< Zeffaniya 2 >

1 Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
הִֽתְקוֹשְׁשׁוּ וָקוֹשּׁוּ הַגּוֹי לֹא נִכְסָֽף׃
2 ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka, olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa, obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako, ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
בְּטֶרֶם לֶדֶת חֹק כְּמֹץ עָבַר יוֹם בְּטֶרֶם ׀ לֹא־יָבוֹא עֲלֵיכֶם חֲרוֹן אַף־יְהוָה בְּטֶרֶם לֹא־יָבוֹא עֲלֵיכֶם יוֹם אַף־יְהוָֽה׃
3 Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola by’alagira; munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwe.
בַּקְּשׁוּ אֶת־יְהוָה כָּל־עַנְוֵי הָאָרֶץ אֲשֶׁר מִשְׁפָּטוֹ פָּעָלוּ בַּקְּשׁוּ־צֶדֶק בַּקְּשׁוּ עֲנָוָה אוּלַי תִּסָּתְרוּ בְּיוֹם אַף־יְהוָֽה׃
4 Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa.
כִּי עַזָּה עֲזוּבָה תִֽהְיֶה וְאַשְׁקְלוֹן לִשְׁמָמָה אַשְׁדּוֹד בַּֽצָּהֳרַיִם יְגָרְשׁוּהָ וְעֶקְרוֹן תֵּעָקֵֽר׃
5 Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja, eggwanga ery’Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kikwolekedde, ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti. Ndikuzikiriza so tewaliba asigalawo.
הוֹי יֹֽשְׁבֵי חֶבֶל הַיָּם גּוֹי כְּרֵתִים דְּבַר־יְהוָה עֲלֵיכֶם כְּנַעַן אֶרֶץ פְּלִשְׁתִּים וְהַאֲבַדְתִּיךְ מֵאֵין יוֹשֵֽׁב׃
6 Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
וְֽהָיְתָה חֶבֶל הַיָּם נְוֺת כְּרֹת רֹעִים וְגִדְרוֹת צֹֽאן׃
7 Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo era we banaalundiranga, ne mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi. Mukama Katonda waabwe alibalabirira, n’akomyawo obugagga bwabwe.
וְהָיָה חֶבֶל לִשְׁאֵרִית בֵּית יְהוּדָה עֲלֵיהֶם יִרְעוּן בְּבָתֵּי אַשְׁקְלוֹן בָּעֶרֶב יִרְבָּצוּן כִּי יִפְקְדֵם יְהוָה אֱלֹהֵיהֶם וְשָׁב שבותם שְׁבִיתָֽם׃
8 Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n’okusekerera kw’Abamoni kwe bavumye abantu bange ne batiisatiisa ensi yaabwe.
שָׁמַעְתִּי חֶרְפַּת מוֹאָב וְגִדּוּפֵי בְּנֵי עַמּוֹן אֲשֶׁר חֵֽרְפוּ אֶת־עַמִּי וַיַּגְדִּילוּ עַל־גְּבוּלָֽם׃
9 Kale nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri, ddala Mowaabu aliba nga Sodomu, n’abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo, amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
לָכֵן חַי־אָנִי נְאֻם יְהוָה צְבָאוֹת אֱלֹהֵי יִשְׂרָאֵל כִּֽי־מוֹאָב כִּסְדֹם תִּֽהְיֶה וּבְנֵי עַמּוֹן כַּֽעֲמֹרָה מִמְשַׁק חָרוּל וּמִכְרֵה־מֶלַח וּשְׁמָמָה עַד־עוֹלָם שְׁאֵרִית עַמִּי יְבָזּוּם וְיֶתֶר גוי גּוֹיִי יִנְחָלֽוּם׃
10 Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe, kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
זֹאת לָהֶם תַּחַת גְּאוֹנָם כִּי חֵֽרְפוּ וַיַּגְדִּלוּ עַל־עַם יְהוָה צְבָאֽוֹת׃
11 Mukama aliba wa ntiisa gye bali bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi. Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza, buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
נוֹרָא יְהוָה עֲלֵיהֶם כִּי רָזָה אֵת כָּל־אֱלֹהֵי הָאָרֶץ וְיִשְׁתַּֽחֲווּ־לוֹ אִישׁ מִמְּקוֹמוֹ כֹּל אִיֵּי הַגּוֹיִֽם׃
12 Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
גַּם־אַתֶּם כּוּשִׁים חַֽלְלֵי חַרְבִּי הֵֽמָּה׃
13 Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono n’azikiriza Obwasuli; n’afuula Nineeve amatongo era ekikalu ng’eddungu.
וְיֵט יָדוֹ עַל־צָפוֹן וִֽיאַבֵּד אֶת־אַשּׁוּר וְיָשֵׂם אֶת־נִֽינְוֵה לִשְׁמָמָה צִיָּה כַּמִּדְבָּֽר׃
14 Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo, n’ensolo zonna eza buli kika: ekiwuugulu era ne nnamunnungu banaasulanga ku mpagi zaakyo. Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa; kafakalimbo ajjudde mu miryango, n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
וְרָבְצוּ בְתוֹכָהּ עֲדָרִים כָּל־חַיְתוֹ־גוֹי גַּם־קָאַת גַּם־קִפֹּד בְּכַפְתֹּרֶיהָ יָלִינוּ קוֹל יְשׁוֹרֵר בַּֽחַלּוֹן חֹרֶב בַּסַּף כִּי אַרְזָה עֵרָֽה׃
15 Kino kye kibuga ekya kyetwala, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti, Nze we ndi, tewali mulala wabula nze: nga kifuuse bifulukwa, ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira! Buli muntu akiyitako aneesoozanga n’akinyoomoola.
זֹאת הָעִיר הָעַלִּיזָה הַיּוֹשֶׁבֶת לָבֶטַח הָאֹֽמְרָה בִּלְבָבָהּ אֲנִי וְאַפְסִי עוֹד אֵיךְ ׀ הָיְתָה לְשַׁמָּה מַרְבֵּץ לַֽחַיָּה כֹּל עוֹבֵר עָלֶיהָ יִשְׁרֹק יָנִיעַ יָדֽוֹ׃

< Zeffaniya 2 >