< Matteus 11 >
1 Og det skjedde da Jesus var ferdig med å gi sine tolv disipler disse forskrifter, da drog han derfra for å lære og forkynne i deres byer.
Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe.
2 Men da Johannes i fengslet hørte om Kristi gjerninger, sendte han bud med sine disipler og lot si til ham:
Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be.
3 Er du den som skal komme, eller skal vi vente en annen?
Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?”
4 Og Jesus svarte og sa til dem: Gå bort og fortell Johannes det som I hører og ser:
Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira.
5 blinde ser og halte går, spedalske renses og døve hører og døde står op, og evangeliet forkynnes for fattige;
Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri.
6 og salig er den som ikke tar anstøt av mig.
Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’”
7 Da nu disse gikk bort, begynte Jesus å tale til folket om Johannes: Hvorfor var det I gikk ut i ørkenen? for å se et rør som svaier for vinden?
Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
8 Eller hvorfor var det I gikk der ut? for å se et menneske klædd i fine klær? Se, de som går i fine klær, er i kongenes hus.
Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka.
9 Eller hvorfor var det I gikk der ut? for å se en profet? Ja, jeg sier eder, endog mere enn en profet.
Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi.
10 Det er ham det er skrevet om: Se, jeg sender mitt bud for ditt åsyn; han skal rydde din vei for dig.
Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti, “‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere, alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’
11 Sannelig sier jeg eder: Nogen større enn døperen Johannes er ikke opreist blandt dem som er født av kvinner; men den minste i himlenes rike er større enn han.
Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana.
12 Men fra døperen Johannes' dager inntil nu trenger de sig med makt inn i himlenes rike, og de som trenger sig inn, river det til sig.
Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala.
13 For alle profetene og loven har spådd inntil Johannes,
Kubanga amateeka gonna era n’obunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana.
14 og om I vil ta imot det: Han er den Elias som skal komme.
Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja.
15 Den som har ører, han høre!
Alina amatu agawulira, awulire.”
16 Men hvem skal jeg ligne denne slekt med? Den ligner små barn som sitter på torvene og roper til sine lekebrødre:
“Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,
17 Vi blåste på fløite for eder, og I vilde ikke danse; vi sang sørgesanger, og I vilde ikke gråte.
“‘Twabafuuyira omulere, ne mutazina; ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga, ne mutakungubaga.’
18 For Johannes kom; han hverken åt eller drakk, og de sier: Han er besatt.
Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’
19 Menneskesønnen kom; han eter og drikker, og de sier: Se, for en storeter og vindrikker, tolderes og synderes venn! Men visdommen er rettferdiggjort av sine barn.
Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”
20 Da begynte han å refse de byer hvor hans fleste kraftige gjerninger var gjort, fordi de ikke hadde omvendt sig:
Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya.
21 Ve dig, Korasin! ve dig, Betsaida! Dersom de kraftige gjerninger som er gjort i eder, var gjort i Tyrus og Sidon, da hadde de for lenge siden omvendt sig i sekk og aske.
“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe.
22 Dog, jeg sier eder: Det skal gå Tyrus og Sidon tåleligere på dommens dag enn eder.
Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango!
23 Og du, Kapernaum, som er blitt ophøiet like til himmelen! like til dødsriket skal du bli nedstøtt; for dersom de kraftige gjerninger som er gjort i dig, var gjort i Sodoma, da var det blitt stående til denne dag. (Hadēs )
Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. (Hadēs )
24 Dog, jeg sier eder: Det skal gå Sodomas land tåleligere på dommens dag enn eder.
Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!”
25 På den tid tok Jesus til orde og sa: Jeg priser dig, Fader, himmelens og jordens herre, fordi du har skjult dette for de vise og forstandige, og åpenbaret det for de umyndige;
Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato.
26 ja, Fader, fordi således skjedde det som var velbehagelig for dig.
Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.”
27 Alle ting er mig overgitt av min Fader, og ingen kjenner Sønnen, uten Faderen, heller ikke kjenner nogen Faderen, uten Sønnen og den som Sønnen vil åpenbare det for.
“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”
28 Kom til mig, alle I som strever og har tungt å bære, og jeg vil gi eder hvile!
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
29 Ta mitt åk på eder og lær av mig! for jeg er saktmodig og ydmyk av hjertet; så skal I finne hvile for eders sjeler.
Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo.
30 For mitt åk er gagnlig, og min byrde er lett.
Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”