< 1 Reis 5 >
1 E enviou Hirão, rei de Tyro, os seus servos a Salomão (porque ouvira que ungiram a Salomão rei em logar de seu pae), porquanto Hirão sempre tinha amado a David.
Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi.
2 Então Salomão enviou a Hirão, dizendo:
Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti,
3 Bem sabes tu que David, meu pae, não poude edificar uma casa ao nome do Senhor seu Deus, por causa da guerra com que o cercaram, até que o Senhor os poz debaixo das plantas dos pés.
“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye.
4 Porém agora o Senhor meu Deus me tem dado descanço de todos os lados: adversario não ha, nem algum mau encontro.
Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna.
5 E eis que eu, meu Deus, intento edificar uma casa ao nome do Senhor, como fallou o Senhor a David, meu pae, dizendo: Teu filho, que porei em teu logar no teu throno, elle edificará uma casa ao meu nome.
Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’
6 Dá ordem pois agora que do Libano me cortem cedros, e os meus servos estarão com os teus servos, e eu te darei a soldada dos teus servos, conforme a tudo o que disseres; porque bem sabes tu que entre nós ninguem ha que saiba cortar a madeira como os sidonios.
“Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”
7 E aconteceu que, ouvindo Hirão as palavras de Salomão, muito se alegrou, e disse: Bemdito seja hoje o Senhor, que deu a David um filho sabio sobre este tão grande povo.
Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”
8 E enviou Hirão a Salomão, dizendo: Ouvi o que me mandaste dizer. Eu farei toda a tua vontade ácerca dos cedros e ácerca das faias.
Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti, “Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi.
9 Os meus servos os levarão desde o Libano até ao mar, e eu os farei conduzir em jangadas pelo mar até ao logar que me designares, e ali os desamarrarei; e tu os tomarás: tu tambem farás a minha vontade, dando sustento á minha casa.
Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”
10 Assim deu Hirão a Salomão madeira de cedros e madeira de faias, conforme a toda a sua vontade.
Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala,
11 E Salomão deu a Hirão vinte mil coros de trigo, para sustento da sua casa, e vinte coros de azeite batido: isto dava Salomão a Hirão de anno em anno.
ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka.
12 Deu pois o Senhor a Salomão sabedoria, como lhe tinha dito: e houve paz entre Hirão e Salomão, e ambos fizeram alliança.
Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.
13 E o rei Salomão fez subir leva de gente d'entre todo o Israel: e foi a leva de gente trinta mil homens.
Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu.
14 E os enviou ao Libano, cada mez dez mil por suas vezes: um mez estavam no Libano, e dois mezes cada um em sua casa: e Adoniram estava sobre a leva de gente.
N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga.
15 Tinha tambem Salomão setenta mil que levavam as cargas, e oitenta mil que cortavam nas montanhas,
Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi,
16 Afóra os chefes dos officiaes de Salomão, os quaes estavam sobre aquella obra, tres mil e trezentos que davam as ordens ao povo que fazia aquella obra.
ate n’abaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu n’okulagirira abakozi.
17 E mandou o rei que trouxessem pedras grandes, e pedras preciosas, pedras lavradas, para fundarem a casa.
Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi.
18 E as lavravam os edificadores de Hirão e os giblitas: e preparavam a madeira e as pedras para edificar a casa.
Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.