< Zekkaliya 13 >

1 “Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.
「那日,必給大衛家和耶路撒冷的居民開一個泉源,洗除罪惡與污穢。」
2 “Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
萬軍之耶和華說:「那日,我必從地上除滅偶像的名,不再被人記念;也必使這地不再有假先知與污穢的靈。
3 Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
若再有人說預言,生他的父母必對他說:『你不得存活,因為你託耶和華的名說假預言。』生他的父母在他說預言的時候,要將他刺透。
4 “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
那日,凡作先知說預言的必因他所論的異象羞愧,不再穿毛衣哄騙人。
5 Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’
他必說:『我不是先知,我是耕地的;我從幼年作人的奴僕。』
6 Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’”
必有人問他說:『你兩臂中間是甚麼傷呢?』他必回答說:『這是我在親友家中所受的傷。』」
7 “Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Kuba omusumba endiga zisaasaane nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
萬軍之耶和華說: 刀劍哪,應當興起, 攻擊我的牧人和我的同伴。 擊打牧人,羊就分散; 我必反手加在微小者的身上。
8 Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama, “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo, naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
耶和華說:這全地的人, 三分之二必剪除而死, 三分之一仍必存留。
9 Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro, ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa. Balikoowoola erinnya lyange nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’ era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’”
我要使這三分之一經火, 熬煉他們,如熬煉銀子; 試煉他們,如試煉金子。 他們必求告我的名, 我必應允他們。 我要說:這是我的子民。 他們也要說:耶和華是我們的上帝。

< Zekkaliya 13 >