< Oluyimba 2 >
1 Ndi kimuli kya looza ekya Saloni, eddanga ery’omu biwonvu.
2 Ng’eddanga mu maggwa, gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.
3 Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, n’ekibala kye kimpomera.
4 Yantwala ku kijjulo, n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
5 Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu, mumbuddeebudde n’emicungwa kubanga okwagala kunzirisizza.
6 Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7 Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira, ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde.
8 Wuliriza omwagalwa wange, Laba, ajja ng’abuukirabuukira ku nsozi, ng’azinira ku busozi.
9 Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento. Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe, Alingiza mu madirisa, alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti, “Golokoka, Owoomukwano, omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko, n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza, n’ebiro eby’okuyimba bituuse, era n’okukaaba kw’amayiba kuwulirwa mu nsi.
13 Omutiini gubala ettiini zaagwo, n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo. Golokoka Owoomukwano, omulungi wange ojje tugende.”
14 Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi, mu bwekwekero obw’amayinja, ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, n’amaaso go gasanyusa.
15 Tukwatire ebibe, obube obutono, obwonoona ennimiro ez’emizabbibu, kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.
16 Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe; aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 okutuusa obudde nga bukedde n’ebisiikirize nga biddukidde ddala; okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.