esdras, Messullam; de Amarias, Johanan;
eya Ezera, yali Mesullamu, eya Amaliya, yali Yekokanani;
14 De Melichu, Jonathan; de Sebanias, José;
eya Malluki, yali Yonasaani; eya Sebaniya, yali Yusufu;
15 D'Harim, Adna; de Meraioth, Helkai;
eya Kalimu, yali Aduna; eya Merayoosi, yali Kerukayi;
16 D'Iddo, Zacharias; de Ginnethon, Messullam;
eya Iddo, yali Zekkaliya; eya Ginnesoni, yali Mesullamu;
17 D'Abias, Zichri; de Miamin e de Moadias, Piltai;
eya Abiya, yali Zikuli; eya Miniyamini ne Mowadiya, yali Pirutayi;
18 De Bilga, Sammua; de Semaias, Jonathan;
eya Biruga, yali Sammuwa; eya Semaaya, yali Yekonasaani;
19 E de Joiarib, Matthenai; de Jedaias, Ezzi;
eya Yoyalibu, yali Mattenayi; eya Yedaya, yali Uzzi;
20 De Sallai, Kallai; de Amok, Eber;
eya Sallayi, yali Kallayi; eya Amoki, yali Eberi;
21 D'Hilkias, Hasabias; de Jedaias, Nethanael.
eya Kirukiya, yali Kasabiya; n’eya Yedaya, yali Nesaneeri.
22 Dos levitas foram nos dias d'Eliasib escriptos como cabeças de paes, Joiada, e Johnan, e Jaddua; como tambem os sacerdotes, até ao reinado de Dario o persa.
Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi.
23 Os filhos de Levi escriptos como cabeças de paes no livro das chronicas, até aos dias de Johanan, filho d'Eliasib.
Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo.
24 Foram pois os cabeças dos levitas; Hasabias, Serabias, e Jesué, filho de Kadmiel, e seus irmãos defronte d'elles, para louvarem e darem graças, segundo o mandado de David, homem de Deus: guarda contra guarda.
Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
25 Matthanias, e Bakbukias, Obadias, Mesullam, Talmon, e Akkub, eram porteiros, que faziam a guarda ás thesourarias das portas.
Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango.
26 Estes foram nos dias de Joaquim, filho de Jesué, o filho de Josadak; como tambem nos dias de Nehemias, o governador, e do sacerdote Esdras, o escriba.
Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.
27 E na dedicação dos muros de Jerusalem buscaram os levitas de todos os seus logares, para os trazerem, afim de fazerem a dedicação com alegrias, e com louvores, e com canto, psalterios, alaudes, e com harpas.
Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga.
28 E assim ajuntaram os filhos dos cantores, tanto da campina dos arredores de Jerusalem, como das aldeias de Netophati;
Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo by’Abanetofa,
29 Como tambem da casa de Gilgal, e dos campos de Gibeah, e Azmaveth: porque os cantores se edificaram aldeias nos arredores de Jerusalem.
n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi.
30 E purificaram-se os sacerdotes e os levitas; e logo purificaram o povo, e as portas, e o muro.
Bakabona n’Abaleevi bwe baamala okwetukuza olw’emikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, n’emiryango ne bbugwe.
31 Então fiz subir os principes de Judah sobre o muro, e ordenei dois grandes coros e procissões, um á mão direita sobre o muro da banda da porta do monturo.
Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa.
32 E após elles ia Hosaias, e a metade dos principes de Judah,
Kosaaya ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ba Yuda ne babagoberera,
33 E Azarias, Esdras, e Mesullam,
nga bali wamu ne Azaliya, ne Ezera, ne Mesullamu,
34 Judah, e Benjamin, e Semaias, e Jeremias.
ne Yuda, ne Benyamini, ne Semaaya, ne Yeremiya,
35 E dos filhos dos sacerdotes, com trombetas: Zacharias, filho de Jonathan, o filho de Semaias, filho de Matthanias, filho de Michaias, filho de Zacchur, filho d'Asaph,
ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu;
36 E seus irmãos, Semaias, e Azareel, Milalai, Gilalai, Maai, Nethanael, e Judah, e Hanani, com os instrumentos musicos de David, homem de Deus; e Esdras o escriba ia adiante d'elles.
ne banne abaamuyambangako nga be bano: Semaaya, ne Azuleeri, ne Miralayi, ne Giralayi, ne Maayi, ne Nesaneeri, ne Yuda, ne Kanani, nga balina ebivuga ebyalagirwa Dawudi omusajja wa Katonda, era Ezera omuwandiisi, ye yabakulemberangamu.
37 Indo assim para a porta da fonte, e defronte d'elles, subiram as escadas da cidade de David pela subida do muro, desde cima da casa de David, até á porta das aguas, da banda do oriente.
Bwe baatuuka ku Mulyango gw’Oluzzi, ne bambuka amadaala g’Ekibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogw’Amazzi, oguli ku luuyi olw’ebuvanjuba.
38 E o coro segundo ia defronte, e eu após elle; e a metade do povo ia sobre o muro, desde a torre dos fornos, até á muralha larga;
Ekibinja ekyokubiri eky’abayimbi, ne kiraga ku luuyi olwolekedde luli bali gye baali balaze. Nze ne kimu kyakubiri eky’abantu ne tubagoberera okutuukira ddala waggulu ku bbugwe, ne tuyita ku Munaala gw’Ebikoomi ne tutuuka ku Bbugwe Omugazi,
39 E desde a porta d'Ephraim, e para a porta velha, e para a porta do peixe, e a torre d'Hananeel, e a torre de Mea, até á porta do gado; e pararam á porta da prisão.
ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.
40 Então ambos os coros pararam na casa de Deus; como tambem eu, e a metade dos magistrados comigo.
Ebibinja byombi eby’abayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri eky’abakulembeze ne tutuula,
41 E os sacerdotes Eliakim, Maaseias, Miniamin, Michaias, Elioenai, Zacharias, e Hananias, com trombetas,
awamu ne bakabona bano: Eriyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eriwenayi, ne Zekkaliya, ne Kananiya nga balina amakondeere;
42 Como tambem, Maaseias, e Semaias, e Eleazar, e Uzzi, e Johanan, e Malchias, e Elam, e Ezer; e faziam-se ouvir os cantores, juntamente com Jezrahias, o superintendente.
Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe.
43 E sacrificaram no mesmo dia grandes sacrificios, e se alegraram; porque Deus os alegrara com grande alegria; e até as mulheres e os meninos se alegraram, que a alegria de Jerusalem se ouviu até de longe.
Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.
44 Tambem no mesmo dia se nomearam homens sobre as camaras, para os thesouros, para as offertas alçadas, para as primicias, e para os dizimos, para ajuntarem n'ellas, das terras das cidades, as partes da lei para os sacerdotes e para os levitas; porque Judah estava alegre por causa dos sacerdotes e dos levitas que assistiam ali.
Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi.
45 E faziam a guarda do seu Deus, e a guarda da purificação; como tambem os cantores e porteiros, conforme ao mandado de David e de seu filho Salomão.
Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali.
46 Porque já nos dias de David e Asaph, desde a antiguidade, havia cabeças dos cantores, e dos canticos de louvores, e d'acção de graças a Deus
Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.
47 Pelo que todo o Israel, já nos dias de Zorobabel, nos dias de Nehemias, dava as partes dos cantores e dos porteiros a cada um no seu dia; e sanctificavam as porções aos levitas, e os levitas sanctificavam aos filhos d'Aarão.
Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.

< Neemias 12 >