< Zeffaniya 1 >
1 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
La parole de l'Éternel qui fut adressée à Sophonie, fils de Cusi, fils de Gédalia, fils d'Amaria, fils d'Ézéchias, au temps de Josias, fils d'Amon, roi de Juda.
2 “Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
Je vais tout enlever de la surface de la terre, dit l'Éternel,
3 “Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
enlever hommes et bêtes, enlever les oiseaux des Cieux et les poissons de la mer, et les scandales avec les impies, et j'exterminerai les hommes de la surface du sol, dit l'Éternel.
4 Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
Et j'étendrai ma main sur Juda, et sur tous les habitants de Jérusalem, et j'exterminerai de ce lieu les restes de Baal, le nom des prêtres avec les sacrificateurs,
5 abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
et ceux qui adorent sur les toits l'armée des Cieux, et ceux qui adorent l'Éternel, lui prêtent serment et jurent par leur roi,
6 abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
et ceux qui ont déserté l'Éternel et qui ne cherchent point l'Éternel, et ne se soucient pas de lui.
7 Siriikirira awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Mukama ategese ssaddaaka, era atukuzizza abagenyi be.
Silence devant le Seigneur, l'Éternel! car la journée de l'Éternel est proche; car l'Éternel a préparé un sacrifice, Il a sanctifié ses conviés.
8 Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, ndibonereza abakungu n’abaana ba Kabaka, n’abo bonna abambadde ebyambalo ebitasaana.
Et il arrivera au jour du sacrifice de l'Éternel que je châtierai les princes et les fils du roi et tous ceux qui revêtent les vêtements de l'étranger;
9 Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
et je châtierai tous ceux qui franchissent le seuil, en cette journée-là, et remplissent les maisons de leurs maîtres de rapine et de fraude.
10 Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
En cette journée-là, dit l'Éternel, des cris retentiront de la porte des poissons, et des gémissements de la ville basse et un grand fracas des collines.
11 Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale; abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
Gémissez, habitants du mortier! Car c'en est fait de tout le peuple des Cananéens, et tous les hommes chargés d'argent seront exterminés.
12 Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne ky’akolawo.
Et dans ce temps-là je fouillerai Jérusalem aux lanternes et châtierai tous ces hommes assis sur leurs lies, qui disent en leur cœur: « L'Éternel ne fait point de bien et point de mal. »
13 Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.
Et leur opulence sera une proie, et leurs maisons une ruine; et ils ont bâti des maisons, mais ils ne les habiteront pas, et planté des vignes, mais ils n'en boiront pas le vin.
14 Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi, n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
La journée de l'Éternel, la grande journée est proche, elle est proche, et s'avance rapidement; on entend la journée de l'Éternel; alors le héros poussera des cris amers.
15 Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira, olunaku olw’ekikome n’ekizikiza, olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
Ce jour-là est un jour de colère, un jour de détresse et d'angoisse, un jour de dévastation et de désolation, un jour de ténèbres et d'obscurité, un jour nuageux et sombre,
16 olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo n’eri eminaala emigulumivu.
un jour de bruit de trompettes et de cris de guerre contre les villes fortes et les tours élevées.
17 Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu, n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
Et je mettrai les hommes à la gêne, et ils iront comme des aveugles, car ils péchèrent contre l'Éternel, et leur sang sera répandu comme de la poussière, et leur chair comme de l'ordure.
18 Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gw’obuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.
Ni leur argent, ni leur or ne pourra les sauver au jour de la colère de l'Éternel, et par le feu de son courroux tout le pays sera consumé; car c'est d'une ruine, oui, d'une ruine soudaine, qu'il frappera tous les habitants du pays.