< Zekkaliya 14 >

1 Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.
İşte RAB'bin günü geliyor! Ey Yeruşalim halkı, senden yağmalanan mal gözlerinin önünde paylaşılacak.
2 Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.
Yeruşalim'e karşı savaşmaları için bütün ulusları bir araya getireceğim. Kent ele geçirilecek, evler yağmalanacak, kadınların ırzına geçilecek. Kentte yaşayanların yarısı sürgüne gönderilecek, geri kalanlar kentte kalacak.
3 Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.
Sonra RAB, savaş zamanlarında yaptığı gibi, gidip bu uluslara karşı savaşacak.
4 Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo.
O gün O'nun ayakları Yeruşalim'in doğusundaki Zeytin Dağı'nın üzerinde duracak. Zeytin Dağı doğuya ve batıya doğru ortadan yarılıp çok büyük bir vadi oluşturacak. Dağın yarısı kuzeye, öbür yarısı güneye çekilecek.
5 Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.
Yarılan dağımın oluşturduğu vadiden kaçacaksınız, çünkü vadi Asal'a dek uzanacak. Yahuda Kralı Uzziya döneminde depremden nasıl kaçtıysanız, öyle kaçacaksınız. O zaman Tanrım RAB bütün kutsallarla birlikte gelecek!
6 Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti.
O gün ışık olmayacak, ışık veren cisimler kararacak.
7 Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.
Özel bir gün, yalnız RAB'bin bildiği bir gün olacak. Gece de gündüz de olmayacak. Gece aydınlık olacak.
8 Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.
O gün Yeruşalim'in içinden diri sular akacak. Yaz kış suların yarısı Lut Gölü'ne, öbür yarısı Akdeniz'e akacak.
9 Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.
RAB bütün dünyanın kralı olacak. O gün yalnız RAB, yalnız O'nun adı kalacak.
10 Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Bütün ülke Geva'dan Yeruşalim'in güneyindeki Rimmon'a dek Arava Ovası gibi olacak. Ama Yeruşalim yükseltilecek ve Benyamin Kapısı'ndan ilk kapıya, Köşe Kapısı'na, Hananel Kulesi'nden kralın üzüm sıkma çukurlarına dek yerli yerinde duracak.
11 Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.
İnsanlar oraya yerleşip güvenlik içinde yaşayacak. Yeruşalim bir daha yıkıma uğramayacak.
12 Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa.
Yeruşalim'e karşı savaşan bütün halkları RAB şu belayla cezalandıracak: Daha sağken bedenleri, gözleri, dilleri çürüyecek.
13 Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana.
O gün RAB insanları büyük dehşete düşürecek. Herkes yanındakinin elini yakalayacak, birbirlerine saldıracaklar.
14 Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa.
Yahudalılar da Yeruşalim'de savaşacak. Çevredeki bütün ulusların serveti, çok miktarda altın, gümüş, giysi toplanacak.
15 Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.
Düşman ordugahlarındaki bütün hayvanlar da –at, katır, deve, eşek– benzer bir belaya çarptırılacak.
16 Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira.
Yeruşalim'e saldıran uluslardan sağ kalanların hepsi Her Şeye Egemen RAB olan Kral'a tapınmak ve Çardak Bayramı'nı kutlamak için yıldan yıla Yeruşalim'e gidecekler.
17 Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba.
Yeryüzü halklarından hangisi Her Şeye Egemen RAB olan Kral'a tapınmak için Yeruşalim'e gitmezse, ülkesine yağmur yağmayacak.
18 Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira.
Mısırlılar bunlara katılıp Yeruşalim'e gitmezlerse, RAB onları da Çardak Bayramı'nı kutlamak için Yeruşalim'e gitmeyen bütün ulusların başına getirdiği aynı belayla cezalandıracak.
19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.
Mısırlılar'a ve Çardak Bayramı'nı kutlamak için Yeruşalim'e gitmeyen bütün uluslara verilecek ceza budur.
20 Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto.
O gün atların çıngırakları üzerine, “RAB'be adanmıştır” diye yazılacak. RAB'bin Tapınağı'ndaki kazanlar da sunağın önündeki çanaklar gibi olacak.
21 Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.
Yeruşalim ve Yahuda'da her kazan Her Şeye Egemen RAB'be adanacak. Kurban kesmeye gelenler bu kazanları kurban etini pişirmek için kullanacaklar. O gün Her Şeye Egemen RAB'bin Tapınağı'nda artık tüccar bulunmayacak.

< Zekkaliya 14 >