< Zeffaniya 3 >
1 Zikisanze ekibuga ekijooga, ekijeemu era ekyonoonefu!
2 Tekigondera ddoboozi lya Mukama, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama; wadde okusemberera Katonda waakyo.
3 Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma, era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro, bakirimululu abatafissaawo kantu.
4 Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa era ba nkwe; bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu, era bamenya amateeka.
5 Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu era tasobya. Buli nkya alamula mu bwenkanya, era buli lukya talemwa; naye atali mutuukirivu taswala.
6 “Nsanyizzaawo amawanga, era ebigo byabwe bifufuggaziddwa; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitamu. Ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
7 Nagamba eri ekibuga nti, ‘Ddala onontya, era onokkiriza okubuulirirwa.’ Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko. Naye beesunganga nnyo okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
8 Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama. Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndireeta obwakabaka wamu okubayiwako obusungu bwange, n’ekiruyi kyange kyonna. Omuliro ogw’obuggya bwange gulisaanyaawo ensi yonna.
9 “Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya, abo abansinza, abantu bange abasaasaana, balindeetera ssaddaaka.
11 Ku lunaku olwo toliswala olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi: kubanga ndiggya wakati mu ggwe abo abeenyumiririza mu malala, toliddayo nate kwegulumiza ku lusozi lwange olutukuvu.
12 Naye ndireka wakati mu ggwe abantu abakakkamu era abeetoowaze, abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu so tebalyogera bya bulimba wadde okuba abakuusa. Balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.”
14 Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ggwe Isirayiri; sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna, ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo, agobyewo omulabe wo. Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna.
16 Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti, “Totya, ggwe Sayuuni; emikono gyo gireme okuddirira.
17 Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga ndigibaggyako; kubanga kibafuukidde omugugu.
19 Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abaakubonyaabonya: era ndinunula omulema, ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya; mu kiseera ekyo ndibazza eka. Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obugagga bwammwe nga mulaba,” bw’ayogera Mukama.