< Salomos Høisang 3 >
1 På mitt leie lette jeg om natten efter ham som min sjel elsker; jeg lette efter ham, men jeg fant ham ikke.
Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gw’eyagala, ne munoonya naye saamulaba.
2 Da sa jeg: Jeg vil stå op og gå omkring i byen, på gatene og på torvene; jeg vil lete efter ham som min sjel elsker. Jeg lette efter ham, men jeg fant ham ikke.
Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gw’eyagala, ne nnindirira naye saamulaba.
3 Vekterne, som går omkring i byen, møtte mig. Jeg sa til dem: Har I sett ham som min sjel elsker?
Abakuumi b’ekibuga abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti, “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4 Ikke før var jeg gått fra dem, før jeg fant ham som min sjel elsker; jeg tok fatt i ham, og jeg slipper ham ikke før jeg har ført ham til min mors hus, til hennes kammer som har født mig.
Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5 Jeg ber eder inderlig, I Jerusalems døtre, ved rådyrene eller ved hindene på marken, at I ikke vekker og ikke egger kjærligheten, før den selv vil!
Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde.
6 Hvem er hun som kommer op fra ørkenen, som det var røkstøtter, omduftet av myrra og virak, av alle kremmerens krydderier?
Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu, afaanana ng’empagi ey’omukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu, okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 Se, her er Salomos seng med seksti krigsmenn omkring, av Israels krigsmenn,
Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 alle væbnet med sverd, opøvet i krig, hver med sverdet ved lend til vern mot nattens farer.
bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9 En bæreseng gjorde kong Salomo sig av Libanons trær.
Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Dens stolper gjorde han av sølv, dens ryggstø av gull, dens pute av purpur; innvendig er den smykket i kjærlighet av Jerusalems døtre.
Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala, okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 Gå ut, I Sions døtre, og se på kong Salomo med den krone hans mor har kronet ham med på hans bryllupsdag, på hans hjertegledes dag!
Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olw’embaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.