< Oluyimba 7 >

1 Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja! Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo, omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
τί ὡραιώθησαν διαβήματά σου ἐν ὑποδήμασιν θύγατερ Ναδαβ ῥυθμοὶ μηρῶν σου ὅμοιοι ὁρμίσκοις ἔργῳ χειρῶν τεχνίτου
2 Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu, ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi. Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano eyeetooloddwa amalanga.
ὀμφαλός σου κρατὴρ τορευτὸς μὴ ὑστερούμενος κρᾶμα κοιλία σου θιμωνιὰ σίτου πεφραγμένη ἐν κρίνοις
3 Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo, abalongo.
δύο μαστοί σου ὡς δύο νεβροὶ δίδυμοι δορκάδος
4 Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga. Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni ogwolekera Ddamasiko.
τράχηλός σου ὡς πύργος ἐλεφάντινος ὀφθαλμοί σου ὡς λίμναι ἐν Εσεβων ἐν πύλαις θυγατρὸς πολλῶν μυκτήρ σου ὡς πύργος τοῦ Λιβάνου σκοπεύων πρόσωπον Δαμασκοῦ
5 Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri, n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu; Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
κεφαλή σου ἐπὶ σὲ ὡς Κάρμηλος καὶ πλόκιον κεφαλῆς σου ὡς πορφύρα βασιλεὺς δεδεμένος ἐν παραδρομαῖς
6 Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
τί ὡραιώθης καὶ τί ἡδύνθης ἀγάπη ἐν τρυφαῖς σου
7 Oli muwanvu ng’olukindu, n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
τοῦτο μέγεθός σου ὡμοιώθη τῷ φοίνικι καὶ οἱ μαστοί σου τοῖς βότρυσιν
8 Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu, n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
εἶπα ἀναβήσομαι ἐν τῷ φοίνικι κρατήσω τῶν ὕψεων αὐτοῦ καὶ ἔσονται δὴ μαστοί σου ὡς βότρυες τῆς ἀμπέλου καὶ ὀσμὴ ῥινός σου ὡς μῆλα
9 n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi. Omwagalwa Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange, ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
καὶ λάρυγξ σου ὡς οἶνος ὁ ἀγαθὸς πορευόμενος τῷ ἀδελφιδῷ μου εἰς εὐθύθητα ἱκανούμενος χείλεσίν μου καὶ ὀδοῦσιν
10 Ndi wa muganzi wange, era naye anjagala nnyo.
ἐγὼ τῷ ἀδελφιδῷ μου καὶ ἐπ’ ἐμὲ ἡ ἐπιστροφὴ αὐτοῦ
11 Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga, tusuleko mu byalo.
ἐλθέ ἀδελφιδέ μου ἐξέλθωμεν εἰς ἀγρόν αὐλισθῶμεν ἐν κώμαις
12 Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu, tulabe obanga emizabbibu gimulisizza, obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza, obanga n’emikomamawanga gimulisizza, era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
ὀρθρίσωμεν εἰς ἀμπελῶνας ἴδωμεν εἰ ἤνθησεν ἡ ἄμπελος ἤνθησεν ὁ κυπρισμός ἤνθησαν αἱ ῥόαι ἐκεῖ δώσω τοὺς μαστούς μου σοί
13 Amadudayimu gawunya akawoowo, ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi, Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde, bye nkuterekedde muganzi wange.
οἱ μανδραγόραι ἔδωκαν ὀσμήν καὶ ἐπὶ θύραις ἡμῶν πάντα ἀκρόδρυα νέα πρὸς παλαιά ἀδελφιδέ μου ἐτήρησά σοι

< Oluyimba 7 >