< Zekkaliya 7 >

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu.
ויהי בשנת ארבע לדריוש המלך היה דבר יהוה אל זכריה בארבעה לחדש התשעי בכסלו׃
2 Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama,
וישלח בית אל שר אצר ורגם מלך ואנשיו לחלות את פני יהוה׃
3 n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
לאמר אל הכהנים אשר לבית יהוה צבאות ואל הנביאים לאמר האבכה בחדש החמשי הנזר כאשר עשיתי זה כמה שנים׃
4 Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti,
ויהי דבר יהוה צבאות אלי לאמר׃
5 “Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze?
אמר אל כל עם הארץ ואל הכהנים לאמר כי צמתם וספוד בחמישי ובשביעי וזה שבעים שנה הצום צמתני אני׃
6 Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe?
וכי תאכלו וכי תשתו הלוא אתם האכלים ואתם השתים׃
7 Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’”
הלוא את הדברים אשר קרא יהוה ביד הנביאים הראשנים בהיות ירושלם ישבת ושלוה ועריה סביבתיה והנגב והשפלה ישב׃
8 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti,
ויהי דבר יהוה אל זכריה לאמר׃
9 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we.
כה אמר יהוה צבאות לאמר משפט אמת שפטו וחסד ורחמים עשו איש את אחיו׃
10 Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
ואלמנה ויתום גר ועני אל תעשקו ורעת איש אחיו אל תחשבו בלבבכם׃
11 “Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira.
וימאנו להקשיב ויתנו כתף סררת ואזניהם הכבידו משמוע׃
12 Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
ולבם שמו שמיר משמוע את התורה ואת הדברים אשר שלח יהוה צבאות ברוחו ביד הנביאים הראשנים ויהי קצף גדול מאת יהוה צבאות׃
13 “‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
ויהי כאשר קרא ולא שמעו כן יקראו ולא אשמע אמר יהוה צבאות׃
14 Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”
ואסערם על כל הגוים אשר לא ידעום והארץ נשמה אחריהם מעבר ומשב וישימו ארץ חמדה לשמה׃

< Zekkaliya 7 >