< Oluyimba 5 >

1 Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
באתי לגני אחתי כלה אריתי מורי עם בשמי אכלתי יערי עם דבשי שתיתי ייני עם חלבי אכלו רעים שתו ושכרו דודים׃
2 Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
אני ישנה ולבי ער קול דודי דופק פתחי לי אחתי רעיתי יונתי תמתי שראשי נמלא טל קוצותי רסיסי לילה׃
3 Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
פשטתי את כתנתי איככה אלבשנה רחצתי את רגלי איככה אטנפם׃
4 Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka.
דודי שלח ידו מן החר ומעי המו עליו׃
5 Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, n’engalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gy’ekufulu.
קמתי אני לפתח לדודי וידי נטפו מור ואצבעתי מור עבר על כפות המנעול׃
6 Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
פתחתי אני לדודי ודודי חמק עבר נפשי יצאה בדברו בקשתיהו ולא מצאתיהו קראתיו ולא ענני׃
7 Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala n’ekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe.
מצאני השמרים הסבבים בעיר הכוני פצעוני נשאו את רדידי מעלי שמרי החמות׃
8 Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita.
השבעתי אתכם בנות ירושלם אם תמצאו את דודי מה תגידו לו שחולת אהבה אני׃
9 Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
מה דודך מדוד היפה בנשים מה דודך מדוד שככה השבעתנו׃
10 Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo.
דודי צח ואדום דגול מרבבה׃
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
ראשו כתם פז קוצותיו תלתלים שחרות כעורב׃
12 Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
עיניו כיונים על אפיקי מים רחצות בחלב ישבות על מלאת׃
13 Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli.
לחיו כערוגת הבשם מגדלות מרקחים שפתותיו שושנים נטפות מור עבר׃
14 Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo. Omubiri gwe guli ng’amasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro.
ידיו גלילי זהב ממלאים בתרשיש מעיו עשת שן מעלפת ספירים׃
15 Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ng’emivule gyayo.
שוקיו עמודי שש מיסדים על אדני פז מראהו כלבנון בחור כארזים׃
16 Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.
חכו ממתקים וכלו מחמדים זה דודי וזה רעי בנות ירושלם׃

< Oluyimba 5 >