< Gênesis 2 >

1 Assim os céus, e a terra e todo o seu exercito foram acabados.
Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2 E havendo Deus acabado no dia setimo a sua obra, que tinha feito, descançou no setimo dia de toda a sua obra, que tinha feito.
Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola.
3 E abençoou Deus o dia setimo, e o sanctificou; porque n'elle descançou de toda a sua obra, que Deus creára e fizera.
Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
4 Estas são as origens dos céus e da terra, quando foram creados: no dia em que o Senhor Deus fez a terra e os céus:
Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5 E toda a planta do campo que ainda não estava na terra, e toda a herva do campo que ainda não brotava; porque ainda o Senhor Deus não tinha feito chover sobre a terra, e não havia homem para lavrar a terra.
Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka.
6 Um vapor, porém, subia da terra, e regava toda a face da terra.
Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna.
7 E formou o Senhor Deus o homem do pó da terra, e soprou em seus narizes o folego da vida: e o homem foi feito alma vivente.
Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
8 E plantou o Senhor Deus um jardim no Eden, da banda do oriente: e poz ali o homem que tinha formado.
Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo.
9 E o Senhor Deus fez brotar da terra toda a arvore agradavel á vista, e boa para comida: e a arvore da vida no meio do jardim, e a arvore da sciencia do bem e do mal.
Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
10 E sahia um rio do Eden para regar o jardim; e d'ali se dividia e se tornava em quatro cabeças.
Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena.
11 O nome do primeiro é Pison: este é o que rodeia toda a terra de Havila, onde ha oiro.
Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu;
12 E o oiro d'essa terra é bom: ali ha o bdellio, e a pedra sardonica.
ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku.
13 E o nome do segundo rio é Gihon: este é o que rodeia toda a terra de Cush.
Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.
14 E o nome do terceiro rio é Hiddekel: este é o que vae para a banda do oriente da Assyria: e o quarto rio é o Euphrates.
N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15 E tomou o Senhor Deus o homem, e o poz no jardim do Eden para o lavrar e o guardar.
Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga.
16 E ordenou o Senhor Deus ao homem, dizendo: De toda a arvore do jardim comerás livremente,
Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako,
17 Mas da arvore da sciencia do bem e do mal, d'ella não comerás; porque no dia em que d'ella comeres, certamente morrerás.
naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
18 E disse o Senhor Deus: Não é bom que o homem esteja só: far-lhe-hei uma ajudadora que esteja como diante d'elle.
Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
19 Havendo pois o Senhor Deus formado da terra todo o animal do campo, e toda a ave dos céus os trouxe a Adão, para este vêr como lhes chamaria; e tudo o que Adão chamou a toda a alma vivente, isso foi o seu nome.
Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
20 E Adão poz os nomes a todo o gado, e ás aves dos céus, e a toda a besta do campo; mas para o homem não se achava ajudadora que estivesse como diante d'elle.
Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.
21 Então o Senhor Deus fez cair um somno pesado sobre Adão, e este adormeceu: e tomou uma das suas costellas, e cerrou a carne em seu logar;
Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama.
22 E da costella que o Senhor Deus tomou do homem, formou uma mulher: e trouxe-a a Adão.
Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
23 E disse Adão: Esta é agora osso dos meus ossos, e carne da minha carne: esta será chamada varôa, porquanto do varão foi tomada.
Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24 Portanto deixará o varão o seu pae e a sua mãe, e apegar-se-ha á sua mulher, e serão ambos uma carne.
Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25 E ambos estavam nús, o homem e a sua mulher; e não se envergonhavam.
Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.

< Gênesis 2 >