< Ezdrasza 3 >

1 A gdy nastał miesiąc siódmy, a synowie Izraelscy byli w miastach, zgromadził się lud jednomyślnie do Jeruzalemu.
Omwezi ogw’omusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu.
2 Tedy wstawszy Jesua, syn Jozedeka, i bracia jego kapłani, i Zorobabel, syn Salatyjela, i bracia jego, zbudowali ołtarz Boga Izraelskiego, aby na nim sprawowali całopalenia, jako napisane w zakonie Mojżesza, męża Bożego.
Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
3 A gdy postawili on ołtarz na fundamencie swym, choć się bali narodów postronnych, jednak ofiarowali na nim całopalenia Panu, całopalenia rano i w wieczór.
Newaakubadde nga baalina entiisa ey’abamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bawaayo eby’enkya n’eby’akawungeezi.
4 Obchodzili też święto uroczyste kuczek, jako napisane, sprawując całopalenia na każdy dzień według liczby i według zwyczaju każdą rzecz dnia swego;
Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali.
5 Potem całopalenie ustawiczne, i na nowiu miesiąca, i na każde uroczyste święto Panu poświęcone, i od każdego dobrowolnie ofiarującego dobrowolną ofiarę Panu.
N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa.
6 Ode dnia pierwszego miesiąca siódmego poczęli sprawować całopalenia Panu, choć jeszcze kościół Pański nie był założony.
Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.
7 I oddali pieniądze kamiennikom, i rzemieślnikom, także strawę i napój, i oliwę Sydończykom, i Tyryjczykom, aby przywozili drzewo cedrowe z Libanu do morza Joppy, jako im pozwolił Cyrus, król Perski.
Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali.
8 Potem roku wtórego po ich nawróceniu do domu Bożego w Jeruzalemie, miesiąca wtórego, zaczęli Zorobabel, syn Salatyjela, i Jesua, syn Jozedeka, i inni bracia ich kapłani, i Lewitowie, i wszyscy, którzy byli przyszli z onej niewoli do Jeruzalemu, a postanowili Lewitów od dwudziestu lat i wyżej, aby byli dozorcami nad robotą domu Pańskiego.
Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
9 I stanął Jesua, synowie jego, i bracia jego; Kadmiel też i synowie jego, synowie Judy społu, aby przynaglali tym, którzy robili około domu Bożego; synowie Chenadadowi, synowie ich, i bracia ich Lewitowie.
Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
10 A gdy zakładali budownicy grunty kościoła Pańskiego, postawili kapłanów ubranych z trąbami, i Lewitów, synrw Asafowych z cymbałami, aby chwalili Pana według postanowienia Dawida, króla Izraelskiego.
Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka.
11 I śpiewali jedni po drugich chwaląc a wysławiając Pana, że dobry, że na wieki miłosierdzie jego nad Izraelem. Wszystek także lud krzyczał krzykiem wielkim, chwaląc Pana, przeto, iż był założony dom Pański.
Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.” Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.
12 A wiele starców, z kapłanów, i z Lewitów, i z przedniejszych domów ojcowskich, którzy widzieli dom pierwszy, gdy zakładano ten dom przed oczyma ich, płakali głosem wielkim, a zasię wiele ich krzyczało, z radością wynosząc głosy;
Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana;
13 Tak, iż lud nie mógł rozeznać głosu krzyku wesołego od głosu płaczącego ludu; albowiem lud on krzyczał głosem wielkim, tak że głos było daleka słyszeć.
nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.

< Ezdrasza 3 >