< Apostlenes-gjerninge 1 >
1 Den første bok skrev jeg, Teofilus, om alt det som Jesus begynte med både å gjøre og å lære,
Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza,
2 inntil den dag da han blev optatt, efterat han ved den Hellige Ånd hadde gitt sine bud til de apostler som han hadde utvalgt sig,
okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
3 dem som han også fremstilte sig for levende med mange beviser efterat han hadde lidt, idet han i firti dager viste sig for dem og talte om det som hører til Guds rike.
Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda.
4 Og da han var sammen med dem, bød han dem at de ikke skulde vike fra Jerusalem, men bie på det som Faderen hadde lovt, som I, sa han, har hørt om av mig;
Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti,
5 for Johannes døpte vel med vann, men I skal døpes med den Hellige Ånd ikke mange dager herefter.
‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’”
6 Da de nu var kommet sammen, spurte de ham: Herre! gjenreiser du på den tid riket for Israel?
Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”
7 Han sa til dem: Det tilkommer ikke eder å vite tider eller timer som min Fader har fastsatt av sin egen makt;
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe.
8 men I skal få kraft idet den Hellige Ånd kommer over eder, og I skal være mine vidner både i Jerusalem og i hele Judea og Samaria og like til jordens ende.
Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
9 Og da han hadde sagt dette, fór han op mens de så på, og en sky tok ham bort fra deres øine.
Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
10 Og mens de stirret op mot himmelen idet han fór bort, se, da stod to menn hos dem i hvite klær,
Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika,
11 og de sa: I galileiske menn! hvorfor står I og ser op mot himmelen? Denne Jesus som er optatt fra eder til himmelen, skal komme igjen på samme måte som I så ham fare op til himmelen.
ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”
12 Da vendte de tilbake til Jerusalem fra det berg som kalles Oljeberget og ligger nær ved Jerusalem, en sabbatsreise derfra.
Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti.
13 Og da de var kommet dit, gikk de op på den sal hvor de holdt til både Peter og Johannes, og Jakob og Andreas, Filip og Tomas, Bartolomeus og Matteus, Jakob, Alfeus' sønn, og Simon ivreren og Judas, Jakobs sønn;
Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano: Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya, ne Firipo ne Tomasi, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
14 alle disse holdt samdrektig ved i bønnen sammen med nogen kvinner og Maria, Jesu mor, og hans brødre.
Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
15 Og i disse dager stod Peter op midt iblandt brødrene der var samlet en flokk på omkring et hundre og tyve og han sa:
Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti,
16 Brødre! Det skriftord måtte opfylles som den Hellige Ånd forut talte ved Davids munn om Judas, som blev veiviser for dem som grep Jesus;
“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi.
17 han var jo regnet blandt oss og fikk del i denne tjeneste.
Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
18 Han kjøpte sig nu en aker for lønnen for sin ugjerning, og han styrtet ned og brast itu, og alle hans innvoller veltet ut,
Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika.
19 og det blev vitterlig for alle dem som bor i Jerusalem, så at hin aker på deres eget mål fikk navnet Hakeldama, det er blodaker.
Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
20 For det er skrevet i Salmenes bok: Hans bolig bli øde, og ingen bo der, og: La en annen få hans embede!
“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti, “‘Ekibanja kye kizike, so kireme okubeerangamu omuntu.’ ‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
21 Derfor bør en av de menn som vandret sammen med oss i all den tid den Herre Jesus gikk inn og ut hos oss,
Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu,
22 like fra sin dåp ved Johannes inntil den dag da han blev optatt fra oss en av disse bør sammen med oss bli vidne om hans opstandelse.
okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
23 De stilte da frem to, Josef, som kaltes Barsabbas, med tilnavnet Justus, og Mattias.
Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya.
24 Og de bad således: Du, Herre, som kjenner alles hjerter! vis oss hvem du har utvalgt av disse to
Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri,
25 til å få del i denne tjeneste og apostelgjerning som Judas gikk bort fra for å gå til sitt eget sted!
okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.”
26 Så kastet de lodd mellem dem, og loddet falt på Mattias, og han blev regnet sammen med de elleve apostler.
Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.