< Oluyimba 4 >
1 Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse. Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
2 Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
3 Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu; n’akamwa ko kandabikira bulungi. Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.
4 Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi, ogwatereezebwa obulungi; ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi, zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
5 Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo, ab’empeewo, nga balongo, abaliira mu malanga.
6 Okutuusa obudde nga bukedde, n’ebisiikirize nga biweddewo, ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli ne ku kasozi ak’omugavu.
7 Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange, toliiko bbala na limu.
8 Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange, jjangu tuve mu Lebanooni. Lengera okuva ku ntikko ya Amana, n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni, n’okuva mu mpuku ey’empologoma, ne ku nsozi ez’engo.
9 Osenzesenze omutima gwange, mwannyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye, n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange; amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo. Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange, era oli luzzi olwasibibwa, ensulo eyateekebwako akabonero.
13 Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga, erina ebibala byonna eby’omuwendo, ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 n’omugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna, ne mooli ne alowe, wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro, oluzzi olw’amazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni.
16 Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono, naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu. Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu eby’omuwendo.