< Oluyimba 6 >
1 Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko?
2 Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga.
3 Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga.
4 Oli mubalagavu nga Tiruza, omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
5 Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi.
6 Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
7 Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
8 Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
9 ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
10 Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
11 Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12 Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
13 Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko. Owoomukwano Lwaki mutunuulira Omusulamu ng’abali ku mazina ga Makanayimu?