< Zekkaliya 9 >

1 Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki era kirituuka e Ddamasiko. Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri batunuulidde Mukama,
משא דבר יהוה בארץ חדרך ודמשק מנחתו כי ליהוה עין אדם וכל שבטי ישראל׃
2 era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo, ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
וגם חמת תגבל בה צר וצידון כי חכמה מאד׃
3 Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu, ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
ותבן צר מצור לה ותצבר כסף כעפר וחרוץ כטיט חוצות׃
4 Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo, alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja, era kiryokebwa omuliro.
הנה אדני יורשנה והכה בים חילה והיא באש תאכל׃
5 Asukulooni bino kiribiraba ne kitya; ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi. Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo; Gaza aliggyibwako kabaka we, ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
תרא אשקלון ותירא ועזה ותחיל מאד ועקרון כי הביש מבטה ואבד מלך מעזה ואשקלון לא תשב׃
6 Abagwira balitwala Asudodi, era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
וישב ממזר באשדוד והכרתי גאון פלשתים׃
7 Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge. N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe, balifuuka bakulembeze mu Yuda, ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
והסרתי דמיו מפיו ושקציו מבין שניו ונשאר גם הוא לאלהינו והיה כאלף ביהודה ועקרון כיבוסי׃
8 Naye ndirwanirira ennyumba yange eri eggye eddumbaganyi, so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange kubanga kaakano mbalabirira.
וחניתי לביתי מצבה מעבר ומשב ולא יעבר עליהם עוד נגש כי עתה ראיתי בעיני׃
9 Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy’oli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
גילי מאד בת ציון הריעי בת ירושלם הנה מלכך יבוא לך צדיק ונושע הוא עני ורכב על חמור ועל עיר בן אתנות׃
10 Efulayimu ndimuggyako amagaali, ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi, n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa era alireeta emirembe mu mawanga, n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
והכרתי רכב מאפרים וסוס מירושלם ונכרתה קשת מלחמה ודבר שלום לגוים ומשלו מים עד ים ומנהר עד אפסי ארץ׃
11 Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe, ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
גם את בדם בריתך שלחתי אסיריך מבור אין מים בו׃
12 Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi; nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
שובו לבצרון אסירי התקוה גם היום מגיד משנה אשיב לך׃
13 Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale ngujjuze Efulayimu. Ndiyimusa batabani ba Sayuuni, balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani, mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
כי דרכתי לי יהודה קשת מלאתי אפרים ועוררתי בניך ציון על בניך יון ושמתיך כחרב גבור׃
14 Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe, akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu. Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere, n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
ויהוה עליהם יראה ויצא כברק חצו ואדני יהוה בשופר יתקע והלך בסערות תימן׃
15 Mukama ow’Eggye alibakuuma. Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo, balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu. Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
יהוה צבאות יגן עליהם ואכלו וכבשו אבני קלע ושתו המו כמו יין ומלאו כמזרק כזויות מזבח׃
16 Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze. Balitangalijja mu nsi ye, ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
והושיעם יהוה אלהיהם ביום ההוא כצאן עמו כי אבני נזר מתנוססות על אדמתו׃
17 Nga baliba balungi era abatuukirivu! Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza, n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.
כי מה טובו ומה יפיו דגן בחורים ותירוש ינובב בתלות׃

< Zekkaliya 9 >