< Esekiel 48 >

1 Dette er stammenes navn: Fra nordenden langs Hetlon-veien til bortimot Hamat og Hasar-Enan ved Damaskus' landemerke, mot nord, ved siden av Hamat, der skal Dan ha landet, fra østsiden til havet - Dan én lodd.
“Gano ge mannya g’ebika: “Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.
2 Og langsmed Dans landemerke, fra østsiden til vestsiden, Aser én lodd.
N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.
3 Og langsmed Asers landemerke, fra østsiden og til vestsiden, Naftali én lodd.
N’okuliraana Aseri okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali.
4 Og langsmed Naftalis landemerke, fra østsiden til vestsiden, Manasse én lodd.
N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.
5 Og langsmed Manasses landemerke, fra østsiden til vestsiden, Efra'im én lodd.
N’okuliraana Manase okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu.
6 Og langsmed Efra'ims landemerke, fra østsiden og til vestsiden, Ruben én lodd.
N’okuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni.
7 Og langsmed Rubens landemerke, fra østsiden til vestsiden, Juda én lodd.
N’okuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda.
8 Og langsmed Judas landemerke, fra østsiden til vestsiden, skal det område ligge som I skal avgi som gave til Herren; det skal være fem og tyve tusen stenger i bredde, og i lengde som én av stammeloddene, fra østsiden til vestsiden, og midt i der skal helligdommen være.
“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.
9 Det område som I skal avgi til Herren som gave, skal være fem og tyve tusen stenger langt og ti tusen bredt.
“Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
10 Og av denne hellige gave skal et stykke tilhøre prestene, i nord fem og tyve tusen stenger, i vest ti tusen i bredde, i øst ti tusen i bredde, og i syd fem og tyve tusen i lengde, og midt i der skal Herrens helligdom være.
Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama.
11 Prestene, dem som er helliget blandt Sadoks sønner, som tok vare på det jeg vilde ha varetatt, som ikke forvillet sig dengang Israels barn fór vill, således som levittene forvillet sig,
Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako.
12 dem skal det tilhøre som en del av det landområde som skal avgis til Herren, som et høihellig stykke langsmed levittenes landemerke.
Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi.
13 Og levittene skal ved siden av prestenes landemerke ha fem og tyve tusen stenger i lengde og ti tusen i bredde; lengden skal i alt være fem og tyve tusen stenger, og bredden ti tusen.
“Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
14 De skal ikke selge eller bytte bort noget av det, og denne førstegrøde av landet skal ikke gå over til andre; for den er helliget til Herren.
Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.
15 De fem tusen stenger som er tilovers av bredden, langsmed de fem og tyve tusen, skal ikke være hellig land; det skal være til bruk for staden, til boliger og til jorder, og midt i der skal staden være.
“Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo,
16 Og dette er dens mål: Nordsiden skal være fire tusen og fem hundre stenger, og sydsiden fire tusen og fem hundre, og østsiden fire tusen og fem hundre, og vestsiden fire tusen og fem hundre.
era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu.
17 Og staden skal ha jorder, i nord to hundre og femti stenger og i syd to hundre og femti og i øst to hundre og femti og i vest to hundre og femti.
Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga.
18 Og det som er tilovers av lengden, langsmed den hellige gave, ti tusen stenger mot øst og ti tusen mot vest, det skal være langsmed den hellige gave, og av grøden av det skal være til føde for stadens arbeidere.
Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga.
19 Og stadens arbeidere, av alle Israels stammer, skal dyrke det.
Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri.
20 Hele gaven skal være fem og tyve tusen stenger i lengde og fem og tyve tusen i bredde; en fjerdedel i forhold til den hellige gave skal I avgi til stadens eiendom.
Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga.
21 Og fyrsten skal ha det som er tilovers på begge sider av den hellige gave og av stadens eiendom, langsmed den fem og tyve tusen stenger brede lodd til den østre grense og mot vest langsmed de fem og tyve tusen stenger til den vestre grense, ved siden av stammeloddene; det skal tilhøre fyrsten, og den hellige gave og husets helligdom skal være midt imellem.
“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo.
22 Og det som ligger mellem Judas landemerke og Benjamins landemerke, med levittenes eiendom og stadens eiendom i midten, det skal tilhøre fyrsten.
Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini.
23 Så kommer de andre stammer: Fra østsiden til vestsiden skal Benjamin ha én lodd.
“N’ebika ebirala birigabana bwe biti: “Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
24 Og langsmed Benjamins landemerke, fra østsiden til vestsiden, Simeon én lodd.
N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.
25 Og langsmed Simeons landemerke, fra østsiden til vestsiden, Issakar én lodd.
N’okuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali.
26 Og langsmed Issakars landemerke, fra østsiden til vestsiden, Sebulon én lodd.
N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.
27 Og langsmed Sebulons landemerke, fra østsiden til vestsiden, Gad én lodd.
N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.
28 Og langsmed Gads landemerke, på sydsiden, skal grensen mot syd gå fra Tamar til Meribas vann ved Kades; arven skal nå til det store hav.
N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.
29 Dette er det land som I skal lodde ut til Israels stammer av arven, og dette er deres lodder, sier Herren, Israels Gud.
“Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
30 Og dette er stadens yttergrenser: På nordsiden skal den måle fire tusen og fem hundre stenger;
“Gino gye giriba emiryango egy’ekibuga egifulumirwamu: “Okuva ku luuyi olw’Obukiikakkono, obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu,
31 og stadens porter skal opkalles efter Israels stammer; tre av dem skal ligge mot nord: Rubens port én, Judas port én, Levis port én.
emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.
32 Og på østsiden skal den måle fire tusen og fem hundre stenger og ha tre porter: Josefs port én, Benjamins port én, Dans port én.
Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.
33 Og sydsiden skal måle fire tusen og fem hundre stenger og ha tre porter: Simeons port én, Issakars port én, Sebulons port én.
Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.
34 Vestsiden skal måle fire tusen og fem hundre stenger og ha tre porter: Gads port én, Asers port én, Naftalis port én.
Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.
35 Rundt omkring skal staden måle atten tusen stenger. Og stadens navn skal fra den dag være: Herren er der.
“Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu. “N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘Mukama Katonda ali omwo.’”

< Esekiel 48 >