< Apostlenes-gjerninge 17 >

1 Efterat de hadde reist igjennem Amfipolis og Apollonia, kom de til Tessalonika, hvor jødene hadde en synagoge.
Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya.
2 Efter sin sedvane gikk Paulus inn til dem, og på tre sabbatsdager holdt han samtale med dem ut av skriftene,
Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.
3 og la ut og forklarte at Messias skulde lide og opstå fra de døde, og sa: Dette er Messias, den Jesus som jeg forkynner eder.
N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”
4 Og nogen av dem lot sig overbevise og holdt sig til Paulus og Silas, likeså en stor mengde av de grekere som dyrket Gud, og ikke få av de fornemste kvinner.
Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 Men jødene blev nidkjære og tok med sig nogen onde mennesker, nogen dagdrivere, og gjorde et opløp og satte byen i røre, og de trengte frem imot Jasons hus og søkte å få dem ut til folket;
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu.
6 men da de ikke fant dem, slepte de Jason og nogen brødre frem for by-dommerne og ropte: Disse som opvigler hele verden, er også kommet hit,
Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe,
7 og Jason har tatt imot dem; og alle disse gjør stikk imot keiserens bud og sier at en annen, en som heter Jesus, er konge.
era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.”
8 Da folket og by-dommerne hørte dette, blev de forferdet,
Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala.
9 og efterat de hadde latt Jason og de andre innestå for dem, lot de dem fare.
Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
10 Men straks samme natt sendte brødrene både Paulus og Silas avsted til Berøa. Da de kom dit, gikk de bort i jødenes synagoge.
Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.
11 Men disse var av et edlere sinn enn de i Tessalonika; de tok imot ordet med all godvilje, og gransket daglig i skriftene om det var således som det blev sagt dem.
Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.
12 Mange av disse kom da til troen, og ikke få av de fornemme greske kvinner og menn.
Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.
13 Men da jødene i Tessalonika fikk vite at Guds ord blev forkynt av Paulus også i Berøa, kom de dit og opegget folket der også.
Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina.
14 Straks sendte da brødrene Paulus avsted på veien til havet; men både Silas og Timoteus blev tilbake der.
Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
15 De som fulgte med Paulus, førte ham da til Aten, og drog så derfra med det bud til Silas og Timoteus at de skulde komme til ham så snart som mulig.
Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
16 Mens nu Paulus ventet på dem i Aten, harmedes hans ånd i ham, da han så at byen var full av avgudsbilleder.
Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala.
17 Han holdt da samtaler i synagogen med jødene og dem som dyrket Gud, og på torvet hver dag med dem han traff på.
N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale.
18 Nogen av de epikureiske og stoiske visdomslærere innlot sig også i ordskifte med ham, og nogen sa: Hvad mener vel denne ordgyder? Andre igjen sa: Han synes å være en som forkynner utenlandske guddommer det var fordi han forkynte evangeliet om Jesus og opstandelsen.
Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.”
19 Så tok de ham ved hånden og førte ham op på Areopagus, og sa: Kan vi få vite hvad dette er for en ny lære som du forkynner?
Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya,
20 for underlige ting fører du frem for våre ører; vi ønsker derfor å få vite hvad dette skal bety.
kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.”
21 Men alle atenere og de fremmede som opholdt sig der, gav sig ikke stunder til annet enn å fortelle eller høre nytt.
Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
22 Så stod da Paulus frem midt på Areopagus og sa: Atenske menn! I alle måter ser jeg at I er ivrige i eders gudsfrykt.
Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo;
23 For da jeg gikk omkring og så på eders helligdommer, fant jeg også et alter som det var satt den innskrift på: For en ukjent Gud. Det som I altså dyrker uten å kjenne det, dette forkynner jeg eder.
kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti: Kya Katonda Atamanyiddwa. Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.
24 Gud, han som gjorde verden og alt som i den er, han som er herre over himmel og jord, han bor ikke i templer gjort med hender;
“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu,
25 heller ikke tjenes han av menneskelige hender som om han trengte til noget, han som jo selv gir alle liv og ånde og alle ting;
era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
26 og han lot alle folkeslag av ett blod bo over hele jorderike, og satte dem faste tider og grenseskjell mellem deres bosteder,
Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago.
27 forat de skulde lete efter Gud, om de dog kunde føle og finne ham, enda han ikke er langt borte fra nogen eneste av oss.
Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala.
28 For i ham er det vi lever og rører oss og er til, som også nogen av eders skalder har sagt: For vi er også hans ætt.
Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
29 Da vi nu altså er Guds ætt, bør vi ikke tro at guddommen er lik gull eller sølv eller sten, et billedverk av menneskelig kunst og tanke.
“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.
30 Efterat Gud da har båret over med vankundighetens tider, byder han nu menneskene at de alle allesteds skal omvende sig,
Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya.
31 eftersom han har fastsatt en dag da han skal dømme verden med rettferdighet ved en mann som han har bestemt til det, efterat han har gitt fullgodt bevis for alle ved å opreise ham fra de døde.
Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
32 Da de hørte om dødes opstandelse, spottet nogen, men andre sa: Vi vil høre dig ennu en gang om dette.
Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”
33 Dermed gikk da Paulus bort fra dem.
Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe.
34 Men nogen menn holdt sig til ham og kom til troen, iblandt dem også Dionysius, en av Areopagus-dommerne, og en kvinne ved navn Damaris, og nogen andre med dem.
Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.

< Apostlenes-gjerninge 17 >