< 4 Mosebok 29 >
1 I den syvende måned, på den første dag i måneden, skal I holde en hellig sammenkomst; I skal ikke gjøre nogen arbeidsgjerning; den dag skal basunene lyde hos eder.
“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere.
2 Og I skal ofre et brennoffer til en velbehagelig duft for Herren: en ung okse og en vær og syv årsgamle lam uten lyte,
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
3 og som tilhørende matoffer fint mel blandet med olje, tre tiendedeler av en efa til oksen, to tiendedeler til væren
Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu,
4 og en tiendedel for hvert av de syv lam,
ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu.
5 og en gjetebukk som syndoffer, til å gjøre soning for eder,
Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza.
6 foruten måneds-brennofferet med tilhørende matoffer og det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og foreskrevne drikkoffer, til en velbehagelig duft, et ildoffer for Herren.
Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
7 Den tiende dag i den samme syvende måned skal I holde en hellig sammenkomst; da skal I faste. I skal ikke gjøre nogen arbeidsgjerning.
“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna.
8 Og I skal ofre Herren et brennoffer til en velbehagelig duft: en ung okse og en vær og syv årsgamle lam - uten lyte skal de være -
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
9 og som tilhørende matoffer fint mel blandet med olje, tre tiendedeler av en efa til oksen, to tiendedeler til væren
Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu,
10 Og en tiendedel for hvert av de syv lam,
ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu.
11 Og en gjetebukk som syndoffer, foruten sonings-syndofferet og det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.
12 Den femtende dag i den syvende måned skal I holde en hellig sammenkomst; I skal ikke gjøre nogen arbeidsgjerning; I skal holde høitid for Herren i syv dager.
“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu.
13 Og I skal ofre et brennoffer, et ildoffer til en velbehagelig duft for Herren: tretten unge okser og to værer og fjorten årsgamle lam - uten lyte skal de være -
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo.
14 og som tilhørende matoffer fint mel blandet med olje, tre tiendedeler av en efa for hver av de tretten okser, to tiendedeler for hver av de to værer,
Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume;
15 og en tiendedel for hvert av de fjorten lam,
ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu.
16 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
17 Og den annen dag tolv unge okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte
“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo.
18 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, alt således som foreskrevet er,
Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
19 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.
20 Og den tredje dag elleve okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte,
“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
21 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
22 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
23 Og den fjerde dag ti okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte,
“Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
24 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
25 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
26 Og den femte dag ni okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte,
“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo.
27 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
28 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
29 Og den sjette dag åtte okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte,
“Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
30 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
31 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
32 Og den syvende dag syv okser og to værer og fjorten årsgamle lam uten lyte,
“Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
33 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til tallet på oksene og værene og lammene, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
34 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
35 Den åttende dag skal I holde en festlig sammenkomst; I skal ikke gjøre nogen arbeidsgjerning.
“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana.
36 Og I skal ofre et brennoffer, et ildoffer til en velbehagelig duft for Herren: en okse og en vær og syv årsgamle lam uten lyte,
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
37 med tilhørende matoffer og drikkoffer, svarende til oksen og væren og lammene efter deres tall, således som foreskrevet er,
Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
38 og en gjetebukk som syndoffer, foruten det stadige brennoffer med tilhørende matoffer og drikkoffer.
Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
39 Disse offer skal I ofre Herren på eders høitider, foruten eders lovede og eders frivillige offer, enten det er brennoffer eller matoffer eller drikkoffer eller takkoffer.
“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”
40 Og Moses sa dette til Israels barn, i ett og alt som Herren hadde befalt ham.
Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.