< Hebreerne 11 >
1 Men tro er full visshet om det som håpes, overbevisning om ting som ikke sees.
Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika.
2 For på grunn av den fikk de gamle godt vidnesbyrd.
Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.
3 Ved tro skjønner vi at verden er kommet i stand ved Guds ord, så det som sees, ikke blev til av det synlige. (aiōn )
Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. (aiōn )
4 Ved tro bar Abel frem for Gud et bedre offer enn Kain; ved den fikk han det vidnesbyrd at han var rettferdig, idet Gud vidnet om hans gaver, og ved den taler han ennu efter sin død.
Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.
5 Ved tro blev Enok bortrykket, så han ikke skulde se døden, og han blev ikke funnet, fordi Gud hadde bortrykket ham. For før han blev bortrykket, fikk han det vidnesbyrd at han tektes Gud;
Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa.
6 men uten tro er det umulig å tekkes Gud; for den som treder frem for Gud, må tro at han er til, og at han lønner dem som søker ham.
Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
7 Ved tro bygget Noah, varslet av Gud om det som ennu ikke var sett, i hellig frykt en ark til frelse for sitt hus; ved den fordømte han verden og blev arving til rettferdigheten av tro.
Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
8 Ved tro var Abraham lydig da han blev kalt, så han drog ut til det sted han skulde få til arv, og han drog ut uten å vite hvorhen han skulde komme;
Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo.
9 ved tro opholdt han sig som utlending i det lovede land som i et fremmed land, idet han bodde i telt sammen med Isak og Jakob, medarvingene til det samme løfte;
Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu.
10 for han ventet på den stad som har de faste grunnvoller, og som Gud er byggmester og skaper til.
Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.
11 Ved tro fikk også Sara kraft til å grunnlegge en ætt, og det til tross for sin alder, da hun aktet ham trofast som gav løftet;
Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa.
12 derfor blev det også av en, og det en utlevd, avlet så mange som himmelens stjerner og som sanden ved havets strand, som ingen kan telle.
Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.
13 I tro døde alle disse uten at de hadde opnådd det som var lovt; men de så det langt borte og hilste det og bekjente at de var fremmede og utlendinger på jorden.
Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.
14 For de som sier slikt, gir derved til kjenne at de søker et fedreland;
Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala.
15 og dersom de hadde tenkt på det som de var kommet fra, da hadde de jo hatt tid til å vende tilbake;
Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega.
16 men nu stunder de efter et bedre, det er et himmelsk; derfor skammer Gud sig ikke ved dem, ved å kalles deres Gud; for han har gjort en stad ferdig til dem.
Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.
17 Ved tro ofret Abraham Isak dengang han blev fristet; ja, sin enbårne ofret han som hadde fått løftene,
Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,
18 han som det blev sagt til: I Isak skal det nevnes dig en ætt;
gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,”
19 for han tenkte at Gud er mektig endog til å opvekke fra de døde, og derfra fikk han ham og likesom tilbake.
gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.
20 Ved tro velsignet Isak Jakob og Esau, med syn på det som skulde komme.
Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.
21 Ved tro velsignet Jakob døende hver og en av Josefs sønner og tilbad, bøiet over knappen på sin stav.
Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.
22 Ved tro talte Josef på sitt siste om Israels barns utgang og gav påbud om sine ben.
Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.
23 Ved tro blev Moses efter sin fødsel skjult i tre måneder av sine foreldre, fordi de så at gutten var fager, og de fryktet ikke for kongens bud.
Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
24 Ved tro nektet Moses, da han var blitt stor, å kalles Faraos datters sønn,
Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo
25 idet han heller valgte å lide ondt sammen med Guds folk enn å ha en kortvarig nydelse av synden,
n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu.
26 og aktet Kristi vanære for en større rikdom enn Egyptens skatter; for han så frem til lønnen.
Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera.
27 Ved tro forlot han Egypten, uten å frykte for kongens vrede; for han holdt ut, som om han så den usynlige.
Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri.
28 Ved tro holdt han påsken med blodsprengningen, forat ikke ødeleggeren skulde røre deres førstefødte.
Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.
29 Ved tro gikk de gjennem det Røde Hav som over tørt land; men da egypterne prøvde på det, druknet de.
Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
30 Ved tro falt Jerikos murer, da de hadde gått omkring dem i syv dager.
Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 Ved tro undgikk skjøgen Rahab å gå til grunne med de vantro, da hun hadde tatt imot speiderne med fred.
Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.
32 Og hvorfor taler jeg lenger? Tiden vilde bli mig for kort om jeg skulde fortelle om Gideon og Barak og Samson og Jefta, om David og Samuel og profetene,
Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala,
33 som ved tro seiret over kongeriker, håndhevde rettferdighet, fikk løfter opfylt, stoppet gapet på løver,
abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma,
34 slukket ilds kraft, slapp fra sverds egg, fikk styrke igjen efter sykdom, blev veldige i krig, fikk fienders hærer til å vike;
be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga.
35 kvinner fikk sine døde igjen ved opstandelse; andre blev utspent til pinsel og vilde ikke ta imot utløsning, forat de kunde få del i en bedre opstandelse;
Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde.
36 andre fikk lide spott og hudstrykning, ja bånd og fengsel;
N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera.
37 de blev stenet, gjennemsaget, fristet; de døde for sverd; de flakket omkring i fåreskinn, i gjeteskinn, de led mangel, trengsel, hård medferd
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi,
38 - verden var dem ikke verd - de vanket om i utørkener og fjell og huler og jordkløfter.
n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi.
39 Og enda alle disse fikk vidnesbyrd for sin tro, opnådde de ikke det som var lovt,
Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa.
40 fordi Gud forut hadde utsett noget bedre for oss, så de ikke skulde nå fullendelsen uten oss.
Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.